Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Yesu​—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

 ESSUULA 110

Olunaku Yesu lw’Asembayo Okuba ku Yeekaalu

Olunaku Yesu lw’Asembayo Okuba ku Yeekaalu

MATAYO 23:25–24:2 MAKKO 12:41–13:2 LUKKA 21:1-6

  • YESU YEEYONGERA OKUNENYA ABAKULEMBEZE B’EDDIINI

  • YEEKAALU EJJA KUZIKIRIZIBWA

  • NNAMWANDU OMWAVU AWAAYO OBUSENTE BUBIRI

Ku mulundi gw’asembayo okubeera ku yeekaalu, Yesu yeeyongera okwanika obunnanfuusi bw’abawandiisi n’Abafalisaayo. Akozesa olulimi olw’akabonero ng’agamba nti: “Muyonja ebikopo n’ebibya kungulu naye nga munda mujjudde omunyago n’obuteefuga. Ggwe Omufalisaayo omuzibe w’amaaso, sooka oyonje munda w’ekikopo n’ekibya, ne kungulu nakwo kulyoke kubeere kuyonjo.” (Matayo 23:25, 26) Wadde ng’Abafalisaayo bakwata butiribiri amateeka agakwata ku kwerongoosa oba agakwata ku ndabika ey’okungulu, tebafaayo kukola ku ekyo kye bali munda era tebafaayo kulongoosa mitima gyabwe egy’akabonero.

Obunnanfuusi bwabwe era bweyolekera mu ky’okuba nti beetegefu okuzimba n’okutonaatona amalaalo ga bannabbi. Kyokka, nga Yesu bw’agamba, “baana b’abo abatta bannabbi.” (Matayo 23:31) Ekyo kyeyolekera mu ky’okuba nti baagala okutta Yesu.—Yokaana 5:18; 7:1, 25.

Oluvannyuma Yesu alaga ekyo ekijja okutuuka ku bakulembeze b’eddiini abo singa tebeenenya. Agamba nti: “Mmwe emisota, era abaana b’emisota egy’obusagwa, mulidduka mutya omusango gwa Ggeyeena?” (Matayo 23:33) Okumpi awo waliwo Ekiwonvu kya Kinomu omwokerwa kasasiro, era Yesu akikozesa okukiikirira okuzikirira okw’emirembe n’emirembe okujja okutuuka ku bawandiisi n’Abafalisaayo abo ababi.

Abayigirizwa ba Yesu ba kumukiikirira nga ‘bannabbi, ng’abasajja ab’amagezi, era ng’abayigiriza.’ Banaayisibwa batya? Ng’ayogera eri abakulembeze b’eddiini, Yesu agamba nti: “Abamu [ku bayigirizwa bange] mulibatta era ne mubakomerera, abalala mulibakubira mu makuŋŋaaniro gammwe era ne mubayigganya mu buli kibuga, mulyoke mubeereko omusango gw’okuyiwa omusaayi gwonna ogw’abatuukirivu ogwayiika ku nsi, okuva ku gwa Abbeeri omutuukirivu okutuuka ku gwa Zekkaliya [gwe mwatta].” Agattako nti: “Mazima mbagamba nti, ebintu bino byonna bijja kutuuka ku mulembe guno.” (Matayo 23:34-36) Ekyo kyennyini kye kibaawo mu mwaka gwa 70 E.E., eggye lya Rooma bwe lizikiriza Yerusaalemi era ne litta n’Abayudaaya nkumi na nkumi.

Bw’alowooza ku bintu ebyo ebibi ebigenda okubaawo, Yesu akwatibwa ennaku n’agamba nti: “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi era akuba amayinja abatumiddwa gy’ali—mirundi emeka gye nnayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo! Naye temwakyagala. Laba! Ennyumba yammwe ebalekeddwa nga kifulukwa.” (Matayo 23:37, 38) Abo abawulira ebigambo ebyo bateekwa okuba nga beebuuza ‘nnyumba’ ki Yesu gy’ayogerako. Kyandiba nti ayogera ku yeekaalu ey’ekitiibwa eri wano mu Yerusaalemi, erabika ng’eriko obukuumi bwa Katonda?

Oluvannyuma Yesu agattako nti: “Mbagamba nti, temuliddayo kundaba okutuusa lwe muligamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa!’” (Matayo 23:39) Ajuliza ebigambo by’obunnabbi ebiri mu Zabbuli 118:26, awagamba nti: “Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa; tubawa omukisa nga tusinziira mu nnyumba ya Yakuwa.” Kya lwatu nti oluvannyuma lwa yeekaalu eyo okuzikirizibwa, tewali n’omu ajja kujja mu yeekaalu eyo mu linnya lya Katonda.

Yesu kati agenda mu kitundu kya yeekaalu awali obusanduuko omusuulibwa ssente, obufaanana ng’amakondeere. Obusanduuko obwo bulina obumwa obutono waggulu waabwo abantu mwe bayisa ssente ze basuulamu. Yesu alaba Abayudaaya abatali bamu nga basuulamu ssente, ng’abagagga “basuulamu ssente nnyingi” ng’ebirabo. Oluvannyuma Yesu alaba nnamwandu omwavu ng’asuulamu “obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo.” (Makko 12:41, 42) Tewali kubuusabuusa nti Yesu amanyi engeri Katonda gy’asanyuseemu olw’ekirabo ekyo nnamwandu ky’awaddeyo.

Yesu ayita abayigirizwa be n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti nnamwandu ono omwavu ataddemu kingi okusinga abalala bonna abatadde ssente mu busanduuko.” Mu ngeri ki? Yesu agamba nti: “Abalala bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ye, wadde ng’ali mu bwetaavu, ataddemu byonna by’abadde alina.” (Makko 12:43, 44) Ng’endowooza ya nnamwandu oyo n’ebikolwa bye bya njawulo nnyo ku by’abakulembeze b’eddiini!

Olunaku lwa Nisaani 11 lukyagenda mu maaso, era Yesu ava mu yeekaalu omulundi gwe ogusembayo. Omu ku bayigirizwa be amugamba nti: “Omuyigiriza, laba! Amayinja gano n’ebizimbe nga byewuunyisa!” (Makko 13:1) Mu butuufu, agamu ku mayinja agaakozesebwa okuzimba ebisenge bya yeekaalu manene nnyo ne kiba nti omuntu bw’agitunuulira akiraba nti ŋŋumu era mpangaazi. Naye ebigambo Yesu by’addako okwogera byewuunyisa. Agamba nti: “Ebizimbe bino ebirungi ennyo obiraba? Wano tewali jjinja lirisigala ku linnaalyo; gonna galisuulibwa wansi.”—Makko 13:2.

Oluvannyuma lw’okwogera ebigambo ebyo, Yesu n’abatume be bayita mu kiwonvu kya Kidulooni ne balinnya ku Lusozi olw’Emizeyituuni. Wabaawo akaseera Yesu lw’aba ng’ali n’abatume be bana, Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana. Awo we bali basobola bulungi okulengera yeekaalu eyo erabika obulungi.