8:20-23

Abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga bandikutte ku kyambalo ky’Omuyudaaya nga bagamba nti: “Twagala kugenda nammwe.” Mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu okuva mu mawanga gonna beegasse ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta okusinza Yakuwa

Ezimu ku ngeri ab’endiga endala gye bayambamu abaafukibwako amafuta ze ziruwa?

  • Beenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira

  • Bawagira omulimu ogwo mu by’ensimbi