Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda’

 ESSUULA 4

Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Abo Abatukulembera?

Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Abo Abatukulembera?

“Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa.”​—1 PEETERO 2:17.

1, 2. (a) Lwaki kituzibuwalira okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

WALI weetegerezza engeri omwana gye yeeyisaamu nga bamugambye okukola ekintu ky’atayagala kukola? Endabika ye ey’oku maaso eyinza okukyoleka nti tayagala kukikola. Aba awulidde ekyo muzadde we ky’amulagidde okukola era ng’akimanyi nti asaanidde okumugondera, kyokka ng’ekyo kye bamulagidde tayagala bwagazi kukikola. Engeri omwana oyo gye yeeyisaamu eraga ekyo fenna kye tutera okukola.

2 Tekitera kutwanguyira kussa kitiibwa mu abo abatukulembera. Kyandiba nga naawe kikuzibuwalira okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera? Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Ennaku zino, abantu tebaagalira ddala kussa kitiibwa mu abo ababakulembera. Kyokka yo Bayibuli egamba nti tusaanidde okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera. (Engero 24:21) Mu butuufu, kikulu nnyo okubassaamu ekitiibwa bwe tuba ab’okusigala mu kwagala kwa Katonda. Naye kino kireetawo ebibuuzo. Lwaki kiyinza okutubeerera ekizibu ennyo okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera? Lwaki Yakuwa ayagala tubasseemu ekitiibwa, era kiki ekijja okutuyamba okubassaamu ekitiibwa? N’ekisembayo, mu ngeri ki gye tuyinza okulaga nti tussa ekitiibwa mu abo abatukulembera?

 ENSONGA LWAKI KIZIBU

3, 4. Ekibi n’obutali butuukirivu byajjawo bitya, era lwaki obutali butuukirivu bwaffe bukifuula kizibu okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera?

3 Mu bufunze ka tulabe ensonga bbiri lwaki kizibu okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera. Ensonga esooka, tetutuukiridde; ey’okubiri, n’abo abatukulembera tebatuukiridde. Ekibi n’obutali butuukirivu byava dda nnyo, Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda mu lusuku Edeni. N’olwekyo, obujeemu bwe bwavaako ekibi. N’okutuukira ddala leero tuzaalibwa nga tulimu omwoyo gw’obujeemu.​—Olubereberye 2:15-17; 3:1-7; Zabbuli 51:5; Abaruumi 5:12.

4 Olw’okuba tetutuukiridde, kyangu nnyo abasinga obungi ku ffe okufuna amalala, so ng’ate kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okuba abawombeefu. Ne bwe tuba nga tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa, tusobola okufuna amalala oba emputtu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Koola, eyayita mu bizibu ebingi ennyo ng’ali wamu n’abantu ba Yakuwa. Wadde kyali kityo, yayagala nnyo obukulu era ekyo kyamuleetera okukunga abantu okujeemera Musa, omusajja eyali asingayo obuwombeefu mu bonna abaaliwo mu kiseera ekyo. (Okubala 12:3; 16:1-3) Lowooza ne ku Kabaka Uzziya, amalala gwe gaaleetera okuyingira mu yeekaalu ya Yakuwa n’ayotereza obubaani, ekintu ekyali kirina okukolebwa bakabona bokka. (2 Ebyomumirembe 26:16-21) Abasajja abo baabonerezebwa olw’obujeemu bwabwe. Kyokka, ffenna tulina kye tuyigira ku bintu ebibi bye baakola. Tulina okufuba ennyo okwewala amalala agayinza okutulemesa okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera.

5. Abantu abatatuukiridde bakozesezza batya obubi obuyinza bwabwe?

5 Ku luuyi olulala, abantu abatatuukiridde abali mu buyinza bakoze kinene nnyo okuleetera abo be bafuga obutabassaamu kitiibwa. Bangi ku bo babadde bakambwe nnyo era nga bayisa bubi abo be bafuga. Mu butuufu, ebyafaayo by’omuntu biraga bulungi nti abantu bakozesezza bubi obuyinza bwabwe. (Soma  Omubuulizi 8:9.) Ng’ekyokulabirako, Sawulo yali musajja mulungi era nga muwombeefu Yakuwa we yamulondera okuba kabaka. Kyokka, yafuna amalala n’obuggya, era oluvannyuma yayigganya Dawudi, omusajja eyali omwesigwa. (1 Samwiri 9:20, 21; 10:20-22; 18:7-11) Nga wayiseewo ekiseera, Dawudi yafuuka kabaka mu Isirayiri, era y’omu ku bakabaka abaali abalungi ennyo. Kyokka obuyinza bwe yabukozesa bubi bwe yezza mukyala wa Uliya Omukiiti era n’alagira bateeke omusajja oyo ataalina musango awaali okulwana okw’amaanyi mu ddwaniro asobole okuttibwa. (2 Samwiri 11:1-17) Mazima ddala obutali butuukirivu bulemesa abantu okukozesa obulungi obuyinza bwabwe. Ate bwe kituuka ku bakulembeze abatatya Yakuwa, kiyitirira. Oluvannyuma lw’okwogera ku ngeri abamu ku bappaapa Abakatuliki gye baawomamu omutwe mu kuyigganya abantu, munnabyabufuzi omu Omungereza yawandiika nti: “Obuyinza bwonoona, ate obuyinza bwe buyitirira bwonoonera ddala.” Nga tulowooza ku ngeri abantu gye bakozesezzaamu obubi obuyinza, ka twekenneenye ekibuuzo kino: Lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera?

LWAKI TUSAANIDDE OKUSSA EKITIIBWA MU ABO ABATUKULEMBERA?

6, 7. (a) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera kukola ki, era lwaki? (b) Kiki ekizingirwa mu kuba omuwulize, era tuyinza kukyoleka tutya?

6 Ensonga esingayo obukulu etuleetera okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera kwe kwagala—okwagala kwe tulina eri Yakuwa, okwagala bantu bannaffe, n’okwagala obulamu bwaffe. Olw’okuba twagala Yakuwa okusinga ekintu ekirala kyonna, tukola ebyo ebimusanyusa. (Soma Engero 27:11; Makko 12:29, 30.) Tukimanyi bulungi nti obufuzi bwe bwawakanyizibwa bwe wabalukawo obujeemu mu lusuku Edeni era nti abantu abasinga obungi bali ku ludda lwa Sitaani era bagaanye obufuzi bwa Yakuwa. Naye ffe tuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Bwe tusoma ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 4:11, tukwatibwako nnyo. Ebigambo ebyo bikiraga bulungi nnyo nti Yakuwa y’asaanidde  okufuga obutonde bwonna. Tukiraga nti tuwagira obufuzi bwe nga tukola ebyo by’ayagala buli lunaku.

7 Okusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa kitwetaagisa okumugondera mu buli mbeera. Kino tukikola olw’okuba tumwagala. Wadde kiri kityo, wayinza okubaawo embeera we kiyinza okutubeerera ekizibu ennyo okugondera Yakuwa. Okufaananako omwana ayogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno, mu mbeera ng’eyo kiba kitwetaagisa okuyiga obuwulize. Tukimanyi bulungi nti Yesu yakola ebyo Kitaawe by’ayagala ne bwe kyabanga ekizibu ennyo. Yagamba Kitaawe nti: “Kye njagala si kye kiba kikolebwa wabula ggwe ky’oyagala.”—Lukka 22:42.

8. (a) Kiki ekizingirwa mu kugondera Yakuwa leero, era kiki ekiraga engeri Yakuwa gy’atwalamu ensonga eno? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okukolera ku kubuulirira okutuweebwa era n’okukkiriza okuwabulwa? (Laba akasanduuko akali ku  lupapula 46-47.)

8 Kya lwatu leero Yakuwa tayogera naffe kinnoomu, wabula akozesa Ekigambo kye n’abantu be abamukiikirira ku nsi. N’olwekyo, emirundi egisinga obungi tulaga nti tugondera Yakuwa nga tussa ekitiibwa mu abo b’ataddewo oba b’aleseewo okutukulembera. Bwe tubajeemera, gamba nga tugaana okukolera ku kubuulirira n’okuwabula kwe batuwa okuva mu Byawandiikibwa—tusobola okunyiiza Katonda waffe. Abayisirayiri bwe beemulugunyiza Musa era ne bamujeemera, Yakuwa yakitwala nti baali bajeemedde ye kennyini.​—Okubala 14:26, 27.

9. Lwaki okwagala kwe tulina eri bantu bannaffe kwandituleetedde okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera? Waayo ekyokulabirako.

9 Ate era okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera kiraga nti twagala bantu bannaffe. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kuba akafaananyi ng’oli mu magye. Eggye okusobola okutuuka ku buwanguzi era n’obutasaanyizibwawo, kyesigama ku ngeri buli musirikale gy’akolaganamu n’abaduumizi b’eggye, ng’abagondera era ng’abassaamu ekitiibwa. Singa ojeemera abaduumizi abo, oyinza okussa obulamu bw’abasirikale banno bonna mu kabi. Kyo kituufu nti amagye g’abantu gonoonye ebintu bingi nnyo. Kyokka, eggye lya Yakuwa lyo likola birungi byereere. Emirundi mingi Bayibuli eyogera ku Katonda nga “Yakuwa ow’eggye.” (1 Samwiri 1:3) Ye Muduumizi w’eggye eddene  ennyo ery’ebitonde eby’amaanyi eby’omwoyo. Oluusi, Yakuwa ayogera ku baweereza be ab’oku nsi ng’eggye. (Zabbuli 68:11; Ezeekyeri 37:1-10) Singa tujeemera abo Yakuwa bataddewo okutukulembera, olowooza tuba tetuteeka mu kabi basirikale bannaffe be tulwana nabo olutalo olw’eby’omwoyo? Omukristaayo bw’ajeemera abakadde, ayinza okuleetera abalala mu kibiina okukosebwa. (1 Abakkolinso 12:14, 25, 26) Omwana bw’afuuka omujeemu, amaka gonna gayinza okuyisibwa obubi. N’olwekyo, tulaga nti twagala bantu bannaffe nga tussa ekitiibwa mu abo abatukulembera, era nga tukolagana bulungi nabo.

10, 11. Tuganyulwa tutya bwe tugondera abo abatukulembera?

10 Ate era tussa ekitiibwa mu abo abatukulembera olw’okuba kituganyula. Yakuwa bw’atukubiriza okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera, emirundi mingi atutegeeza n’emiganyulo egikirimu. Ng’ekyokulabirako, akubiriza abaana okugondera bazadde baabwe basobole okuwangaala n’okuba abasanyufu. (Ekyamateeka 5:16; Abeefeso 6:2, 3) Atuku biriza okugondera abakadde mu kibiina tusobole okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye. (Abebbulaniya 13:7, 17) Ate era, atukubiriza okugondera ab’obuyinza kubanga ekyo kya bukuumi gye tuli.​—Abaruumi 13:4.

11 Bwe tumanya ensonga lwaki Yakuwa atukubiriza okuba abawulize, kituyamba okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera. Kati ka tulabeyo embeera za mirundi esatu mwe tuyinza okulagira nti tussa ekitiibwa mu abo abatwala obukulembeze.

MU MAKA

12. Buvunaanyizibwa ki Yakuwa bw’awadde omwami oba taata, era ayinza kubutuukiriza atya?

12 Yakuwa kennyini ye yatandikawo enteekateeka y’amaka. Okuva bwe kiri nti Yakuwa Katonda wa ntegeka, ayagala amaka gaddukanyizibwe bulungi. (1 Abakkolinso 14:33) Yakuwa awadde omwami oba taata obuvunaanyizibwa okuba omutwe gw’amaka. Omwami alaga nti assa ekitiibwa mu Mutwe gwe, Kristo Yesu, ng’akoppa engeri Yesu gy’akulemberamu ekibiina. (Abeefeso 5:23) N’olwekyo, omwami tasaanidde kulagajjalira buvunaanyizibwa bwe, wabula alina okubutuukiriza obulungi. Ate era tasaanidde kuba mukambwe oba nnaakyemalira, wabula, asaanidde okuba ng’ayagala ab’omu maka ge, nga si mukakanyavu, era nga wa ekisa. Asaanidde okukijjukiranga bulijjo nti obuyinza bwe buliko ekkomo​—tebwenkana bwa Yakuwa.

Taata Omukristaayo akoppa engeri Yesu gy’akozesaamu obuyinza bwe

13. Omukyala oba maama, ayinza atya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu maka mu ngeri esanyusa Yakuwa?

 13 Omukyala oba maama asaanidde okukola ng’omuyambi wa bbaawe. Omukyala naye alina obuyinza mu maka, kubanga Bayibuli eyogera “ku ebyo nnyoko by’akuyigiriza.” (Engero 1:8) Kya lwatu obuyinza bw’alina tebwenkana bwa bbaawe. Omukyala Omukristaayo alaga nti assa ekitiibwa mu mwami we ng’amuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’omutwe gw’amaka. Tasaanidde kumunyooma, tasaanidde kukozesa lukujjukujju kumusendasenda kukola ky’atayagala, era tasaanidde kwetwala ng’omutwe gw’amaka. Mu kifo ky’ekyo, asaanidde okumuwagira era n’okukolagana obulungi naye. Bw’aba nga takkiriziganya n’ekyo mwami we ky’aba asazeewo, ayinza okumubuulira endowooza ye mu bukkakkamu, kyokka n’asigala nga muwulize gy’ali. Omukyala bw’aba n’omwami atali mukkiriza, ayinza okwolekagana n’embeera ezisoomooza, naye obuwulize bwe buyinza okuleetera bbaawe okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa.​—Soma 1 Peetero 3:1.

14. Abaana bayinza batya okusanyusa abazadde baabwe awamu ne Yakuwa?

 14 Abaana basanyusa nnyo Yakuwa bwe bagondera bazadde baabwe, ate era ekyo kisanyusa bazadde baabwe era kibaweesa n’ekitiibwa. (Engero 10:1) Ne mu maka omuli omuzadde ali obwannamunigina, abaana basaanidde okuba abawulize, nga bakimanyi bulungi nti kibeetaagisa okuyamba muzadde waabwe era n’okukolagana obulungi naye. Bonna abali mu maka bwe batuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yabawa, amaka gabaamu emirembe n’essanyu. Kino kiweesa ekitiibwa oyo eyatandikawo amaka gonna, Yakuwa Katonda.​—Abeefeso 3:14, 15.

MU KIBIINA

15. (a) Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu bukulembeze bwa Yakuwa mu kibiina? (b) Misingi ki egiyinza okutuyamba okugondera abo abatwala obukulembeze? (Laba akasanduuko akali ku  lupapula 48-49.)

15 Yakuwa alonze Omwana we okukulembera ekibiina Ekikristaayo. (Abakkolosaayi 1:13) Yesu naye alonze “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okulabirira abantu ba Katonda mu by’omwoyo. (Matayo 24:45-47) Omuddu omwesigwa beebo abali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Nga bwe kyali mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka, leero abakadde bafuna obulagirizi n’okubuulirira okuva eri Akakiiko Akafuzi, nga babufuna butereevu oba nga buyitira mu abo abakakiikirira, gamba ng’abalabirizi abakyalira ebibiina. Ffenna kinnoomu bwe tussa ekitiibwa mu bakadde, tuba tussa ekitiibwa mu Yakuwa.​—Soma 1 Abassessalonika 5:12; Abebbulaniya 13:17.

16. Mu ngeri ki abakadde gye balondebwa omwoyo omutukuvu?

16 Abakadde n’abaweereza tebatuukiridde era bakola ensobi. Wadde kiri kityo, abakadde ‘birabo’ mu bantu, era baateekebwawo okuyamba ekibiina okusigala nga kinywevu mu by’omwoyo. (Abeefeso 4:8) Abakadde balondebwa omwoyo gwe omutukuvu. (Ebikolwa 20:28) Mu ngeri ki? Abasajja abo balina okutuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. (1 Timoseewo 3:1-7, 12;  Tito 1:5-9) Okugatta ku ekyo, abakadde bwe batuula okulaba obanga ow’oluganda atuukiriza ebisaanyizo ebyo, basaba Yakuwa abawe omwoyo omutukuvu basobole okusalawo obulungi.

17. Lwaki oluusi abakazi Abakristaayo babikka ku mitwe nga baliko emirimu gy’ekibiina gye bakola?

17 Ebiseera ebimu abakadde n’abaweereza bayinza obutabaawo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe, gamba ng’okukubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda mu nnimiro. Mu mbeera ng’eyo, ab’oluganda abalala ababatize bayinza okulukubiriza. Bwe watabaawo wa luganda n’omu, mwannyinaffe alina ebisaanyizo ayinza okukikola. Wadde kiri kityo, omukazi bw’abaako ky’akola mu kibiina oba mu maka nga kyandibadde kikolebwa musajja omubatize, asaanidde okubikka ku mutwe gwe. * (1 Abakkolinso 11:3-10) Ekyo tekifeebya bakazi wabula kibawa akakisa okukyoleka nti bassa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze mu maka ne mu kibiina.

AB’OBUYINZA

18, 19. (a) Oyinza kunnyonnyola otya ebyo ebiri mu Abaruumi 13:1-7? (b) Tulaga tutya nti tussa ekitiibwa mu b’obuyinza?

18 Abakristaayo ab’amazima bakolera ku ebyo ebiri mu Abaruumi 13:1-7. (Soma.) Bw’osoma ennyiriri ezo, ojja kukyetegereza nti “ab’obuyinza” aboogerwako awo ze gavumenti z’ensi. Mu kiseera kino nga Yakuwa akyaleseewo gavumenti z’abantu, waliwo ebirungi bye zitukolera, gamba ng’okukuuma emirembe n’okutukolera ebintu ebimu ebituyamba. Twoleka nti tussa ekitiibwa mu b’obuyinza nga tugondera amateeka ge bataddewo. Tusasula emisolo, tujjuzaamu bulungi foomu oba ebiwandiiko gavumenti by’eba etwetaaza, era tugondera n’amateeka agatukwatako, agakwata ku b’omu maka gaffe, ku mirimu gyaffe, ne ku bintu byaffe ebirala. Wadde kiri kityo, singa ab’obuyinza batulagira okukola ekintu ekiyinza okutuviirako okujeemera Katonda, tetubagondera, wabula, tubaddamu ng’Abatume nti: “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.”​—Ebikolwa  5:28, 29; laba akasanduuko “ Ani Gwe Nsaanidde Okugondera?” akali ku lupapula 42.

19 Ate era tulaga nti tussa ekitiibwa mu b’obuyinza nga tukolagana bulungi nabo. Oluusi tuyinza okukolagana n’abakungu ba gavumenti. Omutume Pawulo yakolagananga n’abafuzi, gamba nga Kabaka Kerode Agulipa ne Gavana Fesuto. Abasajja abo baakola ebintu ebibi ennyo, naye Pawulo yayogeranga nabo mu ngeri eraga nti abassaamu ekitiibwa. (Ebikolwa 26:2, 25) Tukoppa ekyokulabirako kya Pawulo, ka tube nga twogera n’omukulembeze ali ku ddaala erya waggulu oba nga twogera n’omusirikale wa poliisi ow’omu kitundu kyaffe. Ku ssomero, abaana Abakristaayo bafuba okugondera abakulira amasomero, abasomesa baabwe, awamu n’abakozi abalala. Kya lwatu tetussa kitiibwa mu abo bokka abatawakanya nzikiriza zaffe, naye era ne mu abo abatayagala Bajulirwa ba Yakuwa. Mu butuufu, n’abatali bakkiriza basaanidde okukiraba nti tussa ekitiibwa mu balala.​—Soma Abaruumi 12:17, 18; 1 Peetero 3:15.

20, 21. Miganyulo ki egiri mu kussa ekitiibwa mu abo abatukulembera?

20 Ka tukole kyonna kye tusobola okussa ekitiibwa mu balala. Omutume Peetero yagamba nti: “Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa.” (1 Peetero 2:17) Abantu bajja kukwatibwako nnyo bwe banaakiraba nti tubassaamu ekitiibwa. Kijjukire nti abantu batono nnyo leero abassa ekitiibwa mu balala. Okussa ekitiibwa mu balala ye ngeri emu gye tugonderamu ekiragiro kya Yesu ekigamba nti: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu, basobole okulaba ebikolwa byammwe ebirungi, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.”​—Matayo 5:16.

21 Mu nsi eno ekutte ekizikiza, abantu ab’emitima emirungi bajja awali ekitangaala eky’eby’omwoyo. N’olwekyo, bwe tussa ekitiibwa mu abo abatwala obukulembeze mu maka, mu kibiina, era ne mu b’obuyinza, kiyinza okuleetera abamu okutandika okutambula naffe mu kitangaala. Nga kino kiba kirungi nnyo! Ekyo ne bwe kiba nga tekisobose, tusobola okuba abakakafu nti okussa ekitiibwa mu balala kisanyusa Yakuwa era kitusobozesa okusigala mu kwagala kwe. Tewali kintu kirungi kisinga ekyo.

^ lup. 17 Ebyongerezeddwako ebiri ku lupapula 209-212 binnyonnyola ezimu ku mbeera eziyinza okwetaagisa abakazi okukolera ku musingi guno.