Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 EKITUNDU 9

Olusuku lwa Katonda Lunaabaawo Ddi?

Olusuku lwa Katonda Lunaabaawo Ddi?

Ebizibu ebiriwo mu nsi bikakasa nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okubaako kye bukolawo. Lukka 21:10, 11; 2 Timoseewo 3:1-5

Ebintu bingi ebiriwo kati Bayibuli yali yabyogerako dda. Yagamba nti abantu bandibadde baagala nnyo ssente, nga tebagondera bazadde baabwe, nga bakambwe, era nga baagala nnyo eby’amasanyu.

Wandibaddewo musisi ow’amaanyi, entalo, ebbula ly’emmere, n’okusaasaana kw’endwadde. Ebintu bino weebiri kati.

Ate era Yesu yagamba nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gandibuuliddwa mu nsi yonna. —Matayo 24:14.

 Obwakabaka bujja kuggyawo obubi bwonna. 2 Peetero 3:13

Yakuwa anaatera okuzikiriza abantu ababi bonna.

Sitaani ne badayimooni bajja kubonerezebwa.

Abo abawuliriza Katonda bajja kusigalawo babeere mu nsi empya ey’obutuukirivu, omutaabeere kutya kwonna, era omunaabeera abantu abeesigaŋŋana era abaagalana.