Mu Zabbuli 52-59 Dawudi ayogera ku ngeri gye yali yeewuliramu mu kiseera lwe yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu mu bulamu bwe. Kyokka ne mu biseera ebyo ebizibu, yeesiga Yakuwa. (Zb 54:4; 55:22) Ate era, yatendereza Yakuwa olw’Ekigambo kye. (Zb 56:10) Naffe tufuba okuba n’okukkiriza nga Dawudi era twesiga Yakuwa? Tunoonya obulagirizi obuli mu Kigambo kye bwe tuba n’ebizibu? (Nge 2:6) Kyawandiikibwa ki ekyakuyamba . . .

  • bwe wali oweddemu amaanyi oba ng’oli mwennyamivu?

  • bwe wali omulwadde?

  • nga waliwo akunyiizizza?

  • bwe wali ng’oyigganyizibwa?