Engero essuula 31 erimu obubaka obw’amaanyi Kabaka Lamweri bwe yafuna okuva eri maama we. Maama we yamulaga bye yali asaanidde okulowoozaako ng’anoonya omukyala omulungi.

Omukyala omulungi aba yeesigika

31:10-12

  • Awa omwami we amagezi amalungi nga waliwo ekisalibwawo mu maka, naye era asigala agondera omwami we

  • Omwami we amwesiga nti waliwo by’asobola okusalawo wadde nga tasoose kumwebuuzaako

Omukyala omulungi aba mukozi

31:13-27

  • Tadiibuuda bintu era aba mumativu n’ebyo bye balina; ab’omu maka ge abafunira eby’okwambala era tebabulwa kya kulya

  • Akola nnyo era alabirira ab’omu maka ge emisana n’ekiro

Omukyala omulungi aba yettanira eby’omwoyo

31:30

  • Atya Katonda era afuba okuba n’enkolagana ennungi naye