Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ani Akulembera Abantu ba Katonda Leero?

Ani Akulembera Abantu ba Katonda Leero?

“Mujjukirenga abo ababakulembera.”BEB. 13:7.

ENNYIMBA: 125, 43

1, 2. Yesu bwe yamala okuddayo mu ggulu, kiki abatume be kye bayinza okuba nga beebuuza?

ABATUME ba Yesu baayimirira ku Lusozi olw’Emizeyituuni ne batunuulira Mukama waabwe Yesu ng’atwalibwa mu ggulu, okutuusiza ddala ekire lwe kyamubikka. (Bik. 1:9, 10) Yesu yali amaze emyaka ng’ebiri ng’abayigiriza, ng’abazzaamu amaanyi, era ng’abakulembera. Kyokka kati yali agenze. Kiki kye bandikoze?

2 Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Naye omulimu ogwo bandigukoze batya? Kyo kituufu nti Yesu yali abasuubizza nti baali bagenda kuweebwa omwoyo omutukuvu. (Bik. 1:5) Wadde kyali kityo, amawulire amalungi okusobola okubuulirwa mu nsi yonna, abayigirizwa be bandibadde beetaaga okuweebwa obulagirizi n’okutegekebwa obulungi. Abatume baali bakimanyi nti emabega Yakuwa yajjanga akozesa abantu abatali bamu okukulembera abantu be. N’olwekyo, abatume bayinza okuba nga beebuuza nti, ‘Yakuwa agenda kutulonderayo omukulembeze omulala?’

3. (a) Oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, kintu ki ekikulu abatume kye baakola? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

 3 Bwe waali wayise ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, abayigirizwa be beekenneenya Ebyawandiikibwa, ne basaba Yakuwa abawe obulagirizi, era ne balonda Matiya okuba omutume owa 12, adde mu kifo kya Yuda Isukalyoti. (Bik. 1:15-26) Lwaki kyali kikulu okulonda Matiya okudda mu kifo kya Yuda Isukalyoti? Abayigirizwa baakiraba nti kyali kyetaagisa abatume okuba 12. * Yesu yali talonze batume be lwa kwagala kubaako bantu b’atambula nabo ng’abuulira, wabula yali abalonze basobole okwetikka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu bantu ba Katonda. Buvunaanyizibwa ki obwo, era Yakuwa yakozesa atya Yesu okubayamba okubutuukiriza? Nteekateeka ki efaananako ng’eyo eriwo mu bantu ba Katonda leero? Era tuyinza tutya ‘okujjukiranga abo abatukulembera,’ naddala abo abayitibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”?Beb. 13:7; Mat. 24:45.

YESU AKULEMBERA AKAKIIKO AKAFUZI

4. Buvunaanyizibwa ki abatume n’abakadde abamu bwe baalina mu kyasa ekyasooka?

4 Abatume baatandika okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Ku lunaku olwo, Peetero n’abatume abalala ekkumi n’omu baayimuka ne babuulira ekibiina ky’abantu, omwali Abayudaaya n’abakyufu, ebigambo eby’obulamu. (Bik. 2:14, 15) Bangi ku bantu abo baafuuka bakkiriza. Era Abakristaayo abo abapya ‘beeyongera okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga.’ (Bik. 2:42) Abatume be baali bavunaanyizibwa ku ngeri ssente z’ekibiina gye zaakozesebwangamu. (Bik. 4:34, 35) Baalabiriranga abantu ba Katonda mu by’omwoyo, era baagamba nti: “Tujja kwemalira ku kusaba n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda.” (Bik. 6:4) Okugatta ku ekyo, baalonda Abakristaayo abaalina obumanyirivu okuyambako mu kutuusa amawulire amalungi ne mu bitundu ebirala. (Bik. 8:14, 15) Oluvannyuma lw’ekiseera, abakadde abalala abaafukibwako amafuta beegatta ku batume mu kuddukanya emirimu gy’ekibiina Ekikristaayo. Akakiiko ako akafuzi kaawanga ebibiina byonna obulagirizi.Bik. 15:2.

5, 6. (a) Omwoyo omutukuvu gwayamba gutya akakiiko akafuzi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.) (b) Bamalayika baayamba batya akakiiko akafuzi? (c) Abo abaali ku kakiiko akafuzi baakolera batya ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda?

5 Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baali bakimanyi nti Yakuwa yali awa akakiiko akafuzi obulagirizi ng’ayitira mu Yesu. Ekyo baakikakasiza ku ki? Ekisooka, omwoyo omutukuvu gwawa akakiiko akafuzi obulagirizi. (Yok. 16:13) Omwoyo omutukuvu gwafukibwa ku Bakristaayo bonna abaafukibwako amafuta, naye bo abatume gwabasobozesa n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’enjawulo bwe baalina obw’okulabirira ekibiina. Ng’ekyokulabirako, mu 49 E.E., omwoyo omutukuvu gwayamba akakiiko akafuzi okusalawo ku nsonga ekwata ku kukomola. Ebibiina byakoleranga ku bulagirizi bw’akakiiko akafuzi era “byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga buli lunaku.” (Bik. 16:4, 5) Ebbaluwa abo abaali ku kakiiko akafuzi gye baawandiikira ekibiina yakyoleka bulungi nti baali booleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda, omuli okwagala n’okukkiriza.—Bik. 15:11, 25-29; Bag. 5:22, 23.

6 Eky’okubiri, bamalayika baayamba akakiiko akafuzi. Koluneeriyo bwe yali tannabatizibwa okuba Munnaggwanga eyasooka okufuuka  Omukristaayo, malayika yamugamba atumye omutume Peetero. Oluvannyuma lwa Peetero okubuulira Koluneeriyo n’ab’eŋŋanda ze, Katonda yabafukako omwoyo omutukuvu wadde nga baali si bakomole. Ekyo kyaleetera abatume n’ab’oluganda abalala okutuukana n’ekigendererwa kya Katonda ne bakkiriza Ab’amawanga abataali bakomole okuba mu kibiina Ekikristaayo. (Bik. 11:13-18) Ate era bamalayika baawagira omulimu gw’okubuulira ogwali gulabirirwa akakiiko akafuzi. (Bik. 5:19, 20) Eky’okusatu, abo abaali ku kakiiko akafuzi baakoleranga ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Beesigamanga ku Byawandiikibwa nga basalawo ku nsonga ezikwata ku njigiriza ne ku bulagirizi obw’okuwa ebibiina.Bik. 1:20-22; 15:15-20.

7. Lwaki tuyinza okugamba nti Yesu yali akulembera Abakristaayo mu kyasa ekyasooka?

7 Wadde ng’ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi baalina obuyinza mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka, baali bakimanyi nti Yesu ye Mukulembeze waabwe. Omutume Pawulo yagamba nti: “[Kristo] yawa abamu okuba abatume.” Yagattako nti: “Ka tukule mu bintu byonna mu Kristo omutwe gwaffe nga tuyitira mu kwagala.” (Bef. 4:11, 15) Mu butuufu, mu kifo ky’okweyita erimu ku mannya g’abatume, abayigirizwa ‘baayitibwa Abakristaayo, erinnya eryava eri Katonda.’ (Bik. 11:26) Pawulo yali akimanyi nti kikulu nnyo okunywerera ku njigiriza ez’omu Byawandiikibwa abatume awamu n’abasajja abalala abaali batwala obukulembeze mu kibiina ze baabayigiriza. Wadde kyali kityo Pawulo yagamba nti: “Njagala mukimanye nti omutwe gwa buli musajja [nga mw’otwalidde n’abo abaali ku kakiiko akafuzi] ye Kristo; . . . n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Kol. 11:2, 3) Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa yali alonze Yesu Kristo okukulembera ekibiina.

“OMULIMU GUNO SI GWA BANTU”

8, 9. Okuva mu myaka gya 1870, buvunaanyizibwa ki obw’amaanyi Ow’oluganda Russell bwe yalina?

8 Mu myaka gya 1870, Charles Taze Russell ne banne baayagala okuddamu okusinza Katonda mu ngeri entuufu. Okusobola okubunyisa amazima agali mu Bayibuli mu nnimi ez’enjawulo, ekitongole ekiyitibwa, Zion’s Watch Tower Tract Society kyawandiisibwa mu mateeka mu 1884, era Ow’oluganda Russell ye yali pulezidenti waakyo. * Ow’oluganda Russell yasoma Bayibuli n’obunyiikivu era yayanika enjigiriza ez’obulimba, gamba ng’eyo egamba nti Katonda ali mu busatu n’eyo egamba nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde. Yakimanya nti Yesu bw’aliba akomyewo, talirabibwa na maaso era nti “ebiseera ebigereke eby’amawanga” byandiweddeko mu 1914. (Luk. 21:24) Ow’oluganda Russell yawaayo ebiseera bye, amaanyi ge, ne ssente ze okuyamba mu kubunyisa amazima. Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa ne Yesu baakozesa Ow’oluganda Russell okukulembera abantu ba Katonda mu kiseera ekyo ekyali ekikulu ennyo.

9 Ow’oluganda Russell teyeenoonyeza bitiibwa. Mu 1896, yawandiika nti: ‘Tetwagala bantu kutuwa bitiibwa bya njawulo oba kibiina kyonna kuyitibwa mannya gaffe.’ Era oluvannyuma yagamba nti: “Omulimu guno si gwa bantu.”

10. (a) Yesu yalonda ddi “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”? (b) Nnyonnyola engeri gye kyeyoleka obulungi nti Akakiiko Akafuzi ka njawulo ku Watch Tower Society.

10 Mu 1919, nga wayise emyaka esatu bukya Ow’oluganda Russell afa, Yesu yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” Lwaki yamulonda? Yamulonda okuwa ab’omu nju ye ‘emmere mu kiseera ekituufu.’ (Mat. 24:45) Ne mu myaka egyo egy’edda, ab’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta abaali baweerereza ku kitebe kyaffe ekikulu mu Brooklyn, New  York, baawanga abagoberezi ba Yesu emmere ey’eby’omwoyo. Ebigambo “akakiiko akafuzi” byatandika okulabikira mu bitabo byaffe mu myaka gya 1940, era byakwataganyizibwanga n’ekitongole kya Watch Tower Bible and Tract Society. Kyokka mu 1971, kyalagibwa bulungi nti Akakiiko Akafuzi ka njawulo ku kitongole kya Watch Tower Society, ekikola ku nsonga ezikwatagana n’eby’amateeka. Okuva olwo, ab’oluganda abaafukibwako amafuta baali basobola okuweereza ku Kakiiko Akafuzi nga si ba dayirekita ba Watch Tower Society. Ennaku zino, ab’oluganda ‘ab’endiga endala’ balondebwa okuweereza nga badayirekita ba Watch Tower Society awamu n’ebitongole ebirala ebikozesebwa abantu ba Katonda mu mateeka.Ekyo kisobozesezza ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi okwemalira ku kuliisa abaweereza ba Yakuwa mu by’omwoyo. (Yok. 10:16; Bik. 6:4) Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, gwalaga nti “ omuddu omwesigwa era ow’amagezi” be b’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta abali ku Kakiiko Akafuzi.

Akakiiko Akafuzi, mu myaka gya 1950

11. Akakiiko Akafuzi kasalawo katya ku nsonga ezitali zimu?

11 Abo abali ku Kakiiko Akafuzi bakuŋŋaana wamu buli wiiki okusalawo ku bintu ebikulu ebitali bimu. Okukuŋŋaana awamu buli wiiki kibayamba okuba n’empuliziganya ennungi n’okusigala nga bali bumu. (Nge. 20:18) Okuva bwe kiri nti tewali n’omu ku abo abali ku Kakiiko Akafuzi atwalibwa okuba owa waggulu ku banne, buli mwaka oyo akubiriza enkuŋŋaana zaabwe akyusibwa. (1 Peet. 5:1) Enkola y’emu y’egobererwa ne ku bukiiko omukaaga obukolera wansi w’Akakiiko Akafuzi. Tewali n’omu ku b’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi eyeetwala okuba omukulembeze wa bakkiriza banne. Ab’oluganda abo bakimanyi nti ng’abantu kinnoomu nabo ba mu nju era baliisibwa omuddu omwesigwa era bakolera ku bulagirizi bw’atuwa.

Okuva omuddu omwesigwa bwe yalondebwa mu 1919, abaddenga awa abantu ba Katonda emmere ey’eby’omwoyo (Laba akatundu 10, 11)

“DDALA OMUDDU OMWESIGWA ERA OW’AMAGEZI Y’ANI?”

12. Okuva bwe kiri nti abo abali ku Kakiiko Akafuzi tebatuukiridde, kibuuzo ki kye tuyinza okwebuuza?

12 Abo abali ku Kakiiko Akafuzi tebatuukiridde. N’olwekyo, basobola okukola ensobi mu ngeri gye bannyonnyolamu ebyawandiikibwa ebimu oba mu bulagirizi bwe bawa ekibiina. Ng’ekyokulabirako, Watch Tower Publications Index erimu omutwe ogulaga enkyukakyuka ezitali zimu ezizze zikolebwa mu ngeri gye tutegeeramu Ebyawandiikibwa okuviira ddala mu mwaka gwa 1870. Yesu teyatugamba nti omuddu omwesigwa yandibadde takola nsobi mu ngeri gy’annyonnyolamu ebyawandiikibwa. Kati olwo tuyinza tutya okuddamu ekibuuzo kya Yesu kino: “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani?” (Mat. 24:45) Bukakafu ki obulaga nti omuddu omwesigwa be b’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi? Tugenda kulaba obukakafu bwa mirundi esatu.

13. Omwoyo omutukuvu guyambye gutya Akakiiko Akafuzi?

13 Omwoyo omutukuvu gubayamba. Omwoyo omutukuvu guyambye abo abali ku Kakiiko Akafuzi okutegeera amazima agali mu Byawandiikibwa mu kusooka agaali gatamanyiddwa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nkyukakyuka ezitali zimu ezizze zikolebwa mu ngeri gye tunnyonnyolamu ebyawandiikibwa. Awatali mwoyo mutukuvu, tewali muntu n’omu yandisobodde kutegeera na kunnyonnyola ‘bintu bya Katonda ebyo eby’ebuziba’! (Soma 1 Abakkolinso 2:10.) Akakiiko Akafuzi kakkiriziganya n’ebigambo bino omutume Pawulo bye yayogera: “Ebintu bino tubyogera, si na bigambo ebyayigirizibwa mu magezi g’abantu, wabula n’ebyo ebyayigirizibwa omwoyo.” (1 Kol. 2:13) Okuva bwe kiri nti waali wayise emyaka mingi ng’amazima gabuutikiddwa enjigiriza ez’obulimba, lwaki tweyongedde okutegeera Bayibuli okuva mu mwaka gwa 1919? Ensonga eri nti Yakuwa  abadde akozesa omwoyo gwe omutukuvu okuwa abo abali ku Kakiiko Akafuzi obulagirizi.

14. Okusinziira ku Okubikkulirwa 14:6, 7, bamalayika bayamba batya Akakiiko Akafuzi?

14 Bamalayika babayamba. Akakiiko Akafuzi kalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okulabirira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa ababuulizi abasukka mu bukadde omunaana. Lwaki omulimu gw’okubuulira guvuddemu ebibala bingi? Ekyo kiri kityo kubanga bamalayika bagwenyigiddemu. (Soma Okubikkulirwa 14:6, 7.) Emirundi mingi ababuulizi basanga abantu ababadde baakamala okusaba Katonda abayambe! * Okuba nti omulimu ogw’okubuulira gweyongedde mu maaso ne mu nsi omuli okuyigganyizibwa okw’amaanyi, bukakafu obulaga nti bamalayika bayamba Akakiiko Akafuzi.

15. Njawulo ki eriwo wakati w’Akakiiko Akafuzi n’abakulu b’amadiini ga Kristendomu? Waayo ekyokulabirako.

15 Bakolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. (Soma Yokaana 17:17.) Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu 1973. Magazini ya Watchtower eya Jjuuni 1 yalimu ekibuuzo ekigamba nti: “Omuntu ateggyeeko muze gwa kunywa sigala yandikkiriziddwa okubatizibwa?” Ekibuuzo ekyo yakiddamu ng’egamba nti: “Ebyawandiikibwa biraga nti omuntu oyo tasaanidde kukkirizibwa kubatizibwa.” Oluvannyuma lw’okujuliza ebyawandiikibwa ebiwerako, Watchtower eyo yakiraga nti singa omuntu omubatize agaana okweggyako omuze ogw’okunywa sigala, aba alina okugobebwa mu kibiina. (1 Kol. 5:7; 2 Kol.  7:1) Era yagamba nti: “Omutindo guno ogw’empisa tegusibuka mu bantu wabula guva eri Katonda atubuulira by’ayagala okuyitira mu Kigambo kye.” Tewali ddiini ndala yonna esobodde kunywerera ku Kigambo kya Katonda, naddala bwe kiba nti okukola ekyo kirina abamu ku bagoberezi baayo be kinyigiriza. Ekitabo ekimu ekyogera ku madiini mu Amerika, gye buvuddeko awo kyagamba nti: “Emirundi mingi abakulu b’amadiini g’Ekikristaayo bakyusizza mu ebyo bye bayigiriza okutuukana n’ebyo abagoberezi baabwe abasinga obungi bye baagala oba okutuukana n’ebyo abantu abasinga obungi mu nsi bye baagala.” Abo abali ku Kakiiko Akafuzi tebagoberera ebyo abantu abasinga obungi bye baagala, wabula bagoberera ekyo Bayibuli ky’egamba. Obwo bukakafu bwa maanyi obulaga nti ddala Yakuwa akozesa Akakiiko Akafuzi okukulembera abantu be.

“MUJJUKIRENGA ABO ABABAKULEMBERA”

16. Engeri emu gye tuyinza okujjukiramu abo abali ku Kakiiko Akafuzi y’eruwa?

16 Soma Abebbulaniya 13:7. Ekigambo ekyavvuunulwa “mujjukirenga” era kisobola okuvvuunulwa nga “muboogereko.” N’olwekyo, engeri emu gye tuyinza ‘okujjukiranga abo abatukulembera’ kwe kusabiranga ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi. (Bef. 6:18) Ab’oluganda abo balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi, omuli okutuwa emmere ey’eby’omwoyo, okulabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna, n’okusalawo ku ngeri ssente eziba ziweereddwayo gye zirina okukozesebwamu. Mu butuufu, twetaaga okusabira ab’oluganda abo!

17, 18. (a) Tukiraga tutya nti tuwagira abo abali ku Kakiiko Akafuzi? (b) Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira kyoleka kitya nti tuwagira omuddu omwesigwa awamu ne Yesu?

17 Ate era tukiraga nti tujjukira abo abali ku Kakiiko Akafuzi nga tukolera ku bulagirizi bwe batuwa. Akakiiko Akafuzi katuwa obulagirizi okuyitira mu nkuŋŋaana entono n’ennene. Era kalonda abalabirizi abakyalira ebibiina, ate abalabirizi abo nabo ne balonda abakadde mu bibiina. Abalabirizi abakyalira ebibiina n’abakadde mu bibiina bajjukira abo abali ku Kakiiko Akafuzi nga bakolera ku bulagirizi bwe babawa. Ffenna tukiraga nti tussa ekitiibwa mu Mukulembeze waffe Yesu nga tugondera abo baakozesa okutuwa obulagirizi.Beb. 13:17.

18 Engeri endala gye tujjukiramu abo abali ku Kakiiko Akafuzi kwe kwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. Pawulo yakubiriza Abakristaayo okukoppa okukkiriza kw’abo ababakulembera. Abo abali ku Kakiiko Akafuzi boolese okukkiriza okw’amaanyi nga beenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira era nga bakakasa nti amawulire amalungi gatuuka ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Oli omu ku b’endiga endala abawagira abaafukibwako amafuta mu mulimu guno omukulu ennyo? Bwe kiba kityo, ojja kuba musanyufu nnyo okuwulira ng’Omukulembeze wo Yesu akugamba nti: ‘Bwe wabikoleranga omu ku baganda bange bano abasembayo okuba aba wansi, wabanga obikolera nze.’Mat. 25:34-40.

19. Lwaki oli mumalirivu okugoberera Omukulembeze waffe Yesu?

19 Yesu bwe yaddayo mu ggulu, teyayabulira bagoberezi be. (Mat. 28:20) Yesu amanyi bulungi engeri omwoyo omutukuvu, bamalayika, n’Ekigambo kya Katonda gye byamuyambamu okukulembera abantu ba Katonda ng’ali ku nsi. Bwe kityo, Yesu ayambye omuddu omwesigwa ng’akozesa ebintu ebyo ebyamuyamba. Omuddu omwesigwa, kwe kugamba abo abali ku Kakiiko Akafuzi, “bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga.” (Kub. 14:4) N’olwekyo, bwe tukolera ku bulagirizi bw’atuwa tuba tugoberera Omukulembeze waffe Yesu. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kutukulembera atutuuse mu bulamu obutaggwaawo. (Kub. 7:14-17) Tewali mufuzi yenna ku nsi asobola kutukolera ekyo!

^ lup. 3 Kirabika Yakuwa yali ayagala abatume babe 12 basobole okuba “amayinja g’omusingi 12” aga Yerusaalemi Ekiggya. (Kub. 21:14) Eyo ye nsonga lwaki kyali tekyetaagisa kulonda bantu balala kudda mu bifo by’abatume abaafa nga beesigwa.

^ lup. 8 Okuva mu 1955, ekitongole ekyo kyatandika okuyitibwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.

^ lup. 14 Laba ekitabo “Bearing Thorough Witness” About God’s Kingdom, lup. 58-59.