Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Yesu​—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

 ESSUULA 63

Yesu Ayogera ku Kwesittala ne ku Kwonoona

Yesu Ayogera ku Kwesittala ne ku Kwonoona

MATAYO 18:6-20 MAKKO 9:38-50 LUKKA 9:49, 50

  • AYOGERA KU KWESITTALA

  • SINGA OW’OLUGANDA AKOLA EKIBI

Yesu yaakamala okulaga abayigirizwa be engeri gye basaanidde okwetwalamu. Basaanidde okwetwala ng’abaana abato, aba wansi era abatalina bitiibwa. Abayigirizwa basaanidde okusembeza abo abalinga abaana abato ku lw’erinnya lya Yesu, mu ngeri eyo ne baba ng’abasembezza Yesu.—Matayo 18:5.

Emabegako awo, abatume baawakanye ku nsonga ekwata ku ani asinga obukulu mu bo, era Yesu n’abawabula. Kati omutume Yokaana aleetawo ensonga endala ekwata ku kintu ekibaddewo: “Twalaba omusajja agoba dayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumugaana, kubanga takugoberera wamu naffe.”—Lukka 9:49.

Kyandiba nti Yokaana alowooza nti abatume bokka be balina obuyinza okuwonya abalala oba okugoba dayimooni? Bwe kiba kityo, kijja kitya okuba nti omusajja oyo Omuyudaaya asobodde okugoba emyoyo emibi? Yokaana awulira nti omusajja oyo tasaanidde kukola byamagero okuva bwe kiri nti tatambulira wamu ne Yesu era n’abatume.

Kyewuunyisa nnyo Yokaana, Yesu bw’agamba nti: “Temumugaana kubanga tewali n’omu akola kyamagero mu linnya lyange ate amangu ago n’anjogerako obubi. Oyo atatuziyiza aba ku ludda lwaffe. Buli abawa ekikopo ky’amazzi okunywa olw’okuba muli ba Kristo, mazima mbagamba nti, talirema kufuna empeera ye.”—Makko 9:39-41.

Mu kiseera kino, omusajja oyo tekimwetaagisa kutambulira wamu ne Yesu Kristo okusobola okukiraga nti ali ku ludda lwe. Okuva bwe kiri nti ekibiina Ekikristaayo tekinnatandikibwawo, okuba nti omusajja oyo tatambulira wamu na Yesu tekitegeeza nti mulabe we oba nti atumbula okusinza okw’obulimba. Kyeyoleka lwatu nti omusajja oyo akkiririza mu linnya lya Yesu, era ebyo Yesu by’ayogera biraga nti ajja kufuna empeera ye.

Ku luuyi olulala, kyandibadde kya kabi nnyo singa ebigambo n’ebikolwa by’abatume bireetera omusajja oyo okwesittala. Yesu abagamba nti: “Buli eyeesittaza omu ku bato bano abalina okukkiriza, kyandisinzeeko singa asibibwa mu bulago olubengo olusikibwa endogoyi n’asuulibwa mu nnyanja.” (Makko 9:42) Oluvannyuma Yesu akubiriza abagoberezi be okweggyako ekintu kyonna ekiyinza okubaleetera okwesittala ne bwe kiba kya muwendo nnyo ng’omukono, okugulu, oba eriiso. Kisingako obutaba na kintu ng’ekyo n’oyingira mu Bwakabaka bwa Katonda mu kifo ky’okuba nakyo naye n’osuulibwa mu Ggeyeena (Ekiwonvu kya Kinomu). Abatume bateekwa okuba nga bamanyi bulungi ekiwonvu ekyo ekiri okumpi ne Yerusaalemi kasasiro gy’ayokerwa. Bwe kityo, Yesu bw’ayogera ku kiwonvu ekyo bakitegeera nti ayogera ku kuzikirira okw’emirembe n’emirembe.

Yesu era abalabula ng’agamba nti: “Mukakase nti temunyooma omu ku bato bano; kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe mu ggulu bulijjo babeera mu maaso ga Kitange.” ‘Abato abo’ ba muwendo kwenkana wa mu maaso ga Kitaawe? Yesu ayogera ku musajja eyalina endiga 100 naye emu n’ebula. Omusajja oyo aleka endiga 99 n’agenda okunoonya eyo emu, era bw’agifuna agisanyukira nnyo okusinga 99. Yesu agattako nti: “Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.”—Matayo 18:10, 14.

Oboolyawo ng’alowooza ku ky’okuba nti abatume be baabadde bakaayana ku ani ku bo asinga obukulu, Yesu abagamba nti: “Mubeereemu omunnyo, era mube n’emirembe buli omu ne munne.” (Makko 9:50) Omunnyo guleetera emmere okwongera okuwooma. Omunnyo ogw’akabonero guleetera ebyo omuntu by’ayogera okuba ebyangu okukkiriza ekyo ne kiyamba okukuuma emirembe, ekintu okukaayana kye kutasobola kukola.—Abakkolosaayi 4:6.

Ebiseera ebimu, wayinza okubaawo obutategeeragana, naye Yesu awa amagezi ku ngeri y’okubugonjoolamu. Agamba nti: “Muganda wo bw’ayonoona, genda omulage ensobi ye nga muli mmwekka ggwe naye. Bw’akuwuliriza, ojja kuba okomezzaawo muganda wo mu kkubo ettuufu.” Naye watya singa takuwuliriza? Yesu agamba nti: “Twalayo omuntu omulala omu oba babiri, buli nsonga eryoke ekakasibwe okusinziira ku biba byogeddwa abajulizi babiri oba basatu.” Ekyo nakyo bwe kitakola, balina okutegeeza “ekibiina,” kwe kugamba, balina okutegeeza abakadde mu kibiina basalewo eky’okukola. Watya singa omwonoonyi agaana okuwuliriza? Yesu agamba nti: “Mutwale nga munnaggwanga oba omusolooza w’omusolo,” abantu Abayudaaya be baali batasobola kusinziza wamu nabo.—Matayo 18:15-17.

Abakadde mu kibiina balina okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Bwe bakizuula nti omwonoonyi alina omusango era nti yeetaaga okubonerezebwa, ekyo kye basalawo ‘ne mu ggulu kiba kisibiddwa.’ Naye singa bakizuula nti talina musango, ekyo kye basalawo ‘ne mu ggulu kiba kisumuluddwa.’ Obulagirizi obwo bujja kuba bwa mugaso nnyo ng’ekibiina Ekikristaayo kitandikiddwawo. Ng’ayogera ku ekyo ekibaawo ng’abakadde batudde okusala omusango, Yesu agamba nti: “Abantu babiri oba basatu bwe bakuŋŋaana mu linnya lyange, mbeera wakati mu bo.”—Matayo 18:18-20.