Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Yesu​—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

 ESSUULA 16

Yesu Akiraga nti Ayagala Nnyo Okusinza okw’Amazima

Yesu Akiraga nti Ayagala Nnyo Okusinza okw’Amazima

YOKAANA 2:12-22

  • YESU ALONGOOSA YEEKAALU

Yesu bw’ava ku mbaga e Kaana, agenda e Kaperunawumu. Maama wa Yesu ne baganda ba Yesu—Yakobo, Yusufu, ne Simooni—nabo bagenda naye.

Naye lwaki Yesu agenda e Kaperunawumu? Ekibuga kino kinene era kiri mu kifo kirungi okusinga Nazaaleesi oba Kaana. Ate era, bangi ku bayigirizwa Yesu be yaakafuna babeera mu Kaperunawumu oba kumpi nakyo. N’olwekyo, Yesu asobola okubatendekera mu kitundu ekyo.

Ng’ali e Kaperunawumu, Yesu akola ebyamagero. Bwe kityo, abantu bangi ababeera mu kibuga ekyo ne mu bitundu ebiriraanyeewo bawulira ebintu Yesu by’akola mu Kaperunawumu. Naye olw’okuba Yesu n’abayigirizwa be Bayudaaya banyiikivu, balina okugenda e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 30 E.E.

Bwe banaatuuka mu yeekaalu e Yerusaalemi, Yesu ajja kukola ekintu ekyewuunyisa abayigirizwa be kye batalabangako.

Amateeka ga Katonda galagira Abayisirayiri okuwaayo ssaddaaka ez’ebisolo ku yeekaalu, era n’abo ababa bazze baba beetaaga emmere gye banaalya mu kiseera ekyo. N’olwekyo, Amateeka gakkiriza abo ababa bavudde mu bitundu eby’ewala okujja ne ssente ze banaagulamu “ente, endiga, embuzi,” n’ebintu ebirala eby’okukozesa nga bali mu Yerusaalemi. (Ekyamateeka 14:24-26) Olw’ensonga eyo, abasuubuzi ab’omu Yerusaalemi batundira ebisolo n’ebinyonyi mu luggya lwa yeekaalu. Kyokka, abamu babiseera nnyo basobole okufuna amagoba mangi.

Yesu nga munyiivu nnyo, ayiwa ssente ez’ebinusu ez’abo abavungisa ssente, avuunika emmeeza zaabwe, era abagobawo. Abagamba nti: “Ebintu bino mubiggye wano! Ennyumba ya Kitange mulekere awo okugifuula ekifo eky’okusuubuliramu!”—Yokaana 2:16.

Abayigirizwa ba Yesu bwe balaba kino, bajjukira obunnabbi obukwata ku Mwana wa Katonda obugamba nti: “Okwagala ennyo ennyumba yo kulimmalawo.” Naye Abayudaaya babuuza Yesu nti: “Kabonero ki k’oyinza okutulaga okukakasa nti olina obuyinza okukola ebintu bino?” Yesu abaddamu nti: “Mumenye yeekaalu eno, nja kugizimbira mu nnaku ssatu.”—Yokaana 2:17-19; Zabbuli 69:9.

Abayudaaya balowooza nti Yesu ayogera ku yeekaalu yennyini eri mu Yerusaalemi, era bamubuuza nti: “Yeekaalu eno yazimbibwa mu bbanga lya myaka 46, ggwe ogizimbire mu nnaku ssatu?” (Yokaana 2:20) Kyokka, yeekaalu Yesu gy’ayogerako gwe mubiri gwe. Oluvannyuma lw’emyaka esatu, abayigirizwa be bajjukira ebigambo ebyo ng’azuukidde.