1, 2. Kiseera ki Yesu lwe yanyiiga, era lwaki?

YESU yali munyiivu ddala, era yalina ensonga entuufu okunyiiga. Kiyinza okukuzibuwalira okumulowoozaako mu ngeri eyo, kubanga yali musajja mukkakkamu nnyo. (Matayo 21:5) Wadde nga yanyiiga yeefuga, kubanga obusungu bwe bwali bwa butuukirivu. * Naye kiki ekyanyiiza omusajja ono ayagala emirembe? Ekikolwa eky’obutali bwenkanya.

2 Yeekaalu ey’omu Yerusaalemi, Yesu yagitwala nga ya muwendo nnyo. Kye kyali ekifo kyokka ekitukuvu mu nsi yonna eky’okusinzizaamu Kitaawe ow’omu ggulu. Abayudaaya baavanga mu bifo bingi ebyesudde okujja okusinziza mu yeekaalu eyo. N’ab’amawanga abaali batya Katonda bajjanga, ne bayingira mu luggya lwa yeekaalu mwe baali bakkirizibwa okusinziza. Naye, mu buweereza bwe, Yesu yayingira mu yeekaalu n’alaba ekyamwesisiwaza. Yeekaalu yali erabika ng’akatale, so si ekifo eky’okusinzizaamu! Yali ejjuddemu abasuubuzi n’abawaanyisa ssente. Kati olwo kiki ekitaali kya bwenkanya? Eri abasajja bano, yeekaalu ya Katonda ky’ali kifo eky’okufuniramu amagoba okuva mu bantu, kabekasinge n’okubabba. Mu ngeri ki?Yokaana 2:14.

3, 4. Busuubuzi bwa ngeri ki obwali bukolerwa mu nnyumba ya Yakuwa, era Yesu yakolawo ki?

3 Abakulembeze b’eddiini baasalawo nti ekika kimu kyokka ekya ssente ez’ekyuma kye kyalina okukozesebwa okusasula omusolo gwa yeekaalu. Abajjanga okusinza baalinanga okuwaanyisa ssente zaabwe bafune ssente ez’ekika ekyo. N’olw’ensonga  eyo, abaawaanyisa ssente baateeka emmeeza zaabwe mu yeekaalu, era baasabanga empooza nnene nnyo okuva eri buli gwe baakyusizanga ssente. Kyokka, okutunda ebisolo kwe kwali kusinga n’okuvaamu amagoba. Abaali baagala okuwaayo ssaddaaka baali bayinza okugula eby’okuwaayo ku musuubuzi yenna mu kibuga, naye abakungu b’omu yeekaalu baali bayinza okugaana ebiweebwayo ebyo nga bagamba nti tebisaanira. Kyokka, byo ebiweebwayo ebyagulibwanga mu yeekaalu byakkirizibwanga. Bwe kityo, olw’okuba abantu baawalirizibwanga kugula ku bo, abasuubuzi abo emirundi egimu baasabanga ebisale bya waggulu nnyo. * Kuno tekwali kwagala kufuna bufunyi magoba kyokka wabula bwali bunyazi bwennyini!

“Muggyeewo ebintu bino!”

4 Yesu yali tayinza kugumiikiriza butali bwenkanya ng’obwo. Eno yali nnyumba ya Kitaawe! Yafuna omuguwa n’agukolamu embooko n’agoba ente n’endiga mu yeekaalu. Oluvannyuma n’agenda awali abawaanyisa ssente n’avuunika emmeeza zaabwe. Kiteeberezeemu nga ssente ezo zonna ez’ekyuma ziyiika wansi mu yeekaalu! Yalagira abasajja abatunda amayiba: “Muggyeewo ebintu bino.” (Yokaana 2:15, 16) Kirabika, tewali n’omu yali ayinza kuziyiza musajja ono omuvumu.

Omwana Akoppa Kitaawe

5-7. (a) Ekiseera Yesu kye yaliwo nga tannafuuka muntu, kyamuleetera kuba na ndowooza y’ani ku bwenkanya, era kiki kye tuyinza okuyiga bwe twekenneenya ekyokulabirako kye? (b) Yesu alwanyisizza atya obutali bwenkanya obukwata ku bufuzi bwa Yakuwa n’erinnya lye?

5 Kya lwatu, oluvannyuma abasuubuzi baakomawo. Nga wayiseewo emyaka ng’esatu, yakola ku nsonga y’emu, ku luno  ng’ajuliza ebigambo bya Yakuwa kennyini ebyali bivumirira abo abaafuula ennyumba Ye “empuku y’abanyazi.” (Matayo 21:13; Yeremiya 7:11) Yee, Yesu bwe yalaba ng’abasuubuzi ab’omululu basaba abantu ssente nnyingi nnyo era nga boonoona ne yeekaalu ya Katonda, yawulira bubi nga Kitaawe. Era, ekyo tekyewuunyisa! Okumala emyaka egitabalika, Yesu yali ayigiriziddwa Kitaawe ow’omu ggulu. N’ekyavaamu, yafuna endowooza ya Yakuwa ey’obwenkanya. N’olwekyo, bwe tuba twagala okufuna ekifaananyi ekituufu ku bwenkanya bwa Yakuwa, engeri esingayo obulungi ey’okukikolamu, kwe kufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu Kristo.Yokaana 14:9, 10.

6 Omwana wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka yaliwo Setaani bwe yayita Yakuwa Katonda omulimba era n’abuusabuusa obutuufu bw’obufuzi Bwe. Nga yamwogerako ebintu bibi nnyo! Era, Omwana ono oluvannyuma yawulira Setaani ng’agamba nti tewali n’omu yandiweerezza Yakuwa olw’okwagala, nga teyeerowoozaako. Eby’obulimba bino mazima ddala byanakuwaza omutima gw’Omwana ono. Ng’ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okumanya nti yandibadde n’ekifo ekikulu mu kulaga nti Setaani bye yayogera byali bya bulimba! (2 Abakkolinso 1:20) Ekyo yandikikoze atya?

7 Nga bwe twayiga mu Ssuula 14, Yesu Kristo yalaga bulungi nti Setaani bye yayogera ng’abuusabuusa obugolokofu bw’ebitonde bya Yakuwa byali bya bulimba. Bwe kityo, Yesu yassaawo omusingi ogwandisinziddwaako okulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa n’okutukuza erinnya Lye. Ng’oyo Yakuwa mw’Ayitira okutuukiriza by’ayagala, Yesu ajja kusobozesa obwenkanya bwa Katonda okubaawo mu butonde bwonna. (Ebikolwa 5:31) Era, obulamu bwe ng’ali ku nsi bwayoleka obwenkanya bwa Katonda. Yakuwa yamwogerako bw’ati: “Ndimufukako omwoyo gwange, era alitegeeza amawanga obwenkanya kye buli.” (Matayo 12:18, NW) Yesu yatuukiriza atya ebigambo bino?

 Yesu Annyonnyola ‘Obwenkanya Kye Buli’

8-10. (a) Obulombolombo bw’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bwaviirako butya okuyisaamu amaaso abatali Bayudaaya era n’abakazi? (b) Mu ngeri ki amateeka agataali mu buwandiike gye gaafuula etteeka lya Yakuwa erikwata ku Ssabbiiti omugugu?

8 Yesu yayagala nnyo Amateeka ga Yakuwa era n’agagobereranga. Kyokka, abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye baanyoolanyoola Amateeka ago era ne bagakozesa mu ngeri enkyamu. Yesu yabagamba: “Zibasanze mmwe, abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! . . . Mubuusizza amaaso ebintu ebikulu mu Mateeka, kwe kugamba, obwenkanya, obusaasizi, n’obwesigwa.” (Matayo 23:23, NW) N’olwekyo nno, abayigiriza b’Amateeka ga Katonda abo, tebannyonnyola bulungi ‘obwenkanya kye buli.’ Mu kifo ky’ekyo, baakifuula kizibu okutegeera obwenkanya bwa Katonda. Mu ngeri ki?

9 Lowooza ku byokulabirako bino. Yakuwa yalagira abantu be obuteegatta na mawanga amakafiiri agaali gabeetoolodde. (1 Bassekabaka 11:1, 2) Kyokka, abakulembeze b’eddiini abamu bannalukalala, baakubiriza abantu okuyisaamu amaaso bonna abataali Bayudaaya. Mishnah yalimu n’etteeka lino: “Ente tezisaanidde kulekebwa mu bisulo by’ab’amawanga kubanga bateeberezebwa okwebaka nazo.” Tekyali kya bwenkanya okusosola abataali Bayudaaya mu ngeri eyo, era kyali kikontana n’Amateeka ga Musa. (Eby’Abaleevi 19:34) Amateeka amalala abantu ge beeteerawo, gaafeebyanga abakazi. Amateeka ago gaali gagamba nti omukyala asaanidde kutambulira mabega w’omwami we so si ku lusegere lwe. Omusajja yali takkirizibwa kunyumya na mukazi mu lujjudde, wadde mukyala we. Okufaananako abaddu, abakazi tebakkirizibwanga kuwa bujulirwa mu kkooti. Waalingawo n’essaala abasajja mwe beebalizanga Katonda olw’obutabeera bakazi.

10 Abakulembeze b’eddiini baakulembeza ebiragiro n’amateeka g’abantu, so si Amateeka ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, etteeka lya Ssabbiiti lyagaana okukola emirimu ku Ssabbiiti, kisobozese abantu okusinza ku lunaku olwo, okuddamu amaanyi mu by’omwoyo n’okuwummula. Naye Abafalisaayo etteeka  eryo baalifuula omugugu. Beewa obuyinza okusalawo ‘mirimu’ ki egyali gyogerwako. Ebintu 39 byokka bye baatwalanga okuba emirimu, gamba ng’okukungula n’okuyigga. Ekyo kyaleetawo ebibuuzo bingi. Omuntu bwe yattanga enkukunyi ku Ssabbiiti, yalinga ayigga? Bwe yanoganga ekibatu ky’entungo okulya ng’atambula, yalinga akungula? Bwe yandiwonyeza omulwadde, yandibadde akoze omulimu? Ebibuuzo ng’ebyo baabiddangamu nga beeyambisa amateeka amakakali.

11, 12. Yesu yawakanya atya obulombolombo bw’Abafalisaayo obwali bukontana n’Ebyawandiikibwa?

11 Mu mbeera ng’eyo, Yesu yandiyambye atya abantu okutegeera obwenkanya kye buli? Mu bye yayigirizanga n’engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe, yakiraga nti yali takkiriziganya na bakulembeze ba ddiini abo. Okusooka lowooza ku zimu ku njigiriza ze. Yavumirira olukunkumuli lw’amateeka agaali gakoleddwa abantu ng’agamba: “Mudibya ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwammwe, bwe mwayigiriza.”Makko 7:13.

12 Yesu yayigiriza nti Abafalisaayo baali bakyamu ku tteeka lya Ssabbiiti. Yalaga nti mu butuufu baali tebategedde kigendererwa kya tteeka eryo. Yannyonnyola nti, Masiya ye “mukama wa ssabbiiti” era n’olwekyo yalina obuyinza okuwonya abantu ku Ssabbiiti. (Matayo 12:8) Okusobola okuggumiza ensonga eyo, yawonya abantu mu lujjudde mu ngeri ey’ekyamagero ku Ssabbiiti. (Lukka 6:7-10) Okuwonya okwo kwasonga ku kuwonya okulibaawo mu nsi yonna mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi. Emyaka egyo Olukumi kijja kuba kiseera kya Ssabbiiti enkulu, abantu bonna abeesigwa lwe baliwummula oluvannyuma lw’okumala ebyasa n’ebyasa by’emyaka nga batawanyizibwa ekibi n’okufa.

13. Tteeka ki eryassibwawo oluvannyuma lw’obuweereza bwa Kristo obw’oku nsi, era lyayawukana litya ku mateeka agaalisookawo?

13 Era Yesu yannyonnyola bulungi obwenkanya kye buli mu ngeri nti etteeka eppya, “etteeka lya Kristo,” lyassibwawo oluvannyuma lw’okumaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi. (Abaggalatiya 6:2) Okwawukana ku Mateeka ga Musa agaasookawo, etteeka lino eppya okusingira ddala lyesigama ku misingi  so si ku biragiro ebingi ebiri mu buwandiike. Kyokka, lyalimu n’ebiragiro. Ekimu ku bino Yesu yakiyita “etteeka eriggya.” Yesu yayigiriza abagoberezi be bonna okwagalana nga ye bwe yabaagala. (Yokaana 13:34, 35) Yee, okwagala okw’okwefiiriza kwali kwa kubeera kabonero akaawulawo abo bonna abagoberera “etteeka lya Kristo.”

Ekyokulabirako Ekirungi eky’Obwenkanya

14, 15. Yesu yalaga atya nti yali amanyi ekkomo ly’obuyinza bwe, era lwaki ekyo kizzaamu amaanyi?

14 Yesu teyakoma ku kuyigiriza buyigiriza bantu kwagala. Ye kennyini yagoberera “etteeka lya Kristo.” Lyeyoleka mu bulamu bwe bwonna. Weetegereze engeri ssatu Yesu mwe yayolekera obulungi obwenkanya kye buli.

15 Okusooka, Yesu yeewalira ddala okukola ekintu kyonna ekitali kya bwenkanya. Oboolyawo okirabye nti ebintu bingi ebitali bya bwenkanya bikolebwa abantu abatatuukiridde bwe bafuna amalala ne basukka obuyinza bwabwe. Yesu teyakola bw’atyo. Lumu, omusajja yatuukirira Yesu n’amugamba: “Omuyigiriza, gamba muganda wange agabane nange eby’obusika bwange.” Yesu yamuddamu nti, ‘ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba okubagabanyizaamu ebyammwe?’ (Lukka 12:13, 14) Ekyo tekyewuunyisa? Amagezi Yesu ge yalina, okutegeera kwe yalina, era n’obuyinza bwe yaweebwa Katonda byali bisingira wala eby’omuntu omulala yenna ku nsi; kyokka yagaana okweyingiza mu nsonga eyo, kubanga yali taweereddwa buyinza kukola ku nsonga ng’ezo. Yesu yali mwetoowaze bw’atyo, wadde ne mu kiseera ekiwanvu ennyo kye yaliwo nga tannafuuka muntu. (Yuda 9) Olw’okuba Yesu mu bwetoowaze aleka Yakuwa okusalawo eky’obwenkanya, kino kirina kinene nnyo kye kituyigiriza ku Yesu.

16, 17. (a) Yesu yayoleka atya obwenkanya mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda? (b) Yesu yalaga atya nti obwenkanya bwe bwali bugendera wamu n’obusaasizi?

16 Eky’okubiri, Yesu yayoleka obwenkanya mu ngeri gye yabuuliramu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Teyasosola. Wabula, yafuba okutuuka ku bantu aba buli kika,  ka babe baavu oba bagagga. Okwawukana ku ekyo, Abafalisaayo banyoomanga abantu aba bulijjo n’abaavu, nga babayita ʽam-ha·ʼaʹrets, ekigambo ekifeebya ekitegeeza “abantu aba wansi.” Yesu yalaga nti ekikolwa ekyo tekyali kya bwenkanya. Bwe yayigiriza abantu amawulire amalungi, bwe yalyanga nabo, bwe yabawa eby’okulya, bwe yabawonya, oba bwe yabazuukiza—yayoleka obwenkanya bwa Katonda ayagala okumanyibwa ‘abantu aba buli kika.’ *1 Timoseewo 2:4.

17 Eky’okusatu, obwenkanya bwa Yesu bwagenderanga wamu n’obusaasizi. Yafubanga okuyamba aboonoonyi. (Matayo 9:11-13) Yayambanga abantu abatalina mwasirizi. Ng’ekyokulabirako, Yesu teyeegatta ku bakulembeze b’eddiini mu kwekengera Ab’Amawanga. Yayigiriza abamu ku bo, wadde ng’omulimu gwe omukulu gwali okuyigiriza Abayudaaya. Yakkiriza okuwonya omuweereza w’omukungu mu ggye ly’Abaruumi, ng’agamba: “Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri.”Matayo 8:5-13.

18, 19. (a) Yesu yawa atya abakyala ekitiibwa? (b) Ekyokulabirako kya Yesu kituyamba kitya okulaba akakwate akaliwo wakati w’obuvumu n’obwenkanya?

18 Mu ngeri y’emu, Yesu teyawagira ndowooza eyaliwo ekwata ku bakazi. Mu kifo ky’ekyo, n’obuvumu yalaga obwenkanya. Okufaananako Ab’Amawanga, abakazi Abasamaliya nabo baatwalibwanga okuba abatali bayonjo. Kyokka, ekyo tekyalobera Yesu kubuulira mukazi Musamaliya ku luzzi lwe Sukali. Mu butuufu, omukazi oyo Yesu gwe yasooka okubuulira obutereevu nti ye Masiya eyasuubizibwa. (Yokaana 4:6, 25, 26) Abafalisaayo baagambanga nti abakazi tebasaanidde kuyigirizibwa Mateeka ga Katonda, naye Yesu yawaayo ebiseera bingi n’amaanyi okuyigiriza abakazi. (Lukka 10:38-42) Wadde nga waaliwo  akalombolombo akagamba nti abakazi baali tebayinza kuwa bujulirwa bwesigika, Yesu yawa abakazi abawerako enkizo ey’enjawulo ey’okusooka okumulaba oluvannyuma lw’okuzuukira kwe. Era yabagamba bagende babuulire abayigirizwa be abasajja ekintu kino ekikulu ekyali kibaddewo!Matayo 28:1-10.

19 Yee, Yesu yalaga bulungi amawanga obwenkanya kye buli. Emirundi mingi, yateeka obulamu bwe mu kabi ng’akola ekyo. Ekyokulabirako kya Yesu kituyamba okulaba nti kyetaagisa obuvumu okusobola okubeera abenkanya. Nga kituukirawo, yayitibwa “empologoma ow’omu kika kya Yuda.” (Okubikkulirwa 5:5) Jjukira nti empologoma kabonero akakiikirira obuvumu n’obwenkanya. Kyokka, mu maaso awo, Yesu ajja kusobozesa obwenkanya obusingawo okubaawo. Mu bujjuvu, ajja kuleetawo ‘obwenkanya mu nsi yonna.’Isaaya 42:4.

Kabaka ‘Aleeta Obwenkanya mu Nsi’

20, 21. Mu kiseera kyaffe, Kabaka Masiya atumbudde atya obwenkanya mu nsi yonna era ne mu kibiina Ekikristaayo?

20 Okuva bwe yafuuka Kabaka Masiya mu 1914, Yesu aleese obwenkanya mu nsi. Mu ngeri ki? Akubirizza okutuukirizibwa kw’obunnabbi obusangibwa mu Matayo 24:14. Abagoberezi ba Yesu ku nsi bayigirizza abantu mu nsi yonna amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Yakuwa. Okufaananako Yesu, babuulidde abantu nga tebalina gwe basosola, nga bafuba okuwa buli omu omukisa ogw’okumanya Yakuwa, Katonda ow’obwenkanya, k’abe muto oba mukulu, mugagga oba mwavu, musajja oba mukazi.

21 Era Yesu atumbula obwenkanya mu kibiina Ekikristaayo, ky’akulembera. Nga bwe kyalagulwa, agabye ‘ebirabo mu bantu,’ kwe kugamba, abakadde Abakristaayo abeesigwa, okutwala obukulembeze mu kibiina. (Abaefeso 4:8-12) Mu kulunda ekisibo kya Katonda eky’omuwendo, abasajja ng’abo bagoberera ekyokulabirako kya Yesu Kristo mu kwoleka obwenkanya. Bakijjukira buli kiseera nti Yesu ayagala endiga ze okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya—ka zibe na kifo ki, na ttutumu lyenkana wa oba na bintu ki.

22. Yakuwa awulira atya ku butali bwenkanya obucaase ennyo mu nsi leero, era Omwana we amuwadde buyinza kukola ki?

 22 Kyokka, mu maaso awo, Yesu ajja kusobozesa obwenkanya okubaawo mu nsi mu ngeri etabangawo. Obutali bwenkanya bucaase nnyo mu nsi eno embi. Buli mwana afa enjala kiba kiva ku butali bwenkanya, naddala singa olowooza ku ssente ezisaasaanyizibwa okukola eby’okulwanyisa n’okusanyusa abo abanoonya eby’amasanyu. Obukadde n’obukadde bw’abantu abafa buli mwaka kiva ku butali bwenkanya obuliwo, era buleetera Yakuwa okusunguwala. Awadde Omwana we obuyinza okuggyawo embeera z’ebintu bino embi asobole okumalirawo ddala obutali bwenkanya.Okubikkulirwa 16:14, 16; 19:11-15.

23. Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, Kristo alyoleka atya obwenkanya emirembe gyonna?

23 Kyokka, obwenkanya bwa Yakuwa bwetaagisa ekisingawo ku kuzikiriza obuzikiriza abantu ababi. Era alonze Omwana we okufuga nga ‘Omulangira w’Emirembe.’ Oluvannyuma lw’olutalo Kalumagedoni, obufuzi bwa Yesu bujja kuleetawo emirembe mu nsi yonna, era bujja kufuga ‘mu bwenkanya.’ (Isaaya 9:6, 7, NW) Olwo nno, Yesu ajja kuggyawo obutali bwenkanya bwonna obuviiriddeko okubonaabona n’ennaku mu nsi. Ajja kwoleka obwenkanya bwa Yakuwa obutuukiridde emirembe gyonna. N’olwekyo, kikulu nnyo kati okukoppa obwenkanya bwa Yakuwa. Ka tulabe engeri gye tuyinza okukikolamu.

^ lup. 1 Mu kwoleka obusungu obw’obutuukirivu, Yesu yalinga Yakuwa, ‘asunguwalira’ abakola ebibi. (Nakkumu 1:2) Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okugamba abantu be abajeemu nti baali bafudde ennyumba ye “empuku y’abanyazi,” Yakuwa yagamba: “Obusungu bwange n’ekiruyi kyange birifukibwa ku kifo kino.”Yeremiya 7:11, 20.

^ lup. 3 Okusinziira ku biwandiiko by’Abayudaaya ebiyitibwa Mishnah, oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, abantu beemulugunya olw’obuseere bw’amayiba agaatundibwanga mu yeekaalu. Olw’okwemulugunya okwo, ebbeeyi yaago yakendeezebwa obutundu 99 ku buli kikumi! Baani abaali basinga okuganyulwa mu busuubuzi obwo? Bannabyafaayo abamu bagamba nti obutale bw’omu yeekaalu bwali bw’ab’enju ya Kabona Omukulu Ana, ne kireetera amaka ago okugaggawala ennyo.Yokaana 18:13.

^ lup. 16 Abafalisaayo baayigirizanga nti abantu aba bulijjo abaali batamanyi Mateeka, ‘baakolimirwa.’ (Yokaana 7:49) Baagambanga nti tewali n’omu yali alina kuyigiriza bantu ng’abo oba okukolagana nabo mu by’obusuubuzi wadde okulya nabo oba okusaba nabo. Omuntu okuwaayo muwala we okubafumbirwa, kyandibadde kibi nnyo n’okusinga okumuwaayo eri ensolo enkambwe okumutaagulataagula. Baakitwalanga nti abantu ng’abo tebajja kuzuukira.