Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Babuulira mu katale mu Sierra Leone

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Ddesemba 2017

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Zuukuka!, n’okubuulira amazima agakwata ku kufa. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Munoonye Yakuwa ng’Olunaku lw’Obusungu Bwe Terunnatuuka

Yakuwa bw’aba ow’okutuwonyaawo ku lunaku olw’obusungu bwe, tulina okugondera obulagirizi Zeffaniya bwe yawa.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

‘Weekwate ku Kyambalo ky’Omuyudaaya’

Abantu okuva mu mawanga gonna beegasse ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta okusinza Yakuwa. Ezimu ku ngeri ze tuyinza okuyambamu abaafukibwako amafuta ze ziruwa?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okutuuka ku Buli Muntu mu Kitundu Kye Tubuuliramu

Twalagala okutuusa ku buli muntu amawulire amalungi mu kitundu kye tubuuliramu. Kino tuyinza kukikola tutya?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Sigala mu ‘Kiwonvu Ekiri Wakati w’Ensozi’

‘Ekiwonvu ekiri wakati w’ensozi’ kikiikirira ki? Abantu bakiddukiramu batya era bayinza batya okukisigalamu?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ekitundu Ekipya mu Lukuŋŋaana Olwa Wakati mu Wiiki

Kozesa Bayibuli ya New World Translation ey’okukozesa mu kwesomesa kikuyambe okweteekerateekera obulungi enkuŋŋaana kikuyambe okweyongera okusemberera Yakuwa.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Obufumbo Bwammwe Busanyusa Yakuwa?

Mu kiseera kya Malaki, Yakuwa Katonda yali tasiima kusinza kw’abo abaakuusakuusanga bannaabwe mu bufumbo. Leero abafumbo bayinza batya okusigala nga beesigwa eri bannaabwe?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okwagala Okwa Nnamaddala Okumanyira ku Ki?

Yakuwa Ayagala obufumbo bube bwa lubeerera. atuwadde obulagirizi obusobola okutuyamba okulonda n’amagezi oyo gwe tunaafumbiriganwa naye era n’okuba abasanyufu mu bufumbo bwaffe.