Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ababuulizi mu Cook Islands bagaba obupapula obuyita abantu mu nkuŋŋaana

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Ssebutemba 2017

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Omunaala gw’Omukuumi n’okuyigiriza amazima agakwata ku Bayibuli ne ssaayansi. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Okusinza Okulongoofu Kuzzibwawo

Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna kwakakasa Abayisirayiri abeesigwa abaali mu buwaŋŋanguse nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Lwaki Okusinza Okulongoofu Okutwala nga kwa Muwendo?

Okusinza okulongoofu kunywezeddwa. Otera okufumiitiriza ku nkizo gy’olina ey’okumanya Yakuwa n’okumuweereza?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Emikisa Abayisirayiri Gye Bandifunye nga Bazziddwayo mu Nsi Yaabwe

Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna kwalaga nti wandibaddewo enteekateeka ennungi, okukolera awamu, era n’emirembe.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Okuba Omwesigwa eri Yakuwa Kivaamu Ebirungi

Okufumiitiriza ku kyokulabirako ky’Abebbulaniya abasatu kituyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Sigala ng’Oli Mwesigwa ng’Okemeddwa

Yesu Kristo yasigala nga mwesigwa eri Katonda ng’akemebwa. Abantu abatatuukiridde basobola okusigala nga beesigwa eri Katonda wadde nga bapkirizibwa?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Sigala ng’Oli Mwesigwa ng’Omu ku b’Omu Maka Go Agobeddwa mu Kibiina

Omu ku b’omu maka gaffe bw’agobebwa mu kibiina, kigezesa obwesigwa bwaffe. Kiki ekisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Oneeyongera Okuweereza Yakuwa ne mu Mbeera Enzibu?

Danyeri yeeyongera okuweereza Yakuwa. Teyakkiriza kintu kyonna kuyingirira nteekateeka ye ey’eby’omwoyo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Batendeke Basobole Okweyongera Okuweereza Yakuwa

Ababuulizi abapya batendeke nga bukyali basobole okuba ababuulira abalungi, era abanyiikivu. Yamba omuyizi wo okufuuka omubuulizi omulungi.