Weewale ebintu ebibi. 1 Abakkolinso 6:9, 10

Bwe tuba twagala Yakuwa, tetujja kukola bintu by’akyawa.

Yakuwa tayagala tubbe, tutamiire, oba tukozese ebiragalalagala.

Katonda akyayira ddala obutemu, okuggyamu embuto, n’obulyi bw’ebisiyaga. Tayagala tube ba mululu oba tulwane n’abalala.

Tetuteekwa kusinza bifaananyi oba okwenyigira mu by’obusamize.

Abantu abakola ebibi, tebajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda.

 Kola ebirungi. Matayo 7:12

Okusobola okusanyusa Katonda, tulina okufuba okubeera nga ye.

Laga abalala okwagala ng’obeera wa kisa era mugabi.

Beera wa mazima.

Beera muntu musaasizi era asonyiwa.

Buulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’amakubo ge.Isaaya 43:10.