Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 ESSUULA 39

Katonda Azuukiza Omwana We

Katonda Azuukiza Omwana We

YESU yakaaba nga mukwano gwe Lazaalo afudde. Olowooza Yakuwa yawulira bubi Yesu bwe yabonaabona era n’afa?— Bayibuli egamba nti Katonda asobola ‘okunakuwala’ era ‘n’okulumwa’ olw’ebintu ebibaawo.Zabbuli 78:40, 41; Yokaana 11:35.

Osobola okuteebereza obulumi Yakuwa bwe yawulira bwe yalaba Omwana we omwagalwa ng’attibwa?— Yesu yali mukakafu nti Katonda yandimuzuukiza. Eyo ye nsonga lwaki ebigambo bye yasembayo okwogera nga tannafa byali nti: “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.”Lukka 23:46.

Yesu yali mukakafu nti yandizuukiziddwa era nti teyandirekeddwa “magombe” oba mu ntaana. Yesu bwe yali ng’amaze okuzuukizibwa, omutume Peetero yajuliza ekyawandiikibwa ekyali kyogera ku Yesu ng’agamba nti: ‘Teyalekebwa magombe era omubiri gwe tegwavunda.’ (Ebikolwa 2:31, Zabbuli 16:10) Mazima ddala, omubiri gwa Yesu tegwavundira mu ntaana.

 Yesu bwe yali ku nsi, yagamba abayigirizwa be nti teyandimaze kiseera kiwanvu mu ntaana. Yabagamba nti ‘yandittiddwa, era n’azuukizibwa ku lunaku olw’okusatu.’ (Lukka 9:22) N’olwekyo, abayigirizwa be tekyandibeewuunyisiza nga Yesu azuukiziddwa. Naye kyabeewuunyisa?— Ka tulabe.

Omuyigiriza Omukulu yafiira ku muti ku Lwokutaano, ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo. Yusufu, omusajja omugagga eyali omu ku babaka b’Olukiiko Olukulu, yali muyigirizwa wa Yesu ateemanyisa mu lujjudde nti mukkiriza. Bwe yakitegeera nti Yesu afudde, yagenda ewa Piraato, gavana Omuruumi. Yamusaba okuggya omulambo gwa Yesu ku muti asobole okuguziika. Oluvannyuma, Yusufu yatwala omulambo gwa Yesu n’aguteeka mu ntaana eyali mu nnimiro.

Omulambo bwe gwamala okuteekebwa mu ntaana, ejjinja eddene lyateekebwa ku mulyango gwayo. Ku lunaku olw’okusatu, ku Ssande, enjuba yali tennavaayo bwe kityo obudde bwali bukyakutte ekizikiza. Waaliwo abasajja abaali bakuuma entaana. Bakabona abakulu be baali babatumye okugikuuma. Omanyi lwaki?—

Ne bakabona baali baakiwulirako nti Yesu ajja kuzuukizibwa. N’olwekyo okusobola okulemesa abayigirizwa be okubba omulambo gwe ate oluvannyuma bagambe nti azuukidde, bakabona baateeka abakuumi ku ntaana. Bwe baali bakuuma, ettaka ne litandika okukankana era ne waabaawo n’okumyansa mu kizikiza. Yali malayika wa Yakuwa! Abaserikale baatya nnyo ne baba nga tebasobola na kutambula, malayika n’agenda ku ntaana n’aggyawo ejjinja. Entaana yali njereere!

Lwaki entaana njereere? Kiki ekibaddewo?

Mazima ddala, kyali kituukagana n’ekyo omutume Peetero kye yagamba oluvannyuma nti: “Yesu ono Katonda yamuzuukiza.” (Ebikolwa 2:32) Katonda yazuukiza Yesu mu bafu era n’amuwa omubiri ogwali gufaananako ogwo gwe yalina nga tannajja ku nsi. Yazuukizibwa mu mubiri ogw’omwoyo ogulinga ogwa bamalayika. (1 Peetero 3: 18) N’olwekyo abantu okusobola okulaba Yesu, yali alina okuba n’omubiri ogw’ennyama. Naye ddala yakola bw’atyo?— Ka tulabe.

Enjuba yali etandise okuvaayo. Abasirikale baali bagenze. Maliyamu Magudaleena n’abakazi abalala abayigirizwa ba Yesu baali mu kkubo nga bagenda ku ntaana. Baali beebuuzaganya bokka na bokka nti: ‘Ani anaatuggirawo ekiyinja ekyo ekizitowa?’ (Makko 16:3) Naye bwe baatuuka ku ntaana, baasanga ng’ejjinja lyaggiddwawo dda. Era n’entaana yali njereere! Omulambo gwa Yesu tegwalimu! Amangu ago, Maliyamu Magudaleena yadduka ategeeze abamu ku batume ba Yesu.

Abakazi abalala baasigala ku ntaana. Baali beebuuza: ‘Omulambo gwa Yesu guli ludda wa?’ Amangu ago wajjawo abasajja babiri abaali bambadde engoye ezaakaayakana. Baali bamalayika! Baagamba abakazi abo nti: ‘Lwaki munoonyeza wano Yesu? Yazuukiziddwa. Mugende mangu mutegeeza abayigirizwa be.’ Ndowooza, osobola okuteebereza emisinde abakazi abo gye badduka! Naye bwe baali bagenda, baasisinkana omusajja. Omusajja oyo omumanyi?—

Omusajja oyo yali Yesu, ng’ayambadde omubiri ogw’ennyama! Era naye yagamba abakazi abo nti: ‘Mugende mutegeeze abayigirizwa bange.’ Abakazi abo baali basanyufu nnyo. Baasanga abayigirizwa ne babagamba nti: ‘Yesu mulamu! Tumulabye!’ Maliyamu yali yamaze dda okugamba Peetero ne Yokaana nti entaana bagisanze njereere. N’olwekyo, baagenda ku ntaana nga bw’olaba mu kifaananyi ekyo. Beekebejja engoye za kitaani ze baali bazinzeemu Yesu, naye ne basoberwa. Baali babuusabuusa nti Yesu azuukidde.

Olowooza Peetero ne Yokaana balowooza ku ki?

Ku lunaku olwo ku Ssande, Yesu yalabikira abayigirizwa be babiri abaali bagenda mu kyalo ekiyitibwa Emawo. Yesu yatambula nabo ng’agenda anyumya nabo, kyokka tebaamutegeera kubanga omubiri gwe yalina gwali gwawukana ku ogwo gwe yalina mu kusooka. Yesu yamala okusaba n’alya nabo, awo abayigirizwa ne balyoka bamutegeera.  Abayigirizwa baasanyuka nnyo era baatambula mayiro nnyingi nga banguwa okuddayo e Yerusaalemi! Oboolyawo bwe yali nga yaakamala okubalabikira, yalabikira ne Peetero okumukakasa nti azuukidde.

Awo, ku lunaku olwo ku Ssande akawungeezi, abayigirizwa bangi baali bakuŋŋaanye wamu mu kisenge. Enzigi zaali nsibe. Amangu ago, Yesu yajja mu kisenge mwe bali! Kati baali bakitegedde nti Omuyigiriza Omukulu azuukidde. Teebereza essanyu lye baalina!Matayo 28:1-15; Lukka 24:1-49; Yokaana 19:38–20:21.

Okumala ennaku 40, Yesu yalabikiranga abayigirizwa be mu mibiri egy’ennyama egy’enjawulo okusobola okubalaga nti azuukidde. Oluvannyuma yava ku nsi n’addayo mu ggulu eri Kitaawe. (Ebikolwa 1: 9-11) Mu kaseera katono, abayigirizwa baatandika okubuulira buli omu nti Katonda yazuukiza Yesu mu bafu. Beeyongera okubuulira wadde nga bakabona baabakubanga era nga n’abamu ku bo babatta. Baali bakimanyi nti ne bwe bafa, Katonda ajja kubazuukiza nga bwe yazuukiza Omwana we.

Mu kiseera Yesu kye yazuukiriramu, kiki abantu abasinga obungi kye baba balowoozaako? Ate ggwe oba olowooza ku ki?

Ng’abagoberezi ba Yesu abo baali ba njawulo nnyo ku bantu abasinga obungi leero! Mu bitundu ebimu eby’ensi, abantu bwe baba bajjukira olunaku Yesu lwe yazuukirirako, ebirowoozo byabwe biba ku bumyu na magi mu kifo ky’okulowooza ku Yesu. Naye Bayibuli teyogera ku magi ga Ppaasika wadde obumyu, wabula etukubiriza kuweereza Katonda.

Tusobola okukoppa abayigirizwa ba Yesu nga tubuulira abantu nti Katonda yakola ekintu ekyewuunyisa bwe yazuukiza Omwana we. Tetusaanidde kutya, abantu ne bwe bagamba nti bagenda kututta. Ne bwe tunaaba nga tufudde, Yakuwa ajja kutuzuukiza nga bwe yazuukiza Yesu.

Tekitusanyusa nnyo okukimanya nti Katonda ajjukira abo abamuweereza era nti ajja kubazuukiza okuva mu bafu?— Okumanya ebintu bino kyandituleetedde okwagala okumanya engeri y’okusanyusaamu Katonda. Naye obadde okimanyi nti ddala tusobola okusanyusa Katonda?— Ka tukyogereko mu kitundu ekiddako.

Bwe tukkiririza mu kuzuukira kwa Yesu kisobola okunyweza essuubi lyaffe n’okukkiriza kwaffe. Osabibwa okusoma Ebikolwa 2:22-36; 4:18-20; ne 1 Abakkolinso 15:3-8, 20-23.