Abantu ba katonda baawagira okusinza okw’amazima mu ngeri ezitali zimu

10:28-30, 32-39; 11:1, 2

  • Abayisirayiri beeteekateeka era ne bakwata Embaga ey’Ensiisira mu ngeri entuufu

  • Buli lunaku abantu baakuŋŋaananga okuwuliriza ng’Amateeka gasomebwa, era ekyo kyabaleeteranga essanyu

  • Abantu beenenya ebibi byabwe, era ne basaba Katonda abawe emikisa

  • Abantu bakkiriziganya okweyongera okuwagira okusinza okw’amazima

Okuwagira okusinza okw’amazima kwali kuzingiramu na bino:

  • Okuwasa oba okufumbirwa abo bokka abasinza Yakuwa

  • Okuwangayo ssente

  • Okukwatanga Ssabbiiti

  • Okuleetanga enku ez’okukozesa ku kyoto

  • Okuwangayo eri Yakuwa ebibala ebibereberye n’ebisolo ebibereberye