Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 ESSUULA 120

Okubala Ebibala ng’Amatabi n’Okubeera Mikwano gya Yesu

Okubala Ebibala ng’Amatabi n’Okubeera Mikwano gya Yesu

YOKAANA 15:1-27

  • OMUZABBIBU OGW’AMAZIMA N’AMATABI

  • ENGERI Y’OKUSIGALA MU KWAGALA KWA YESU

Yesu abadde ayogera n’abatume be okumala akaseera ng’abazzaamu amaanyi. Obudde bugenze, era oboolyawo bali mu matumbi budde. Kati Yesu abaako ekintu ekikulu ky’abayigiriza ng’akozesa ekyokulabirako.

Agamba nti: “Nze muzabbibu ogw’amazima; Kitange ye mulimi.” (Yokaana 15:1) Ebigambo bye bifaananako n’ebyo ebyayogerwa ebyasa bingi emabega nga bikwata ku ggwanga lya Isirayiri eryali liyitibwa omuzabbibu gwa Yakuwa. (Yeremiya 2:21; Koseya 10:1, 2) Kyokka kati, Yakuwa agenda kulekera awo okukolagana n’eggwanga eryo. (Matayo 23:37, 38) N’olwekyo, Yesu ababuulira ekintu ekipya. Yesu ye muzabbibu Kitaawe gw’abadde alabirira okuva Yesu lwe yafukibwako omwoyo omutukuvu mu mwaka 29 E.E. Naye Yesu akiraga nti omuzabbibu tegukiikirira ye yekka.

Agamba nti: “[Kitange] aggyawo buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, era alongoosa eryo eribala ebibala lisobole okweyongera okubala. . . . Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo okuggyako nga liri ku muzabbibu, nammwe temuyinza kubala bibala okuggyako nga musigadde nga muli bumu nange. Nze muzabbibu; mmwe matabi.”​—Yokaana 15:2-5.

Yesu asuubizza abayigirizwa be abeesigwa nti bw’anaagenda ajja kubasindikira omuyambi, omwoyo omutukuvu. Oluvannyuma lw’ennaku 51, abatume awamu n’abalala bajja kufuna omwoyo omutukuvu, bafuuke amatabi g’omuzabbibu. “Amatabi” gonna galina okuba obumu ne Yesu. Lwaki?

Yesu annyonnyola nti: “Oyo yenna asigala ng’ali bumu nange era nga nange ndi bumu naye, abala ebibala bingi; kubanga we siri temuyinza kukola kintu kyonna.” Abagoberezi ba Yesu abeesigwa, nga ge ‘matabi,’ bandibaze ebibala bingi nga bakoppa engeri za Yesu, nga babuulira buli omu ku Bwakabaka bwa Katonda, era nga bafuula abantu abayigirizwa. Naye singa omuntu tasigala bumu na Yesu oba singa tabala bibala? Yesu annyonnyola nti: “Omuntu yenna bw’atasigala ng’ali bumu nange, abeera ng’ettabi erisuulibwa ebweru ne likala.” Ku luuyi olulala, Yesu agamba nti: “Bwe musigala nga muli bumu nange era ebigambo byange ne bisigala mu mmwe, musabe kyonna kye mwagala, kijja kubaweebwa.”​—Yokaana 15:5-7.

Yesu addamu okwogera ku kukwata ebiragiro bye, era ng’ensonga eyo abadde yaakagyogerako emirundi ebiri. (Yokaana 14:15, 21) Ayogera ekintu ekikulu ekyandiraze nti abayigirizwa be bakwata ebiragiro bye. Agamba nti: “Bwe mukwata ebiragiro byange, mujja kusigala mu kwagala kwange, nga nze bwe nkutte ebiragiro bya Kitange ne nsigala mu kwagala kwe.” Naye okwagala Yakuwa Katonda n’Omwana we si kye kyokka kye balina okukola. Yesu abagamba nti: “Kino kye kiragiro kyange nti mwagalanenga nga nange bwe mbaagadde. Tewali n’omu alina kwagala kusinga kw’oyo awaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye. Bwe mukwata bye mbalagira, muba mikwano gyange.”​—Yokaana 15:10-14.

Mu ssaawa ntono, Yesu ajja kwoleka okwagala kwe ng’awaayo obulamu bwe ku lw’abo bonna abamukkiririzaamu. Ekyo kisaanidde okuleetera abagoberezi be okwoleka okwagala ng’okwo buli omu eri munne. Okwagala okwo kujja kubaawulawo ku bantu abalala, kubanga emabegako Yesu yabagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.”​—Yokaana 13:35.

Abatume basaanidde okukimanya nti Yesu abayita “mikwano” gye. Annyonnyola ensonga lwaki abayita bw’atyo: “Mbayise mikwano gyange kubanga mbategeezezza ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange.” Nga nkizo ya maanyi okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yesu n’okumanya ebyo Yakuwa bye yamugamba! Naye okusobola  okukuuma enkolagana eyo, abayigirizwa balina “okubalanga ebibala.” Bwe banaakikola, Yesu abagamba nti, ‘Kitange [ajja] kubawa buli kintu kye musaba mu linnya lyange.’​—Yokaana 15:15, 16.

Abayigirizwa be bwe banaayagalana bajja kusobola okugumira ebinaatera okubaawo. Abalabula nti ensi ejja kubakyawa naye era ababudaabuda ng’agamba nti: “Ensi bw’ebakyawanga, mukimanye nti yasooka kukyawa nze nga tennakyawa mmwe. Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo. Naye olw’okuba . . . nnabalonda okuva mu nsi, ensi ky’eva ebakyawa.”​—Yokaana 15:18, 19.

Yesu ayongera n’abannyonnyola ensonga lwaki ensi ejja kubakyawa ng’agamba nti: “Bajja kubakola ebintu bino byonna olw’erinnya lyange, kubanga tebamanyi oyo eyantuma.” Yesu akiraga nti ebyamagero by’akola biviirako abo abamukyawa okusalirwa omusango. Agamba nti: “Singa saakolera mu bo bikolwa omulala by’atakolangako, tebandibadde na kibi; naye baandaba ne bankyawa era ne bakyawa ne Kitange.” Mu butuufu, mu kwoleka obukyayi ng’obwo batuukiriza obunnabbi.​—Yokaana 15:21, 24, 25; Zabbuli 35:19; 69:4.

Yesu addamu okusuubiza abagoberezi be omuyambi, omwoyo omutukuvu. Buli mugoberezi wa Yesu asobola okufuna amaanyi ago ne gamuyamba okubala ebibala, kwe kugamba ‘okuwa obujulirwa.’​—Yokaana 15:27.