Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Yesu​—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

 ESSUULA 71

Abafalisaayo Batiisatiisa Omusajja Eyali Omuzibe w’Amaaso

Abafalisaayo Batiisatiisa Omusajja Eyali Omuzibe w’Amaaso

YOKAANA 9:19-41

  • ABAFALISAAYO BATIISATIISA OMUSAJJA AZIBUDDWA AMAASO

  • ABAKULEMBEZE B’EDDIINI BAZIBE B’AMAASO

Abafalisaayo tebayinza kukikkiriza nti Yesu yazibudde amaaso g’omusajja eyazaalibwa nga muzibe, era basalawo okuyita bazadde be. Bazadde b’omusajja oyo bakimanyi nti kati bayinza “okugobebwa mu kkuŋŋaaniro.” (Yokaana 9:22) Singa ekyo kibaawo, abantu bangi baba bagenda kubakyawa era kiba kigenda kubakosa nnyo mu by’enfuna.

Abafalisaayo babuuza ebibuuzo bibiri. Babuuza nti: “Ono ye mwana wammwe gwe mugamba nti yazaalibwa muzibe? Olwo kizze kitya okuba nga kati alaba?” Bazadde be baddamu nti: “Tumanyi nti ono mwana waffe era nti yazaalibwa muzibe. Naye eky’okuba nti amaaso ge kati galaba, tetumanyi kwe kyavudde, era n’oyo eyagamuzibula tetumumanyi.” Ne bwe kiba nti mutabani waabwe oyo yali ababuulidde engeri gye yawonyezeddwamu, beegendereza ebyo bye boogera nga baddamu Abafalisaayo. Bagamba nti: “Mumubuuze. Muntu mukulu; asobola okweyogerera.”—Yokaana 9:19-21.

Bwe kityo, Abafalisaayo baddamu okuyita omusajja eyazibuse amaaso era ne batandika okumutiisatiisa nga bagamba nti balina obujulizi obulaga nti Yesu muntu mubi. Bamugamba nti: “Gulumiza Katonda; tumanyi nti omuntu oyo mwonoonyi.” Omusajja oyo abaddamu nti: “Oba mwonoonyi, nze simanyi. Kye mmanyi kiri nti, nnali muzibe naye kati ndaba.”—Yokaana 9:24, 25.

Abafalisaayo tebaagala kuva ku nsonga eyo, era babuuza omusajja oyo nti: “Kiki kye yakukola? Yazibula atya amaaso go?” Omusajja oyo ayoleka obuvumu n’abagamba nti: “Nnababuulidde dda naye ne mutawuliriza. Lwaki mwagala okukiwulira nate? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” Nga basunguwavu, Abafalisaayo bamugamba nti: “Oli muyigirizwa wa musajja oyo, naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. Tumanyi nti Katonda yayogera ne Musa, naye omusajja ono tetumanyi gy’ava.”—Yokaana 9:26-29.

Omusajja oyo yeewuunya nnyo Abafalisaayo n’abagamba nti: “Kyewuunyisa okuba nti temumanyi gy’ava ate nga yanzibula amaaso.” Oluvannyuma ayogera ku bantu ba ngeri ki Katonda b’awuliriza era b’asiima. Agamba nti: “Tumanyi nti Katonda tawuliriza boonoonyi, naye singa omuntu yenna aba ng’atya Katonda era ng’akola by’ayagala, oyo gw’awuliriza. Okuva edda tekiwulirwangako nti waliwo omuntu yenna eyali azibudde amaaso g’omuntu eyazaalibwa nga muzibe.” Awunzika ng’agamba nti: “Singa omusajja ono tava eri Katonda, teyandisobodde kukola kintu kyonna.”—Yokaana 9:30-33.

Olw’okuba tebasobola kuwakanya bigambo bye, Abafalisaayo basalawo okufeebya omusajja oyo nga bamugamba nti: “Ggwe eyazaalibwa mu kibi oyigiriza ffe?” Oluvannyuma bamugoba.—Yokaana 9:34.

Yesu bw’awulira ebyo ebibaddewo, asisinkana omusajja oyo n’amubuuza nti: “Okkiririza mu Mwana w’omuntu?” Omusajja oyo amuddamu nti: “Y’ani oyo ssebo mmukkiririzeemu?” Yesu amugamba butereevu nti: “Omulabye, era mu butuufu y’oyo ayogera naawe.”—Yokaana 9:35-37.

Omusajja oyo agamba Yesu nti: “Mukama wange, mmukkiririzaamu.” Ng’alaga nti amukkiriza era nti amussaamu ekitiibwa, omusajja oyo avunnamira Yesu era Yesu n’agamba nti: “Nnajja ku nsi abantu basalirwe omusango, abo abatalaba balabe, n’abo abalaba bazibe amaaso.”—Yokaana 9:38, 39.

Abafalisaayo abaliwo nga Yesu ayogera ebigambo ebyo, bakimanyi nti si bazibe ba maaso. Kati ate olwo obuvunaanyizibwa bwe balina obw’okuluŋŋamya abantu mu by’omwoyo? Babuuza Yesu nti: “Naffe tuli bazibe?” Yesu abagamba nti: “Singa mubadde bazibe temwandibadde na kibi. Naye olw’okuba mugamba nti, ‘Tulaba,’ ekibi kyammwe kibasigalako.” (Yokaana 9:40, 41) Singa Abafalisaayo tebabadde bayigiriza mu Isirayiri, bwe bandigaanye okukkiriza Yesu nga Masiya, kyandibadde kitegeerekeka. Naye olw’okuba bamanyi Amateeka, okugaana okumukkiriza, kibi kya maanyi.