Yesu Kristo Mwana wa Yakuwa era ye mukwano gwe asingayo okuba ow’oku lusegere. Nga tannajja ku nsi ng’omuntu, Yesu yaliwo mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi. (Yokaana 17:5) Oluvannyuma yajja ku nsi okuyigiriza abantu amazima agakwata ku Katonda. (Yokaana 18:37) Era yawaayo obulamu bwe okulokola abantu abawulize okuva mu kibi n’okufa. (Abaruumi 6:23) Yesu kati ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, gavumenti ey’omu ggulu egenda okuleeta Olusuku lwa Katonda ku nsi eno.​—Okubikkulirwa 19:16.

Bamalayika nabo mikwano gya Katonda. Bamalayika tebaasooka kubeera ku nsi nga bantu. Baatonderwa mu ggulu nga Katonda tannakola nsi. (Yobu 38: 4-7) Waliwo obukadde n’obukadde bwa bamalayika. (Danyeri 7:10) Mikwano gya Katonda bano ab’omu ggulu baagala abantu bayige amazima agakwata ku Yakuwa.​—Okubikkulirwa 14:6,7.

Katonda alina emikwano ku nsi; abayita bajulirwa be. Omujulirwa mu kkooti ayogera byonna by’amanyi ku muntu oba ku kintu. Abajulirwa ba Yakuwa bategeeza abalala bye bamanyi ku Yakuwa n’ekigendererwa kye. (Isaaya 43:10) Okufaananako bamalayika, Abajulirwa baagala okukuyamba oyige amazima agakwata ku Yakuwa. Baagala naawe obeere mukwano gwa Katonda.