Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 ESSUULA EY’EKKUMI N’ENNYA

Yayiga Okuba Omusaasizi

Yayiga Okuba Omusaasizi

1. Olugendo Yona lwe yali agenda okutambula lwali lutya, era yali awulira atya ku ky’okuyingira mu Nineeve?

YONA yali agenda kuba n’ebiseera bingi eby’okulowooza ku bintu ebitali bimu. Yali agenda kutambula olugendo lwa mayiro ezisukka mu 500, era nga kyali kigenda kumutwalira omwezi nga gumu oba n’okusingawo. Yali alina okulondawo ekkubo lye yandiyiseemu okusobola okutuuka emirembe gye yali agenda. Okutuuka e Nineeve, Yona yali agenda kuyita mu biwonvu ne mu nsozi. Kirabika yali agenda kuyita ku mabbali g’Eddungu ly’e Busuuli era asomoke n’emigga eminene, gamba ng’Omugga Fulaati. Kyali kigenda kumwetaagisanga okunoonya aw’okusula mu bibuga ne mu byalo by’omu Busuuli, eby’omu Mesopotamiya, n’eby’omu Bwasuli. Yona yalwa ddaaki n’atandika olugendo lwe. Ng’olugendo olwo alugenzeeko ekiwera, yatandika okulowooza ennyo ku kibuga ekyo Nineeve kye yali atya ennyo okuyingiramu.

2. Kiki ekyayamba Yona okukitegeera nti mu buli ngeri yali alina okugenda Yakuwa gye yali amutumye?

2 Kyokka Yona yali akimanyi bulungi nti mu buli ngeri yali tasobola kudda nnyuma. Yalina okutuuka Yakuwa gye yali amutumye. Ng’essuula evuddeko bw’eraga, mu kusooka Yona yali adduse aleme kugenda gye yali atumiddwa. Naye Yakuwa yali amuyigirizza okuba omuwulize bwe yaleeta omuyaga ogw’amaanyi, Yona n’asuulibwa mu nnyanja, eky’ennyanja ekinene ennyo ne kimumira, era oluvannyuma lw’ennaku ssatu ne kimusesema ku lukalu.—Yona, ssul. 1, 2.

3. Yakuwa yasaasira atya Yona, era kibuuzo ki ekijjawo?

 3 Yakuwa bwe yagamba Yona omulundi ogw’okubiri okugenda e Nineeve, Yona yakwata ekkubo n’agenda. (Soma Yona 3:1-3.) Naye Yona yali akyuse oluvannyuma lwa Yakuwa okumukangavvula? Yakuwa yamusaasira n’atamubonereza olw’obujeemu bwe, n’amuwonya okufiira mu nnyanja, era n’addamu okumutuma e Nineeve. Oluvannyuma lw’okusaasirwa bw’atyo, Yona naye yali ayize okuba omusaasizi? Abantu abatatuukiridde tekitera kubanguyira kusaasira balala. Ka tulabe kye tusobola okuyigira ku Yona.

Baawulira Obubaka bw’Omusango ne Beenenya

4, 5. Lwaki ekibuga Nineeve Yakuwa yakiyita ‘ekibuga ekikulu’ era ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa?

4 Engeri Yona gye yali atunuuliramu ekibuga Nineeve yali ya njawulo nnyo ku ngeri Yakuwa gye yali akitunuuliramu. Tusoma nti: “Nineeve kyali kibuga kikulu mu maaso ga Katonda.” (Yon. 3:3, NW) Emirundi esatu mu kitabo kya Yona ekibuga Nineeve  Yakuwa akiyita, “Nineeve ekibuga ekyo [ekikulu].” (Yon. 1:2; 3:2; 4:11) Naye lwaki ekibuga Nineeve kyali kikulu mu maaso ga Yakuwa Katonda?

5 Ekibuga Nineeve kyali kyaliwo dda nnyo. Kye kimu ku bibuga Nimuloodi bye yasooka okuzimba oluvannyuma lw’Amataba. Kyali kinene nnyo era kirabika kyalina n’obubuga obulala obutono obwali bukyetoolodde. Omuntu okukitambula okuva ku luuyi lwakyo olumu okutuuka ku lulala kyamutwaliranga ennaku ssatu. (Lub. 10:11; Yon. 3:3) Kyalina bbugwe ow’amaanyi, kyalimu amasinzizoagaali galabika obulungi ennyo, era n’ebizimbe ebirala ebinene ddala. Naye ebyo si bye byakifuula okuba ekikulu mu maaso ga Yakuwa Katonda. Abantu abaakirimu be baakifuula okuba ekikulu mu maaso ge. Bw’okigeraageranya ku bibuga by’omu kiseera ekyo, ekibuga Nineeve kyalimu abantu bangi nnyo ddala. Wadde ng’abantu abo baali babi, Yakuwa yali abalumirirwa. Buli muntu Yakuwa amutwala nga wa muwendo mu maaso ge. Akimanyi nti buli muntu asobola okwenenya era nti buli muntu asobola okuyiga okukola ekituufu.

Ekibuga Nineeve kyali kinene nnyo era abantu baamu baali boonoonyi nnyo

6. (a) Lwaki Yona ayinza okuba nga yeeyongera okutya ng’atuuse mu Nineeve? (Laba n’obugambo obuli wansi.) (b) Engeri Yona gye yalangiriramu obubaka bwe etulaga nti yali muntu wa ngeri ki?

6 Yona bwe yatuuka mu Nineeve, ayinza okuba nga yeeyongera okutya olw’abantu abo abangi ennyo abaakirimu. Kyalimu abantu abasukka mu 120,000. * Yatambula okumala olunaku lulamba, n’ayingirira ddala wakati mu kyo, era oboolyawo ng’anoonya ekifo ekyali kisinga okubaamu abantu asobole okulangirira obubaka bwe. Yali agenda kulangirira atya obubaka bwe? Yali amanyi Olwasuli? Yakuwa yamusobozesa okulwogera mu ngeri ey’ekyamagero? Tetumanyi. Oboolyawo Yona yayogera mu Lwebbulaniya nga waliwo avvuunula. Ka kibe nti kyali kityo oba nedda, obubaka bwe bwali bwangu okutegeera naye nga si bwebwo bangi bwe bandyagadde okuwulira. Yagamba nti: “Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira.” (Yon. 3:4) Obubaka obwo yabulangirira enfunda n’enfunda awatali kutya kwonna. Mu kukola ekyo, yayoleka obuvumu n’okukkiriza okw’amaanyi ennyo, era nga zino ze ngeri Abakristaayo ffenna ze twetaaga okuba nazo.

Obubaka Yona bwe yalangirira bwali bwangu okutegeera naye nga si bwebwo bangi bwe bandyagadde okuwulira

7, 8. (a) Abantu b’omu Nineeve baatwala batya obubaka bwa Yona bwe yalangirira? (b) Kabaka w’omu Nineeve yakola ki bwe yawulira obubaka bwa Yona bwe yalangirira?

 7 Abantu b’omu Nineeve bassaayo omwoyo ku bubaka bwa Yona wadde nga ye ayinza okuba nga yali asuubira nti baali bajja kusunguwala bamukoleko akabi. Obubaka bwe bwasaasaana wonna wonna, era mu kiseera kitono ekibuga kyonna kyali kyogera ku bubaka obwo Yona bwe yali alangirira. (Soma Yona 3:5.) Abantu bonna—abagagga n’abaavu, abasajja n’abakazi, abato n’abakulu—beenenya era ne basiiba. Mangu ddala amawulire ago gaatuuka ne ku kabaka.

Yona yali yeetaaga obuvumu n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okubuulira mu Nineeve

8 Kabaka naye yeenenya bwe yawulira obubaka Yona bwe yali alangirira. Yasituka ku ntebe ye, n’aggyamu ebyambalo bye eby’obwakabaka, n’ayambala ebibukutu ng’abantu be bonna bwe baali bambadde, era “n’atuula mu vvu.” Ng’ali wamu “n’abakungu be,” yayisa ekiragiro nti abantu bonna basiibe era nti bonna bambale ebibukutu, era n’ensolo nazo zambazibwe ebibukutu. * Yakkiriza nti abantu be baali bakola ebintu ebibi awamu n’ebikolwa eby’ettemu. Kabaka yalina essuubi nti Katonda yandikyusizzaamu bwe yandirabye nga beenenyezza, era yagamba: ‘Katonda alikyuka n’aleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira.’Yon. 3:6-9.

9. Wadde abamu bawakanya ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bantu b’omu Nineeve, tumanya tutya nti ky’egamba kituufu?

9 Waliwo abamu abagamba nti tekisoboka kuba nti abantu b’omu Nineeve baakyuka mu bbanga ettono ennyo bwe lityo ne beenenya. Kyokka bannabyafaayo bagamba nti abantu ab’edda baalinga bakyukakyuka mangu mu mbeera zaabwe, n’olwekyo tekyewuunyisa nti abantu b’omu Nineeve baakola enkyukakyuka eyo ey’amangu. Ate era, abo abagamba nti ekyo kyali tekisoboka bakyamu, kubanga ne Yesu Kristo kennyini yayogera ku kwenenya kw’abantu b’e Nineeve. (Soma Matayo 12:41.) Yesu yali amanyi kye yali ayogerako, kubanga byonna ebyaliwo mu kibuga Nineeve yabiraba ng’ali mu ggulu. (Yok. 8:57, 58) Abantu ne bwe baba babi batya, tetusaanidde kulowooza nti tebasobola kwenenya ne balekayo ebintu ebibi bye bakola. Yakuwa yekka y’asobola okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu.

 Katonda Musaasizi Naye Bo Abantu Bakakanyavu

10, 11. (a) Yakuwa yakola ki bwe yalaba ng’abantu b’omu Nineeve beenenyezza? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa yali takoze nsobi okusalira abantu b’omu Nineeve omusango?

10 Yakuwa yakola ki bwe yalaba ng’abantu b’omu Nineeve beenenyezza? Yona yawandiika nti: “Katonda n’alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n’atabubakola.”Yon. 3:10.

11 Kati ekyo kitegeeza nti Yakuwa yakiraba nti yali akoze nsobi okusalira abantu b’omu Nineeve omusango? Nedda. Bayibuli eraga nti Yakuwa wa bwenkanya era nti byonna by’akola bituukiridde. (Soma Ekyamateeka 32:4.) Wadde nga yali asunguwalidde abantu b’omu Nineeve olw’ebikolwa byabwe ebibi, obusungu bwe bwakkakkana bwe yalaba ng’abantu abo bakyuse. Kyali tekikyamwetaagisa kubabonereza nga bwe yali ategese, wabula kati baali bagwana kusaasirwa.

12, 13. (a) Yakuwa yakyoleka atya nti si mukakanyavu, era nti musaasizi? (b) Lwaki tugamba nti obunnabbi Yona bwe yayogera ku kibuga Nineeve tebwali bwa bulimba?

12 Yakuwa si Katonda mukakanyavu era atalumirirwa balala ng’abakulembeze b’amadiini agamu bwe bayigiriza. Musaasizi era we kiba kyetaagisizza akyusaamu ky’aba asazeewo. Bw’asalawo okubonereza abantu ababi, asooka kukozesa baweereza be wano ku nsi ne babalabula, kubanga ayagala nnyo ababi beenenye era balekeyo amakubo gaabwe amabi ng’abantu b’omu Nineeve bwe baakola. (Ez. 33:11) Yakuwa yagamba nnabbi Yeremiya nti: “Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okusimbula n’okumenya n’okuzikiriza; eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.”Yer. 18:7, 8.

Katonda ayagala nnyo ababi beenenye era bakyuke ng’abantu b’omu Nineeve bwe baakola

13 Obunnabbi bwa Yona bwali bwa bulimba? Nedda; bwayamba abantu abo okumanya ekyo ekyandibatuuseeko bwe batandyenenyezza. Abantu b’omu Nineeve baalabulwa nti baali bagenda kubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebibi, naye baakyusaamu bwe baawulira obubaka bwa Yona. Bwe bandizzeemu okukola ebintu ebibi, Yakuwa yandizzeemu okubasalira omusango. Ekyo kyennyini kye kyaliwo oluvannyuma lw’ekiseera.Zef. 2:13-15.

14. Yona yawulira atya Yakuwa bwe yasaasira abantu b’omu Nineeve n’atabazikiriza?

14 Yona yawulira atya Nineeve bwe kitaazikirizibwa nga bwe yali asuubira? Tusoma nti: “Yona n’atasiima n’akatono n’anyiikaala.” (Yon. 4:1) Yona alina n’essaala gye yasaba, era mu ssaala eyo yali ng’anenya Omuyinza w’Ebintu Byonna! Yagamba nti kyandisinzeeko  singa yali asigaddeyo mu nsi ye. Yagamba nti yali akimanyi nti Yakuwa yali tajja kuzikiriza kibuga Nineeve, era nti eyo ye nsonga lwaki mu kusooka yali asazeewo okuddukira e Talusiisi. Yasaba afe ng’agamba nti kirungi okufa okusinga okuba omulamu.Soma Yona 4:2, 3.

15. (a) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Yona okuwulira obubi? (b)  Yona bwe yanyiiga Yakuwa yakola ki ?

15 Kiki ekyaleetera Yona okuwulira obubi bw’atyo? Tetumanyi, naye kye tumanyi kiri nti yali agambye abantu b’omu Nineeve nti ekibuga kyabwe kyali kigenda kuzikirizibwa. Abantu abo baali bakkirizza bye yabagamba, kyokka ate ekibuga ne kitazikirizibwa. Yandiba nga yatya nti abantu baali bajja kumusekerera oba okumuyita nnabbi ow’obulimba? Ka kibeere ki ekyamuleetera okuwulira obubi, abantu bwe beenenya Yakuwa n’abasaasira, Yona teyasanyuka wabula yanyiiga bunyiizi. Wadde kyali kityo, Katonda we omusaasizi yali akyamulabamu ebirungi bingi. Yakuwa teyabonereza Yona olw’okweyisa mu ngeri eyo, wabula yamubuuza bubuuza nti: “Ggwe okoze bulungi okusunguwala?” (Yon. 4:4) Ekibuuzo ekyo Yona yakiddamu? Bayibuli tetubuulira.

16. Biki abamu bye bayinza okwogera ku ngeri Katonda gy’akolamu ebintu, era kiki kye tuyigira ku Yona?

16 Kyangu okusalira Yona omusango, naye tusaanye okukijjukira nti emirundi mingi ffe abantu abatatuukiridde ebintu tetubitunuulira nga Yakuwa bw’abitunuulira. Bwe wagwawo ekizibu eky’amaanyi, abamu bagamba nti Yakuwa yandibadde alina ky’akozeewo okuziyiza ekizibu ekyo. Abalala bagamba nti yandibadde yabonereza dda abantu ababi, oba nti ensi ya Sitaani eno embi yandibadde yagizikiriza dda. Ebyo bye tusoma ku Yona bitulaga nti endowooza yaffe bw’eba eyawukana ku ya Yakuwa Katonda, ffe tuba tulina okukyusaamu.

Engeri Yakuwa Gye Yayigiriza Yona Okuba Omusaasizi

17, 18. (a) Yona yakola ki ng’avudde mu Nineeve? (b) Ebyamagero Yakuwa bye yakola byakwata bitya ku Yona?

17 Yona yava mu kibuga Nineeve nga munyiikaavu, naye teyaddayo mu nsi ye, wabula yagenda ebuvanjuba w’ekibuga ekyo. Yazimba ekisiisira n’atuula omwo n’alinda alabe ekyandituuse ku Nineeve. Osanga yali akyasuubira nti ekibuga ekyo kyali kigenda kuzikirizibwa. Yakuwa yandiyambye atya Yona okufuna omutima omusaasizi?

18 Yakuwa yameza ekiryo mu kiro kimu. Yona bwe yazuukuka ‘yasanyuka nnyo’ olw’ekiryo ekyo ekyamuwa ekisiikirize ekyali kisinga eky’ekisiisira kye yali azimbye. Era oboolyawo yalowooza nti  Yakuwa yamumereza ekiryo ekyo mu ngeri ey’ekyamagero olw’okuba yali asiima bye yali akola. Kyokka Yakuwa ekiryo ekyo teyakimeza kumuwonya buwonya kasana oba okumukkakkanya obusungu, wabula yali alina ky’ayagala okumuyigiriza. Yakuwa era yakola n’ebyamagero ebirala. Yasindika ekiwuka ne kitta ekiryo ekyo. Oluvannyuma yasindika ‘embuyaga ey’ebuvanjuba ey’ebbugumu, Yona n’abulako katono okuzirika.’ Yona yennyamira nnyo era n’addamu n’asaba afe.Yon. 4:6-8.

19, 20. Yakuwa yayamba atya Yona okutereeza endowooza enkyamu gye yalina?

19 Yakuwa yabuuza Yona obanga yali mutuufu okusunguwala olw’okuba ekiryo kyali kifudde. Mu kifo ky’okwenenya, Yona yeewolereza bwewolereza, ng’agamba nti: “Ndi mutuufu okusunguwala, era mpulira njagala na kufa.” Kati ekiseera kyali kituuse Yakuwa ayigirize Yona ekintu ekikulu ennyo.Yon. 4:9, NW.

Katonda yakozesa ekiryo okuyigiriza Yona okuba omusaasizi

20 Katonda yayamba Yona okukiraba nti ekiryo kye yali alumirwa kyali kimeredde mu kiro kimu, ate nga si ye yali akisimbye wadde okukikuza. Era bw’atyo yamugamba nti: “Nange sandisaasidde  Nineeve, ekibuga ekyo ekinene; omuli abantu [abasukka mu mitwalo ekkumi n’ebiri] abatayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n’omukono gwabwe ogwa kkono era n’ensolo ennyingi?”Yon. 4:10, 11. *

21. (a) Kyakuyiga ki ekikulu Yakuwa kye yayigiriza Yona? (b) Bye tusoma ku Yona biyinza bitya okutuyamba okwekebera?

21 Olaba Yakuwa kye yali ayagala Yona ategeere? Yona yali talina kintu kyonna kye yali akoze kulabirira kiryo ekyo. Kyokka Yakuwa ye yali yawa abantu b’omu Nineeve obulamu era ye yali ababeezaawo, nga bw’abeezaawo ebitonde ebirala byonna. Yona yali ayinza atya okulowooza nti ekiryo ekimu kyali kya muwendo okusinga abantu 120,000 n’ebisolo byabwe? Okulowooza bw’atyo kyali tekiraga nti yali yeerowoozaako yekka? Ekiryo bwe kyafa yalumwa olw’okuba yali alina engeri gy’akiganyulwamu. Ne Nineeve obutazikirizibwa kyali kimuluma olw’okuba yali alowooza nti abantu baali bajja kumuyita mulimba. Bye tusoma ku Yona bituyamba okwekebera. Ani ku ffe ateerowoozangako yekka? Tusaanidde okwebaza Yakuwa olw’okuba atuyigiriza okuba abasaasizi era n’okuba abantu abateerowoozaako ffekka!

22. (a) Ebyo Yakuwa bye yayigiriza Yona byamukwatako bitya? (b) Kiki naffe ffenna kye twetaaga okuyiga?

22 Ddala Yona yayiga okuba omusaasizi? Ekitabo kya Yona kiggwa ng’ekibuuzo Yakuwa kye yamubuuza tekiddiddwamu. Abamu bayinza okwemulugunya nti lwaki Yona teyaddamu kibuuzo ekyo. Kyokka ekituufu kiri nti Yona yaddamu ekibuuzo ekyo. Ekitabo ekiyitibwa erinnya lye bukakafu obulaga nti yakiddamu. Waliwo obujulizi obulaga nti Yona kennyini ye yawandiika ekitabo ekyo. Mukube akafaananyi ng’azzeeyo mu nsi ye. Olaba kati omusajja omwetoowaze okusingawo era eyeeyongedde okuba ow’amagezi n’okukula mu myaka. Olaba ng’atudde awandiika ebyo bye yayitamu nga bw’anyeenya omutwe nga yeewuunya ensobi ze yakola olw’obukakanyavu n’olw’obutalumirirwa balala. Mazima ddala Yona yayiga okuba omusaasizi. Naffe tunaayiga okuba abasaasizi?Soma Matayo 5:7.

^ lup. 6 Kiteeberezebwa nti Samaliya, ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi, kyalimu abantu nga 20,000 oba 30,000 mu kiseera kya Yona. Mu kiseera Nineeve we kyakulaakulanira ennyo, kiyinza okuba nga kye kibuga ekyali kisinga obunene mu nsi yonna.

^ lup. 8 Ensolo okwambazibwa ebibukutu kiyinza okulabika ng’ekyewuunyisa, naye tekyali kintu kipya. Munnabyafaayo Omuyonaani ayitibwa Herodotus yagamba nti Abaperusi ab’edda bwe baabanga bakola obulombolombo obw’okukungubagira omukungu, ensolo zaabwe nazo baazikolangako obulombolombo.

^ lup. 20 Katonda okugamba nti abantu ab’omu Nineeve baali tebayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku mukono gwabwe ogwa kkono kyali kitegeeza nti baali tebamanyi mitindo gye.