• Oluyimba 130 n’Okusaba

 • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

 • Osonyiyiddwa Ebibi Byo”: (Ddak. 10)

 • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

  • Mak 1:11​—Ebigambo Yakuwa bye yagamba Yesu ebiri mu lunyiriri luno birina makulu ki? (“eddoboozi ne liva mu ggulu,“ “Ggwe Mwana wange,“ “nkusanyukira“ awannyonnyolerwa ebiriri mu Mak 1:11, nwtsty)

  • Mak 2:27, 28​—Lwaki Yesu yagamba nti ye “Mukama wa Ssabbiiti”? (“Mukama wa Ssabbiiti“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 2:28, nwtsty)

  • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

  • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

 • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mak 1:1-15

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

 • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe.

 • Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.

 • Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

 • Oluyimba 44

 • “Sajja Kuyita Batuukirivu Wabula Aboonoonyi”: (Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Nnava mu Kkomera ne Nfuuka Omuntu ow’Omugaso. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Kiki ekyayamba Donald okufuna essanyu erya nnamaddala? Tuyinza tutya okukoppa Yesu nga tubuulira?​—Mak 2:17.

 • Yakuwa ‘Asonyiyira Ddala’: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Yakuwa, Nja Kukukulembeza mu Bulamu Bwange. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Kiki ekyayamba Anneliese okudda eri Yakuwa? (Is 55:6, 7) Oyinza otya okukozesa ekyokulabirako kye okuyamba abo abavudde ku Yakuwa?

 • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 17

 • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

 • Oluyimba 86 n’Okusaba