Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ababuulizi bagaba brocuwa Amaka Amasanyufu, mu Georgia

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Noovemba 2017

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Omunaala gw’Omukuumi, n’okubuulira amazima agakwata ku linnya lya Katonda. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Munoonye Yakuwa Musobole Okusigala nga Muli Balamu”

Okunoonya Katonda kitegeeza ki? Kiki ekyatuuka ku Bayisirayiri bwe baalekera awo okunoonya Yakuwa?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okudiŋŋaana

Oyinza otya okukola okudiŋŋana okuvaamu ebibala? Fuba okumuddira, beera n’ekiruubirirwa buli lw’omudiŋŋaana.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Yigira ku Nsobi Zo

Ebikwata ku Yona biraga nti Yakuwa tatwabulira wadde nga tukoze ensobi, kyokka, atusuubira okuyigira ku nsobi zaffe.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bye Tuyiga mu Kitabo kya Yona

Okufumiitiriza ku byatuuka ku Yona kituyamba obutaggwaamu maanyi nga tufunye ebizibu, okuba n’endowooza ennungi ku buweereza bwaffe, n’okuddamu amaanyi okuyitira mu kusaba.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Kiki Yakuwa ky’Atwetaagisa?

Kakwate ki akaliwo wakati w’okusinza kwaffe n’enkolagana gye tulina ne Bakristaayo bannaffe?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGATitleSigala ng’Otunula mu by’Omwoyo era ng’Oli Munyiikivu

Sigala ng’Otunula mu by’Omwoyo era ng’Oli Munyiikivu

Kyalabika ng’Abababulooni abatandisobodde kuzikiriza Yuda. Wadde kyali kityo, obunnabbi bwalina okutuukirira, era Kaabakuuku yalina okulindirira lwe bwandituukiridde.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Sigala ng’otunula mu by’omwoyo nga wazzeewo enkyukakyuka

Enkyukakyuka bwe zitaataaganya okusinza kwaffe era ne ziteeka enkolagana yaffe ne Yakuwa mu kabi, biki ebinaatuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo era nga tuli banyiikivu?