LWAKI KIKULU?: Nnabbi Zekkaliya yalagula nti abantu okuva mu nnimi zonna ez’amawanga bandikkirizza amawulire amalungi. (Zek 8:23) Naye baani abandibayigirizza? (Bar 10:13-15) Tulina enkizo era n’obuvunaanyizibwa obw’okutuusa amawulire amalungi ku buli muntu.​—od lup. 84 ¶10-11.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Weeteeketeeke bulungi. Bw’oba obuulira otera okusanga abantu aboogera olulimi olulala? Osobola okukozesa programu ya JW Language okuyiga ennyanjula mu lulimi olwo. Oba ng’okozesa essimu yo, osobola okulaga omuntu w’asobola okusanga ebisingawo ku jw.org mu lulimi lwe

  • Kozesa buli kakisa k’ofuna. Bw’oba obuulira nnyumba ku nnyuma, tokkiriza kakisa konna ak’okubuulira kukuyitako. Yogera n’abo abayitawo oba abalinze entambula. Bw’oba obuulira mu bifo ebya lukale, tokkiriza kintu kyonna kukuwugula

  • Beera munyiikivu. Gezaako okuddayo mu maka g’otaasangamu bantu. Gezaako okubaako gw’obuulira mu buli maka, oboolyawo ng’ogendayo ku ssaawa ez’enjawulo mu lunaku oba ku lunaku olulala mu wiiki. Kiyinza okukwetaagisa okubuulira abantu abamu ng’okozesa amabaluwa, essimu, oba okubasanga ng’obuulira mu bifo ebya lukale

  • Fuba okuddiŋŋana. Fuba okuddayo amangu eri omuntu eyasiima obubaka bwaffe. Omuntu bw’aba ng’ayogera lulimi lulala, fuba okufuna omuntu asobola okumuyamba mu lulimi lwe. Osaanidde okweyongera okuddira omuntu oyo okutuusa ng’omufunidde omubuulizi amanyi olulimi lwe.​—od lup. 94 ¶39-40

MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, OKUBUULIRA MU ‘BITUNDU BY’ENSI EBY’EWALA,’ OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Nteekateeka ki ababuulizi ze baakola okusobola okugenda okubuulira mu kitundu eky’ewala? (1Ko 9:22, 23)

  • Kusoomoozebwa ki kwe baayolekagana nakwo?

  • Mikisa ki gye baafuna?

  • Biki bye weetaaga okukola okusobola okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka mu kitundu ky’obuuliramu?