Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Obulamu bw'Ekikristaayo n'Obuweereza–Akatabo k'Enkuŋŋaana  |  Janwali 2016

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

OMUNAALA GW’OMUKUUMI

kibuuzo: Olowooza ensi yandibadde etya singa buli omu yali akolera ku kyawandiikibwa kino?

Ekyawandiikibwa: Beb 13:18

By’oyinza okwogera: Bayibuli etukubiriza okuba abeesigwa mu bintu byonna. N’olwekyo, obwesigwa bwetaagisa mu buli kimu kye tukola. Eyo ye nsonga akatabo kano gye koogerako.

OMUNAALA GW’OMUKUUMI (olupapula olusembayo)

Ekibuuzo: Wandizzeemu otya ekibuuzo kino? [Musomere ekibuuzo ekisooka.] Abantu abamu bakkiriza nti bwe tufa tuba tetufiiridde ddala, ate abalala bagamba nti okufa ye nkomerero y’omuntu. Ggwe olowooza otya?

Ekyawandiikibwa: Mub 9:5 Akatabo kano kalimu ensonga endala ezikwata ku kibuuzo ekyo.

By’oyinza okwogera: Ekitundu kino kinnyonnyola ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eno. Nkusaba okisome, bwe nnakomawo tukikubaganyeeko ebirowoozo

AMAWULIRE AMALUNGI OKUVA ERI KATONDA!

By’oyinza okwogera: Nkukyaliddeko okukutegeeza ku nteekateeka gye tulina ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere. Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo abantu bye batera okwebuuza.

Ekibuuzo: Otera okusoma ku Bayibuli? Ka nkulage engeri gye kiri ekyangu okusoma Bayibuli nga tukozesa akatabo kano. [Musome akatundu akali wansi w’ekibuuzo ekisooka 1 mu ssomo 2.]

Ekyawandiikibwa: Kub 4:11

TEGEKA ENNYANJULA YO

Kozesa ekyokulabirako waggulu okutegeka ennyanjula yo