Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Yesu​—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

 ESSUULA 2

Yesu Aweebwa Ekitiibwa nga Tannazaalibwa

Yesu Aweebwa Ekitiibwa nga Tannazaalibwa

LUKKA 1:34-56

  • MALIYAMU AKYALIRA ERIZABEESI GW’ALINAKO OLUGANDA

Oluvannyuma lwa malayika Gabulyeri okugamba Maliyamu nti alizaala omwana alituumibwa Yesu era alifuga nga Kabaka emirembe gyonna, Maliyamu amubuuza: “Kino kinaasoboka kitya nga sirina musajja gwe nneegatta naye?”—Lukka 1:34.

Gabulyeri amuddamu nti: “Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era amaanyi g’Oyo Asingayo Okuba Waggulu galikubaako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.”—Lukka 1:35.

Oboolyawo olw’okwagala okuyamba Maliyamu okukkiriza obubaka obwo, Gabulyeri amugamba nti: “Laba! Erizabeesi gw’olinako oluganda, ayitibwa omugumba, naye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi, mu myaka gye egy’obukadde, era kati lwa myezi mukaaga; kubanga eri Katonda, tewali kigambo kitayinza kutuukirira.”—Lukka 1:36, 37.

Ebyo Maliyamu by’ayogera biraga nti akkirizza ebyo Gabulyeri by’amugambye. Maliyamu agamba nti: “Laba! ndi muzaana wa Yakuwa! Ka kibeere bwe kityo gye ndi nga bw’ogambye.”—Lukka 1:38.

Oluvannyuma lwa Gabulyeri okugenda, Maliyamu ateekateeka okugenda okukyalira Erizabeesi, abeera n’omwami we, Zekkaliya, mu kitundu ekisangibwa mu nsozi za Buyudaaya okumpi ne Yerusaalemi. Okuva e Nazaaleesi Maliyamu gy’abeera okutuukayo, kiyinza okumutwalira ennaku nga ssatu oba nnya.

Kya ddaaki Maliyamu atuuka mu maka ga Zekkaliya. Bw’ayingira mu nnyumba, alamusa Erizabeesi gw’alinako oluganda. Mu kiseera ekyo, Erizabeesi ajjula omwoyo omutukuvu, n’agamba Maliyamu nti: “Oli wa mukisa mu bakazi bonna, n’ekibala eky’omu lubuto lwo kya mukisa! Kati olwo nze nfuna ntya enkizo ng’eno, okukyaza nnyina wa Mukama wange? Laba! bwe mpulidde eddoboozi lyo ng’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange n’abuukabuuka olw’essanyu.”—Lukka 1:42-44.

Ng’ajjudde essanyu, Maliyamu agamba nti: “Ngulumiza Yakuwa, era omutima gwange gusanyukira nnyo Katonda Omulokozi wange; kubanga afuddeyo ku mbeera y’omuzaana we eya wansi. Okuva kati abantu ab’emirembe gyonna banampita musanyufu; kubanga Oyo ow’amaanyi ankoledde ebikulu.” Wadde nga Maliyamu afunye enkizo ey’ekitalo era ey’amaanyi ennyo, ekitiibwa kyonna akiwa Katonda. Agamba nti: “Erinnya lye ttukuvu; era mu buli mulembe asaasira abo abamutya.”—Lukka 1:46-50.

Mu bigambo eby’obunnabbi, Maliyamu yeeyongera okutendereza Katonda, ng’agamba nti: “Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe, asaasaanyizza abo abooleka amalala mu mitima gyabwe. Abantu ab’obuyinza abawanuddeyo ku ntebe zaabwe n’agulumiza abanaku; abalumwa enjala abawadde ebintu ebirungi ne bakutta, n’abo abaalina obugagga abagobye ne bagenda nga tebalina kantu. Adduukiridde Isirayiri omuweereza we, okulaga nti ajjukira ekisuubizo kye eky’okusaasira Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna, nga bwe yagamba bajjajjaffe.”—Lukka 1:51-55.

Maliyamu amala emyezi ng’esatu ng’ali ne Erizabeesi, oboolyawo ng’amuyambako mu myezi egisembayo nga Erizabeesi anaatera okuzaala. Nga kirungi nnyo okuba nti abakazi abo ababiri abeesigwa, bombi abali olubuto ku lw’obuyambi bwa Katonda, baliko wamu mu kiseera kino!

Weetegereze nti Yesu aweebwa ekitiibwa nga tannaba na kuzaalibwa. Erizabeesi amuyita “Mukama wange,” era n’omwana ali mu lubuto lwe “abuukabuuka olw’essanyu” amangu ddala nga Maliyamu yaakatuuka. Ekyo kyawukana nnyo ku ngeri abantu oluvannyuma gye bayisaamu Maliyamu n’omwana gw’ajja okuzaala, nga bwe tujja okulaba.