Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

ZUUKUKA!

Ebibuuzo: Abantu abamu babuusabuusa obanga ddala Yesu yaliyo, ate abalala bakakafu nti yaliyo. Kyokka abalala bagamba nti kizibu okukakasa obanga yaliyo. Ggwe olowooza otya?

Eky’okugaba: Akatabo kano katuyamba okumanya ekituufu.

YIGIRIZA AMAZIMA

Ekibuuzo: Olowooza kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

Ekyawandiikibwa: Yok 11:11-14

Amazima: Omuntu bw’afa, obulamu bwe bukoma. N’olwekyo tetusaanidde kutya nti waliwo ekinaatutuukako nga tufudde. Yesu yageraageranya okufa ku kwebaka. Nga Yesu bwe yazuukiza Laazaalo, ajja kuzuukiza abantu baffe abaafa baddemu okuba abalamu wano ku nsi.Yobu 14:14.

AKAPAPULA AKAYITA ABANTU MU NKUŊŊAANA (inv)

By’oyinza okwogera: Nkwaniriza ojje owulirize okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli. Tujja kuba ku Kingdom Hall Abajulirwa ba Yakuwa we basabira. [Muwe akakapula akayita abantu mu nkuŋŋaana, mulage ebiseera n’ekifo, era mubuulire omutwe gw’emboozi ya bonna.]

Ekibuuzo: Wali ogenzeeko ku Kingdom Hall, Abajulirwa ba Yakuwa we basabira? [Bwe kiba kituukirawo, mulage vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka?]

TEGEKA ENNYANJULA YO

Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.