Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Obulamu bw'Ekikristaayo n'Obuweereza–Akatabo k'Enkuŋŋaana  |  Jjulaayi 2016

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

OMUNAALA GW’OMUKUUMI

Ekibuuzo: Wabaddewo abantu abagezezzaako okusaanyaawo Bayibuli, olowooza singa Bayibuli si Kigambo kya Katonda yandibadde ekyaliwo?

Ekyawandiikibwa: Is 40:8

By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’ezze ekuumibwamu.

OMUNAALA GW’OMUKUUMI (olupapula olusembayo)

Ekibuuzo: Nnandyagadde okumanya endowooza yo ku kibuuzo kino. [Musomere ekibuuzo ekisooka ku lupapula 16.] Abamu balowooza nti abantu be baagunjaawo amadiini. Abalala balowooza nti Katonda akozesa amadiini okutuyamba okumumanya. Ggwe olowooza otya?

Ekyawandiikibwa: Yak 1:27, obugambo obuli wansi

By’oyinza okwogera: Ekitundu kino kirimu ebirala Bayibuli by’eyogera ku nsonga eno. Nnandyagadde okukomawo tukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kitundu kino.

AMAWULIRE AMALUNGI OKUVA ERI KATONDA!

Ekibuuzo: Bwe tusoma obunnabbi buno obuli mu Bayibuli tuba ng’abasoma ebyo ebiba mu mpapula z’amawulire. Kiruwa ku bino kye wali owuliddeko oba kye wali olabye?

Ekyawandiikibwa: 2Ti 3:1-5

By’oyinza okwogera: Akatabo kano kalaga nti ebintu ebyo ebiriwo mawulire malungi eri abantu abaagala Katonda. [Mulage essomo 1, akatundu 2.]

TEGEKA ENNYANJULA YO

Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.