Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Obulamu bw'Ekikristaayo n'Obuweereza–Akatabo k'Enkuŋŋaana  |  Ddesemba 2016

 EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 1-5

“Mujje Twambuke ku Lusozi lwa Yakuwa”

“Mujje Twambuke ku Lusozi lwa Yakuwa”

2:2, 3

“Mu nnaku ezisembayo”

Nga kye kiseera kye tulimu kati

“Olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa”

Nga kuno kwe kusinza okw’amazima

“Amawanga gonna galyekuluumululira okwo”

Abo abaagala okusinza okw’amazima bakuŋŋaanyizibwa era bali bumu

“Mujje twambuke ku lusozi lwa Yakuwa”

Abasinza Yakuwa bayita abantu abalala babeegatteko

“Anaatuyigiriza amakubo ge, era tunaatambulira mu mpenda ze”

Yakuwa atuyigiriza ng’akozesa Ekigambo kye, era atuyamba okutambulira mu makubo ge

2:4

“Tebaliyiga kulwana nate”

Isaaya yagamba nti eby’okulwanyisa birikolebwamu ebintu ebikozesebwa mu nnimiro, ekiraga nti abantu ba Yakuwa bandikoze ebintu ebireetawo emirembe. Biki ebyakozesebwanga mu nnimiro mu kiseera kya Isaaya?

“Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi”

1 Enkumbi ezoogerwako wano zeezo ezaasikibwanga ente, era ezimu zaabanga za byuma.1Sa 13:20

“Amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo”

2 Ebiwabyo byakozesebwanga kusalira mizabbibu.Is 18:5