16:21-23

  • Wadde nga Peetero yali ayogera mu bwesimbu, endowooza ye yali nkyamu era Yesu yamutereeza

  • Yesu yali akimanyi nti ekyo tekyali kiseera kya ‘kwesaasira.’ Ekyo kyennyini Sitaani kye yali ayagala Yesu akole mu kiseera ekyo ekyali ekikulu ennyo

16:24

Yesu yayogera ku bintu bisatu bye tulina okukola okulaga nti tulina endowooza ya Katonda. Ebintu ebyo bizingiramu ki?

  • Obuteetwala ffekka:

  • Okusitula omuti gwaffe ogw’okubonaabona:

  • Okweyongera okugoberera Yesu: