Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okukkiriza kw’Olina mu Bisuubizo bya Yakuwa Kunywevu Kwenkana Wa?

Okukkiriza kw’Olina mu Bisuubizo bya Yakuwa Kunywevu Kwenkana Wa?

Yoswa ne Sulemaani bombi baagamba nti tewali kisuubizo na kimu ku ebyo byonna Yakuwa bye yasuubiza ekitaatuukirira. (Yos 23:14; 1Sk 8:56) Ekyo kyongera okunyweza okukkiriza kwe tulina mu busuubizo bya Yakuwa.​—2Ko 13:1; Tit 1:2.

Yakuwa yatuukiriza atya ebisuubizo bye mu kiseera kya Yoswa? Nga muli awaka, mulabe vidiyo erina omutwe ogugamba nti, ‘Tewali Kigambo na Kimu Ekitatuukiridde.’ Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino ebinaakubaganyizibwako ebirowoozo mu kibiina: (1) Tuyinza tutya okukoppa Lakabu? (Beb 11:31; Yak 2:24-26) (2) Ekyatuuka ku Akani kiraga kitya nti okujeemera Yakuwa kivaamu emitawaana? (3) Wadde ng’abasajja b’e Gibiyoni baali balwanyi ba maanyi, lwaki baalimba Yoswa ne bakola endagaano ey’emirembe n’Abayisirayiri? (4) Ekigambo kya Yakuwa kyatuukirira kitya bakabaka abataano Abaamoli bwe bajja okulwanyisa Abayisirayiri? (Yos 10:5-14) (5) Yakuwa akuyambye atya bw’ofubye okukulembeza Obwakabaka n’obutuukirivu bwe?​—Mat 6:33.

Bwe tufumiitiriza ku bintu Yakuwa by’akoze, by’akola kati, ne by’ajja okukola, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera.​—Bar 8:31, 32.

Olina okukkiriza ng’okwa Yoswa?