11:28-30

“Ekikoligo Kyange Kyangu Okusitula”

Ng’omubazzi, Yesu yali amanyi okukola ekikoligo, oboolyawo ng’akiteekako ebigoye oba ekintu ekigonda, ne kiba kyangu okusitula. Bwe tukkiriza okusitula ekikoligo kya Yesu nga tubatizibwa ne tufuuka abayigirizwa be, tuba tukkirizza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Kyokka si kizibu kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo, era tufuna emikisa mingi.

Mikisa ki gy’ofunye okuva lwe watandika okusitula ekikoligo kya Yesu?