Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ababuulizi babuulira nga bakozesa brocuwa Amawulire Amalungi mu Azerbaijan

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Agusito 2017

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesA okugaba magazine ya Zuukuka n’okuyigiriza amazima agakwata ku kigendererwa ky’obulamu. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Yakuwa Yawa Empeera Eggwanga Eryali Litamusinza

Yakuwa yawa Abababulooni empeera oluvannyuma lw’okuzingiza Ttuulo okumala emyaka 13. Alaga atya nti asiima bye tukola ne bye twefiiriza okumuweereza?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kulaakulanya Engeri Ennungi—Obuwombeefu

Lwaki kikulu okuba omuwombeefu? Tuyinza tutya okulaga nti tuli bawombeefu? Okusaba n’okukoppa Yesu biyinza bitya okutuyamba okuba abawombeefu?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Omukuumi Yalina Obuvunaanyizibwa Bwa Maanyi

Abakuumi baabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabula abantu ab’omu kibuga ku kabi akaabanga kaboolekedde. Lwaki Yakuwa yalonda Ezeekyeri okuba omukuumi eri eggwanga lya Isirayiri

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kulaakulanya Engeri Ennungi—Obuvumu

Lwaki twandifubye okulwanyisa okutya abantu? Okufumiitiriza, okusaba, n’okwesiga Yakuwa bituyamba bitya okuba abavumu?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Googi ow’e Magoogi Anaatera Okuzikirizibwa

Bayibuli etubuulira ebinaabaawo nga Googi ow’e Magoogi anaatera okuzikirizibwa era n’ebinaabaawo ng’amaze okuzikirizibwa.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kulaakulanya Engeri Ennungi—Okukkiriza

Okufaananako Ibulayimu, tulina okwoleka okukkiriza okw’amaanyi ne bwe tuba mu mbeera enzibu. Biki ebinaatuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi era n’okuba abeesigwa?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Bye Tuyigira ku Kwolesebwa Okukwata ku Yeekaalu Ezeekyeri kwe Yafuna

Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa etujjukiza nti emitindo Yakuwa gy’ateereddewo abo abamusinza gya waggulu nnyo. Okwolesebwa okwo kuyinza kutukubiriza kukola ki?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Nziremu Ddi Okuweerezaako nga Payoniya Omuwagizi?

Engeri emu ey’okuwaayo ssaddaaka ey’okutendereza kwe kuweereza nga payoniya omuwagizi. Osobola okwongera ku buweereza bwo mu ngeri eno?