Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Wuliriza Katonda Obeere Mulamu Emirembe Gyonna

 EKITUNDU 7

Yesu Yali Ani?

Yesu Yali Ani?

Yakuwa yatuma Yesu ku nsi. 1 Yokaana 4:9

Bwe tuba twagala okusanyusa Yakuwa, waliwo omuntu omulala omukulu ennyo gwe tulina okuwuliriza. Dda nnyo nga tannaba kutonda Adamu, Yakuwa yali atonze omuntu ow’omwoyo mu ggulu ow’amaanyi ennyo.

Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’amusindika ku nsi azaalibwe omukazi embeerera ayitibwa Maliyamu mu Besirekemu. Omwana oyo yatuumibwa erinnya Yesu.Yokaana 6:38.

Bwe yali ku nsi, Yesu yayolekera ddala engeri za Katonda. Yayoleka ekisa, okwagala, era yali atuukirikika. Yayigiriza n’obuvumu amazima agakwata ku Yakuwa.

 Yesu yakola ebirungi kyokka ne bamukyawa. 1 Peetero 2:21-24

Yesu era yawonya abalwadde n’azuukiza n’abamu ku abo abaali bafudde.

Abakulembeze b’amadiini baakyawa Yesu kubanga yayanika enjigiriza zaabwe ez’obulimba n’ebikolwa byabwe ebibi.

Abakulembeze b’amadiini baapikiriza Abaruumi okukuba Yesu n’okumutta.