Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Ababuulizi nga bagaba tulakiti mu Malta

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Jjuuni 2016

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa nga tugaba Zuukuka! ne tulakiti. Kozesa ebyokulabirako ebyo osobole okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Weesige Yakuwa Okolenga Ebirungi

Kolera ku magezi agali mu Zabbuli 37.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe —Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo

Lwaki tusaanidde okukozesa vidiyo zaffe nga tubuulira? Ziyinza zitya okutuyamba okuyigiriza obulungi?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Yakuwa Alabirira Abalwadde

Ebigambo bya Dawudi ebyaluŋŋamizibwa ebiri mu Zabbuli 41 bisobola okugumya abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abalwadde era abalina ebizibu.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Omutima Oguboneredde Yakuwa Tagugaya

Mu Zabbuli 51, Dawudi annyonnyola engeri gye yawuliramu olw’ekibi kye yakola. Kiki ekyamuyamba okuzzaawo enkolagana ye ne Katonda?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Obwakabaka—Emyaka 100 n’Okweyongerayo

Kozesa ebibuuzo okukubaganya ebirowoozo ku ebyo Obwakabaka bwe bikoze okuva mu 1914.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Omugugu Gwo Gutikke Yakuwa”

Ebigambo bya Dawudi ebyaluŋŋamizibwa ebiri mu Zabbuli 55:22 bisobola okutuyamba nga tulina ekizibu kyonna oba nga tuli beeraliikirivu.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

“Katonda ye Muyambi Wange”

Dawudi yatendereza Yakuwa olw’Ekigambo kye. Byawandiikibwa ki ebikuyambye okwaŋŋanga embeera enzibu?