Sebuna yali muwanika ‘eyalabiriranga ennyumba,’ ng’eno kirabika yali nnyumba ya Kabaka Keezeekiya. Ye yali addirira kabaka mu buyinza era yalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi.

22:15, 16

  • Sebuna yalina kukola ku nsonga ezikwata ku bantu ba Yakuwa

  • Mu kifo ky’ekyo, yasalawo kwenoonyeza bitiibwa

22:20-22

  • Yakuwa yaggya Sebuna mu kifo kye yalimu n’assaawo Eriyakimu

  • Eriyakimu yaweebwa “ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi,” ng’ekyo kikiikirira obuyinza

Eky’okulowoozaako: Sebuna yandikozesezza atya obuyinza bwe yalina?