Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Yesu​—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

 ESSUULA 79

Ensonga Lwaki Boolekedde Okuzikirizibwa

Ensonga Lwaki Boolekedde Okuzikirizibwa

LUKKA 13:1-21

  • YESU AYOGERA KU BINTU EBIBI BIBIRI EBYALIWO

  • OMUKAZI EYAGONGOBALA AWONYEZEBWA KU SSABBIITI

Yesu akoze ebintu ebitali bimu okusobola okuyamba abantu okulowooza ku nnyimirira yaabwe mu maaso ga Katonda. Oluvannyuma lw’okwogera n’abantu wabweru w’ennyumba y’Omufalisaayo, afuna akakisa akalala okubayamba.

Abantu abamu boogera ku kintu ekibi ennyo ekyaliwo. Boogera ku “Bagaliraaya [Gavana wa Rooma Pontiyo] Piraato be yatta n’atabula omusaayi gwabwe mu biweebwayo byabwe.” (Lukka 13:1) Kiki abantu abo kye bategeeza?

Oboolyawo Abagaliraaya abo aboogerwako beebo abattibwa mu kiseera Abayudaaya bangi mwe beekalakaasiza nga bawakanya ekya Piraato okukozesa ssente okuva mu ggwanika lya yeekaalu okuzimba emikutu egireeta amazzi mu Yerusaalemi. Okusobola okufuna ssente ezo, Piraato ayinza okuba nga yakolagana n’abakulu mu yeekaalu. Abo aboogera ku kintu ekyo bayinza okuba nga balowooza nti Abagaliraaya abo battibwa olw’okuba baalina ebintu ebibi bye baali bakoze. Yesu takkiriziganya nabo.

Abuuza nti: “Mulowooza Abagaliraaya abo baali boonoonyi nnyo okusinga Abagaliraaya abalala bonna olw’okuba ebintu ebyo byabatuukako?” Yesu addamu nti: “Nedda.” Naye akozesa ekintu ekyo ekibi ekyaliwo okulabula Abayudaaya. Abagamba nti: “Okuggyako nga mwenenyezza, nammwe mujja kuzikirizibwa.” (Lukka 13:2, 3) Oluvannyuma Yesu ayogera ku kintu ekirala ekibi ekiyinza okuba nga kyabaddewo gye buvuddeko awo era nga kirabika kirina akwate n’okuzimbibwa kw’emikutu gy’amazzi egyo. Agamba nti:

“Abo ekkumi n’omunaana omunaala be gwagwira mu Sirowamu ne gubatta, mulowooza baalina omusango munene okusinga abalala bonna ababeera mu Yerusaalemi?” (Lukka 13:4) Abantu bayinza okuba nga balowooza nti abo omunaala be gwakuba baafa olw’okuba baalina ebintu ebibi bye baali bakoze. Era ne ku mulundi guno Yesu takkiriziganya nabo. Yesu akimanyi nti “ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa” bibaawo era nga kirabika eyo ye nsonga lwaki abantu abo baafa. (Omubuulizi 9:11) Naye abantu balina kye bayinza okuyigira ku ekyo ekyaliwo. Yesu agamba nti: “Okuggyako nga mwenenyezza, mmwenna mujja kuzikirizibwa nga bo.” (Lukka 13:5) Naye lwaki Yesu akkaatiriza ensonga eyo mu kiseera kino?

Kirabika ensonga eyo agikkaatiriza olw’akaseera akatono k’asigazza mu buweereza bwe ku nsi. Bwe kityo agera olugero luno: “Waaliwo omusajja eyalina omutiini mu nnimiro ye ey’emizabbibu, n’ajja okunoonyaako ebibala naye n’atasangako na kimu. N’agamba oyo alabirira ennimiro y’emizabbibu nti, ‘Kati emyaka esatu nga nzija okunoonya ebibala ku mutiini guno, naye nga sisangako kibala. Guteme! Lwaki gwonoona ettaka ery’obwereere?’ N’amuddamu nti, ‘Mukama wange, guleke gubeerewo omwaka omulala gumu mmale okugutemeratemera n’okugussaako ebigimusa. Bwe gunaabala ebibala gye bujja, kijja kuba kirungi, naye bwe gutaabale, ng’ogutemawo.’”—Lukka 13:6-9.

Yesu amaze emyaka egisukka mu esatu ng’afuba okuyamba Abayudaaya okuba n’okukkiriza. Wadde kiri kityo, batono nnyo abafuuse abayigirizwa be era kisobola okugambibwa nti bye bibala ebivudde mu kufuba kwe. Kati mu kiseera ekitono ky’asigazzaayo, ayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Abuulira n’obunyiikivu mu Buyudaaya ne mu Pereya, mu ngeri eyo n’aba ng’omuntu atemeratemera omuti gw’omutiini, ogukiikirira Abayudaaya, era n’agusaako ebigimusa. Biki ebivaamu? Abayudaaya batono nnyo be bamukkiriza. Okutwalira awamu, eggwanga lyabwe lyonna ligaana okwenenya era lyolekedde okuzikirizibwa.

Okuba nti Abayudaaya tebalina kukkiriza kyeyolekera ne mu ekyo ekibaawo oluvannyuma ku Ssabbiiti. Yesu ali mu kkuŋŋaaniro ng’ayigiriza. Alaba omukazi dayimooni gwe yalwaza, era ng’amaze emyaka 18 nga yeeweseemu era nga tasobola kuyimirira busimba. Yesu amusaasira n’amugamba nti: “Osumuluddwa okuva mu bulwadde bwo.” (Lukka 13:12) Yesu amussaako emikono, amangu ago omukazi oyo n’ayimirira busimba, n’atandika okugulumiza Katonda.

Ekyo kinyiiza nnyo omukulu w’ekkuŋŋaaniro, era n’agamba nti: “Waliwo ennaku mukaaga emirimu kwe girina okukolebwa; ku nnaku ezo mujje muwonyezebwe naye si ku Ssabbiiti.” (Lukka 13:14) Omukulu w’ekkuŋŋaaniro oyo tawakanya kya kuba nti Yesu alina amaanyi okuwonya abalwadde; wabula, avumirira abantu olw’okugenda eri Yesu okubawonya ku Ssabbiiti! Yesu amuddamu nti: “Bannanfuusi mmwe, buli omu ku mmwe ku Ssabbiiti tasumulula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo n’agitwala okunywa amazzi? Omukazi ono muwala wa Ibulayimu, Sitaani gw’abadde asibye okumala emyaka 18, abadde tasaanidde kusumululwa mu busibe buno ku Ssabbiiti?”—Lukka 13:15, 16.

Abalabe be bonna baswala; naye ekibiina kyonna kisanyuka olw’ebintu byonna eby’ettendo bye balaba Yesu ng’akola. Kati wano ng’ali mu Buyudaaya, Yesu addamu okugera engero bbiri ezikwata ku Bwakabaka, era ng’engero ezo yali yazigerako dda bwe yali mu lyato ku Nnyanja y’e Ggaliraaya.—Matayo 13:31-33; Lukka 13:18-21.