Isaaya 40:11, woogera bwe wati ku Yakuwa Katonda: “Aliriisa ekisibo kye ng’omusumba, alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye.” Bw’olaba omusumba ng’asitudde akaliga mu kifuba kye, naawe weegomba okubeera n’enkolagana ng’eyo ne Kitaawo ow’omu ggulu? Oyinza otya okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa?