Ezera yakola enteekateeka okuddayo e Yerusaalemi

7:6, 22; 8:26, 27

  • Ezera yakola enteekateeka okuddayo e Yerusaalemi

  • Kabaka Alutagizerugiizi yawa Ezera olukusa okuddayo e Yerusaalemi asobole okuzzaawo okusinza okw’amazima

• Kabaka yawa Ezera “byonna bye yasaba”—zzaabu, ffeeza, eŋŋaano, omwenge, amafuta, n’omunnyo, nga byonna bibalirirwamu ddoola z’Amerika ezisukka mu bukadde ekikumi

Ezera yali mukakafu nti Yakuwa yandikuumye abaweereza be

  • 7:13; 8:21-23

  • Olugendo lw’e Yerusaalemi terwali lwangu

  • Olugendo lwali lwa mayiro nga 1,000 era ebitundu bye baayitamu byalimu ebizibu ebitali bimu ebyateeka obulamu bwabwe mu kabi

  • Olugendo lwamala emyezi ng’ena

• Abo abaddayo baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, okwagala ennyo okusinza okw’amazima, era n’okuba abavumu

EZERA YATWALA . . .

Zzaabu ne ffeeza ebizitowa ttalanta ezisukka mu 750 Obuzito obwo bwenkana obw’enjovu ssatu ennene obulungi!

EBIZIBU BYE BAAYITAMU NGA BADDAYO

Abazigu, okuyita mu ddungu, n’enjaba ez’obusagwa