Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi—Ogw'Okusoma mu Kibiina  |  Jjuuni 2017

“Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”

“Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”

EBIGAMBO ebyo Dawudi yabyogera ng’atendereza omukazi omu gwe yasisinkana. Omukazi oyo yali ayitibwa Abbigayiri. Lwaki Dawudi yatendereza omukazi oyo, era kiki kye tuyinza okuyigira ku mukazi oyo?

Dawudi yasisinkana omukazi oyo mu kiseera bwe yali ng’adduka Kabaka Sawulo. Abbigayiri yali yafumbirwa omusajja omugagga ennyo eyali ayitibwa Nabbali, eyalundiranga ebisibo bye mu kitundu eky’ensozi mu bukiikaddyo bwa Yuda. Dawudi n’abasajja be “baali nga bbugwe” eri ebisibo bya Nabbali n’eri abasajja abaabirundanga. Oluvannyuma Dawudi yatuma ababaka eri Nabbali abaweeyo ku by’okulya. (1 Sam. 25:8, 15, 16) Dawudi n’abasajja be baali bagwana okuweebwa eby’okulya ebyo, naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti ye n’abasajja be baali bakuumye ebisibo bya Nabbali n’abasajja be.

Naye Nabbali yeeyisa mu ngeri etuukana n’erinnya lye eritegeeza “Atalina magezi” oba “Omusirusiru.” Ababaka ba Dawudi, Nabbali yabaddamu bubi nnyo era n’agaana okubaako ky’abawa. N’ekyavaamu, Dawudi yasalawo okugenda okubonereza Nabbali olw’enneeyisa ye embi. Nabbali n’ab’omu nju ye baali bagenda kubonerezebwa olw’obusirusiru bwa Nabbali.1 Sam. 25:2-13, 21, 22.

Abbigayiri bwe yategeera akabi akandivudde mu ekyo Dawudi kye yali agenda okukola, yakola mangu enteekateeka okugenda okumusisinkana. Abbigayiri bwe yasisinkana Dawudi, yamwegayirira aleme kukola ekyo kye yali agenda okukola, era n’amuyamba okulowooza ku nkolagana ye ne Yakuwa. Ate era Abbigayiri yawa Dawudi n’abasajja be eby’okulya ebibamala. Dawudi yasiima omukazi oyo era n’agamba nti Yakuwa ye yali amukozesezza okumuyamba obutabaako musango gwa kuyiwa musaayi. Dawudi yagamba Abbigayiri nti: “Katonda akuwe omukisa olw’obutegeevu bwo, era akuwe omukisa olw’okunziyiza olwa leero okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi.”1 Sam. 25:18, 19, 23-35.

Tetwagala kubeera nga Nabbali, ataasiima bintu birungi bye baamukolera. Ate era, bwe tukiraba nti ekintu ekimu kiyinza okuvaamu obuzibu, tusaanidde okubaako kye tukolawo okwewala obuzibu obwo. Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, naffe tusaanidde okusaba Katonda nti: “Njigiriza mbe n’amagezi n’okumanya.”Zab. 119:66.

Naawe bwe weeyisa mu ngeri ey’amagezi, abalala bakiraba. Era okufaananako Dawudi, nabo basobola okukyatula oba okukyogerera mu mitima gyabwe nti: “Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”