Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Wuliriza Katonda Obeere Mulamu Emirembe Gyonna

Ennyanjula

Ennyanjula

Katonda alinga taata ayagala abaana be. 1 Peetero 5:6, 7

Katonda ye Mutonzi waffe, era atufaako. Nga taata ow’amagezi era alina okwagala bw’awa abaana be obulagirizi, ne Katonda ayigiriza abantu buli wamu engeri gye bayinza okuba mu bulamu obusingayo obulungi.

Katonda atuyigiriza amazima ag’omuwendo agatuleetera essanyu era agatuwa essuubi.

Bw’onoowuliriza Katonda, ajja kukuwa obulagirizi era akukukuume. Ate era ajja kukuyamba okwaŋŋanga ebizibu.

Naye waliwo n’omuganyulo omulala—ojja kuba mulamu emirembe gyonna!

 Katonda atugamba nti: ‘Mujje gye ndi; mumpulirize, mube balamu.’ Isaaya 55:3