Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Obulamu bw'Ekikristaayo n'Obuweereza–Akatabo k'Enkuŋŋaana  |  Ddesemba 2017

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

ZUUKUKA!

Ekibuuzo: Olowooza lwaki embeera y’ensi yeeyongera kwonooneka?

Ekyawandiikibwa: Yer 10:23

Eky’okugaba: Akatabo kano kannyonnyola ensonga lwaki abantu bangi balina essuubi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi.

ZUUKUKA!

Ekibuuzo: Katonda alina erinnya?

Ekyawandiikibwa: Zb 83:18

Eky’okugaba: Akatabo kano kannyonnyola amakulu g’erinnya lya Katonda n’ensonga lwaki tusaanidde okukozesa erinnya eryo. [Mulage ekitundu ekirina omutwe, “Bayibuli ky’Egamba​—Erinnya lya Katonda.”]

YIGIRIZA AMAZIMA

Ekibuuzo: Olowooza okufa kuliggwaawo?

Ekyawandiikibwa: 1Ko 15:26

Amazima: Yakuwa ajja kuggirawo ddala okufa.

TEGEKA ENNYANJULA YO

Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.