Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Obulamu bw'Ekikristaayo n'Obuweereza–Akatabo k'Enkuŋŋaana  |  Jjulaayi 2016

 OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Osobola Okukigezaako Okumala Omwaka Gumu?

Osobola Okukigezaako Okumala Omwaka Gumu?

Kugezaako ki? Okuweereza nga payoniya owa bulijjo! Bw’onoogezaako, ojja kufuna emikisa mingi!Nge 10:22.

BW’OWEEREZA NGA PAYONIYA, OSOBOLA . . .

  • okufuna obumanyirivu mu kubuulira, era n’okunyumirwa obuweereza bwo

  • okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. Gy’okoma okubuulira abalala ebimukwatako, gy’okoma okumanya engeri ze ez’ekitalo

  • okufuna essanyu eriva mu kukulembeza Obwakabaka mu kifo ky’okukulembeza ggwe by’oyagala, era n’essanyu eriva mu kuyamba abalala.Mat 6:33; Bik 20:35

  • okubaawo mu lukuŋŋaana lwa bapayoniya olubaawo ng’omulabirizi w’ekitundu akyadde, okubaawo mu lukuŋŋaana olw’enjawulo bapayoniya lwe baba nalwo mu wiiki y’olukuŋŋaana olunene, n’okugenda mu Ssomero lya Bapayoniya

  • okufuna abayizi ba Bayibuli bangi

  • okumala ebiseera ebiwerako ng’obuulirako n’ababuulizi abalala, era nga muzziŋŋanamu amaanyi.Bar 1:11, 12