Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Yigira ku Muyigiriza Omukulu

 ESSUULA 45

Obwakabaka bwa Katnda Kye ki? Tulaga Tutya Nti Tubwagala?

Obwakabaka bwa Katnda Kye ki? Tulaga Tutya Nti Tubwagala?

OMANYI essaala Yesu gye yayigiriza abagoberezi be?— Bw’oba nga togimanyi, tusobola okugisomera awamu mu Matayo 6:9-13. Essaala eyo abangi gye bayita Essaala ya Mukama Waffe, erimu ebigambo bino: “Obwakabaka bwo bujje.” Obwakabaka bwa Katonda kye ki?—

Ka nkunnyonnyole. Kabaka abeera mufuzi wa nsi oba wa ttwale. Era gavumenti ye eyitibwa obwakabaka. Mu nsi ezimu omukulembeze wa gavumenti ayitibwa pulezidenti. Ate Omufuzi wa gavumenti ya Katonda ayitibwa atya?— Ayitibwa Kabaka. Eyo ye nsonga lwaki gavumenti ya Katonda eyitibwa Obwakabaka.

Omanyi oyo Yakuwa Katonda gwe yalonda okufuga nga Kabaka mu gavumenti ye?— Omwana we, Yesu Kristo. Lwaki Yesu y’asinga abafuzi  bonna abalondebwa abantu?— Kubanga ayagala nnyo Kitaawe, Yakuwa. N’olwekyo bulijjo ky’akola kiba kituufu.

Edda ennyo nga Yesu tannazaalibwa mu Besirekemu, Bayibuli yayogera ku kuzaalibwa kwe era n’egamba nti yandibadde Mufuzi eyalondebwa Katonda. Ka tusome ku nsonga eno mu Isaaya 9:6, 7. Wagamba nti: ‘Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow’obulenzi aweereddwa ffe; n’okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: era anaayitibwanga Omulangira ow’Emirembe. Okufuga kwe n’emirembe tebirikoma kweyongera.’

Omanyi lwaki Omufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda ayitibwa ‘Omulangira ow’Emirembe’?— Omulangira ono mwana wa kabaka. Era Yesu ye Mwana wa Kabaka Omukulu, Yakuwa. Naye era Yakuwa yalonda Yesu okuba Kabaka mu bwakabaka bwe, obujja okufuga ensi okumala emyaka lukumi. (Okubikkulirwa 20:6) Yesu bwe yamala okubatizibwa, yatandika “okubuulira ng’agamba nti: ‘Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu buli kumpi.’”Matayo 4:17.

Olowooza lwaki Yesu yagamba nti Obwakabaka bwali busembedde?— Kubanga Kabaka, eyali ow’okufuga mu ggulu, yali nabo awo! Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba abantu nti: “Obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.” (Lukka 17:21) Tewandyagadde kubeera kumpi ne Kabaka Yakuwa gwe yalonda ng’osobola n’okumukwatako?—

Olowooza mulimu ki omukulu ennyo Yesu gwe yajja okukola ku nsi?— Yesu yaddamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.” (Lukka 4:43) Yesu yali akimanyi nti omulimu gw’okubuulira teyandigukoze yekka. Kati olowooza kiki kye yakola?—

Mulimu ki Yesu gwe yajja okukola ku nsi?

Yesu alina abantu be yagendanga nabo  n’abalaga engeri y’okukolamu omulimu gw’okubuulira. Abantu be yasooka okutendeka baali batume be 12. (Matayo 10:5, 7) Naye Yesu yatendeka batume be bokka okukola omulimu guno? Nedda, Bayibuli egamba nti Yesu yatendeka n’abantu abalala bangi okubuulira. Nga wayiseewo ekiseera, yatuma abayigirizwa abalala 70 bamukulemberemu nga bali babiri babiri. Naye kiki kye baali bagenda okubuulira abantu?— Yesu yabagamba nti: “Mubagambe nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’” (Lukka 10:9) Mu ngeri eyo abantu baayiga ebikwata ku gavumenti ya Katonda.

Edda ennyo mu Isirayiri, bakabaka abapya baatuulanga ku mwana gw’endogoyi ne bayingira mu kibuga okweraga eri abantu. Ne Yesu bw’atyo bwe yakola bwe yayingira mu Yerusaalemi omulundi gwe ogwasembayo. Yesu yali wa kubeera Mufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda. Naye abantu baayagala Yesu abe Kabaka waabwe?—

Bwe yali ku ndogoyi ng’agenda, abantu abasinga obungi baayalirira ebyambalo byabwe eby’okungulu mu kkubo we yali agenda okuyita. Abalala baatema amatabi g’emiti ne bagalirira mu kkubo. Mu kukola ekyo baalaga nti baali baagala Yesu abe Kabaka waabwe. Baayogerera waggulu nti: “Aweereddwa omukisa Oyo ajja nga Kabaka mu linnya lya Yakuwa!” Naye abantu bonna tebaasanyuka. Mu butuufu, abamu ku bakulembeze b’eddiini baagamba Yesu nti, ‘Gamba abayigirizwa bo basirike.’Lukka 19:28-40.

Lwaki abantu baakyusa endowooza yaabwe ne baba nga tebakyayagala Yesu abe Kabaka waabwe?

Nga wayiseewo ennaku ttaano, Yesu yakwatibwa n’atwalibwa mu lubiri lwa gavana, Pontiyo Piraato. Abalabe ba Yesu baamulumiriza nti yali yeeyita kabaka era nti yali awakanya gavumenti ya Rooma. N’olwekyo Piraato yasaba Yesu abeeko ky’ayogera ku ebyo bye baali bamulumiriza. Yesu yalaga nti yali tagezaako kuwamba gavumenti. Yagamba Piraato nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”Yokaana 18:36.

Oluvannyuma Piraato yafuluma ebweru n’agamba abantu nti yali talaba kikyamu Yesu ky’akoze. Naye abantu baali tebaagala Yesu abe  Kabaka waabwe. Baali tebaagala ateebwe. (Yokaana 18:37-40) Ng’amaze okuddamu okwogera ne Yesu, Piraato yali mukakafu nti Yesu teyalina musango. N’olwekyo, bwe yamala okufulumya Yesu omulundi ogwasembayo, Piraato yagamba nti: “Laba! Kabaka wammwe!” Naye abantu baayogerera waggulu nti: “Mutwale! Mutwale! Mukomerere!”

Piraato yababuuza nti: “Nkomerere kabaka wammwe?” Bakabona abakulu baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala wabula Kayisaali.” Kiteeberezeemu! Bakabona abo ababi baaleetera abantu okugaana Yesu!Yokaana 19:1-16.

 Embeera eriwo leero efaananako eyo eyaliwo mu kiseera kya Yesu. Abantu abasinga obungi tebaagalira ddala Yesu abeere Kabaka waabwe. Bayinza okugamba nti bakkiririza mu Katonda, naye tebaagala kukola ebyo Katonda oba Kristo by’abagamba okukola. Baagala kufugibwa gavumenti zaabwe ez’oku nsi.

Ate ffe? Bwe tuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ebintu ebirungi bye bujja okukola, kituleetera okumwagala, si bwe kiri?— Kati olwo, tuyinza tutya okulaga Katonda nti tumwagala era nti twagala okufugibwa Obwakabaka bwe?—

Lwaki Yesu yabatizibwa, era Katonda yalaga atya nti ekyo yakisanyukira?

Tusobola okulaga nti twagala Katonda nga tugoberera ekyokulabirako kya Yesu. Kiki Yesu kye yakola okulaga nti yali ayagala Yakuwa?— Yesu yagamba nti: “Bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.” (Yokaana 8:29) Yee, Yesu yajja ku nsi ‘okukola Katonda by’ayagala’ “n’okumaliriza omulimu gwe.” (Abebbulaniya 10:7; Yokaana 4:34) Lowooza ku ekyo Yesu kye yakola nga tannatandika mulimu gwe ogw’okubuulira.

Yesu yagenda eri Yokaana Omubatiza ku mugga Yoludaani. Bwe baagenda mu mazzi, Yokaana yannyika Yesu mu mazzi n’amubbulula. Omanyi ensonga lwaki Yokaana yabatiza Yesu?—

Ludda wa gye tuyinza okusanga abantu ne tubabuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?

Yesu ye yagamba Yokaana okumubatiza. Naye tumanya tutya nti Katonda yali ayagala Yesu abatizibwe?— Tusobola okukimanya kubanga Yesu bwe  yava mu mazzi, yawulira eddoboozi lya Katonda okuva mu ggulu nga ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira.” Era Katonda yasindika omwoyo gwe omutukuvu ne gukka ku Yesu nga gulinga ejjiba. N’olwekyo bwe yabatizibwa, Yesu yalaga nti yali ayagala okuweereza Yakuwa obulamu bwe bwonna era emirembe gyonna.—Makko 1:9-11.

Kati oyinza okuba ng’okyali mwana muto. Naye kiki ky’ogenda okukola ng’okuze?— Onoogoberera ekyokulabirako kya Yesu naawe n’obatizibwa?— Osaanidde okumukoppa, kubanga Bayibuli egamba nti yakulekera ‘ekyokulabirako olyoke otambulirenga mu bigere bye.’ (1 Peetero 2:21) Bw’onoobatizibwa, kijja kulaga nti oyagala okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Naye okubatizibwa si kye kyokka ekyetaagisa.

Tulina okukolera ku ebyo byonna Yesu bye yayigiriza. Yesu yagamba nti tetusaanidde kuba “ba nsi.” Tunaaba tumugondera bwe tuneenyigira mu bintu by’ensi eno? Yesu n’abatume be baagana okubyenyigiramu. (Yokaana 17:14) Kiki kye baakola mu kifo ky’ekyo?— Baabuulirira abantu abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Ogwo gwe gwali omulimu omukulu ennyo mu bulamu bwabwe. Naffe tusobola okugukola?— Yee, tujja kugukola singa tuba beesimbu nga tusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje.

Osabibwa okusoma ebyawandiikibwa bino ebirala ebiraga ekyo kye tulina okukukola okulaga nti twagala Obwakabaka bwa Katonda bujje: Matayo 6:24-33; 24:14; 1 Yokaana 2:15-17; ne 5:3.