Waliwo Katonda omu yekka ow’amazima, era erinnya lye ye Yakuwa. (Zabbuli 83:18) Mwoyo; tetusobola kumulaba. Atwagala era ayagala naffe tumwagale. Ate era ayagala twagale n’abantu abalala. (Matayo 22:35-40) Y’oyo Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’ebintu byonna.

Ekitonde Katonda kye yasooka okutonda oluvannyuma eyamanyibwa nga Yesu Kristo yali muntu wa mwoyo ow’amaanyi ennyo. Ate era Yakuwa yatonda ne bamalayika.

Yakuwa yatonda ebintu byonna ebiri mu ggulu . . . ne ku nsi. Okubikkulirwa 4:11

 Yakuwa Katonda yatonda emmunyeenye, ensi, era n’ebintu byonna ebigiriko.Olubereberye 1:1.

Yatonda Adamu, omusajja eyasooka, okuva mu nfuufu.—Olubereberye 2:7.