LWAKI KIKULU?

Okumanya ekyo ky’oli n’okuba omukakafu ku ebyo by’okkiririzaamu kisobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ng’opikirizibwa.

KIKI KYE WANDIKOZE?

Lowooza ku mbeera eno: Omuwala ayitibwa Karen agenze ku kabaga, era aba yaakamalawo eddakiika nga kkumi n’awulira omuntu amugamba nti:

“Lwaki oyimiridde wano wekka?”

Karen akyuka n’alaba mukwano gwe Jessica ng’akutte eccupa z’omwenge bbiri. Jessica amuwaako eccupa emu n’amugamba nti, “Tokyali mwana muto, kwata naawe onyweko.”

Karen awulira nga yandyagadde okugaana eccupa eyo, naye Jessica mukwano gwe. Ate era Karen tayagala Jessica amutwale nga munnakyalo. Okugatta ku ekyo, Jessica amanyiddwa ng’omuwala ow’empisa. Karen agamba mu mutima gwe nti bwe kiba nti Jessica anywa ku mwenge, si kibi naye okunywako. Ate era agamba nti okunywa ku mwenge si kya kabi ng’okukozesa ebiragalalagala.

Singa ggwe obadde Karen, kiki kye wandikoze?

LOWOOZA KU KINO!

Okusobola okusalawo obulungi mu mbeera ng’eyo, oba olina okumanya ki ky’oli. Omuntu amanyi ekyo ky’ali aba n’emitindo gy’empisa gy’akkiririzaamu era nga mumalirivu okuginywererako. Ekyo kimuyamba okumanya engeri gy’alina okutambuzaamu obulamu bwe mu kifo ky’okuleka abalala okumusalirawo engeri gy’abutambuzaamu.1 Abakkolinso 9:26, 27.

Kiki ekinaakuyamba okunywerera ku ekyo ky’omanyi nti kituufu? Lowooza ku by’okuddamu mu bibuuzo bino ebiddako.

 1 BIKI BYE NKOLA OBULUNGI?

Okumanya ebyo by’okola obulungi kisobola okukuyamba obuteenyooma.

EKYOKULABIRAKO OKUVA MU BAYIBULI: Omutume Pawulo yagamba nti: “Wadde nga sirina bumanyirivu mu kwogera, awatali kubuusabuusa nnina okumanya kungi.” (2 Abakkolinso 11:6) Olw’okuba Pawulo yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa, kyamuyamba okunywerera ku kituufu nga waliwo abamusoomooza. Teyakkiriza bigambo byabwe ebimalamu amaanyi okumuleetera okwenyooma.2 Abakkolinso 10:10; 11:5.

WEEKEBERE: Wano wansi wandiikawo ekitone ky’olina oba ekintu ky’okola obulungi.

Wandiika engeri ennungi gy’olina. (Ng’ekyokulabirako, ofaayo ku bantu abalala? oli mugabi? weesigika? okwata ebiseera?)

2 BUNAFU KI BWE NNINA?

Bw’oba ow’okunywerera ku ekyo ky’omanyi nti kituufu, tosaanidde kukkiriza bunafu bw’olina kukufuga.

EKYOKULABIRAKO OKUVA MU BAYIBULI: Pawulo yali amanyi obunafu bwe. Yagamba nti: ‘Mazima ddala nsanyukira etteeka lya Katonda mu mutima gwange, naye mu mubiri gwange ndaba etteeka eddala erirwanyisa etteeka ery’omu birowoozo byange, era linfuula muddu wa tteeka lya kibi.’Abaruumi 7:22, 23.

WEEKEBERE: Bunafu ki bwe nnina okulwanyisa?

 3 BIRUUBIRIRWA KI BYE NNINA?

Olowooza kyandibadde kya magezi okupangisa emmotoka n’ogamba omuvuzi waayo agivuge ng’agyetoolooleza mu kifo kimu okutuusa amafuta lwe ganaggwaamu? Ekyo tekiba kya magezi era oba oyonoona ssente zo n’ebiseera byo!

Ekyo kikuyigiriza ki? Bw’oba n’ebiruubirirwa, kikuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu. Oba omanyi gy’olaga n’engeri y’okutuukayo.

EKYOKULABIRAKO OKUVA MU BAYIBULI: Pawulo yagamba nti: “Sidduka ng’atamanyi gye ndaga.” (1 Abakkolinso 9:26) Mu kifo ky’okukola ebintu omuwawa, Pawulo yateekawo ebiruubirirwa era n’afuba okubituukako.Abafiripi 3:12-14.

WEEKEBERE: Wandiikawo wano ebiruubirirwa bisatu by’oyagala okutuukako mu bbanga lya mwaka gumu.

4 BIKI BYE NZIKIRIRIZAAMU?

Bw’omanya ekyo ky’oli era n’okinywererako, oba ng’omuti ogulina emirandira eminywevu ogusobola okugumira kibuyaga ow’amaanyi

Bw’oba tolina bintu bye weekakasa nti bituufu, ojja kuba muntu atasalawo. Okufaananako nnawolovu, ojja kukyukakyuka olw’okwagala okuba nga banno, era ekyo kijja kuba kiraga nti tomanyi ky’oli.

Ku luuyi olulala, singa osalawo ng’osinziira ku ebyo bye weekakasa nti bituufu, ojja kunywerera ku ekyo ky’oli ka kibe ki abalala kye bagamba oba kye bakola.

EKYOKULABIRAKO OKUVA MU BAYIBULI: Danyeri bwe yali ng’akyali muvubuka, “yamalirira mu mutima gwe” okugondera Katonda, wadde nga teyali na bazadde be. (Danyeri 1:8) Mu kukola bw’atyo, yanywerera ku ekyo kye yali. Danyeri yanywerera ku ebyo bye yali akkiririzaamu.

WEEKEBERE: Biki by’okkiririzaamu? Ng’ekyokulabirako: Okkiriza nti Katonda gy’ali? Bwe kiba kityo, kiki ekikukakasa nti gy’ali?

Okkiriza nti okukolera ku mitindo gya Katonda egikwata ku mpisa kiyamba ggwe? Bwe kiba kityo, lwaki?

Wandyagadde kuba muntu wa ngeri ki? Wandyagadde kuba ng’ekikoola ekitwalibwa embuyaga, oba wandyagadde kuba ng’omuti ogugumira kibuyaga ow’amaanyi? Bw’onywerera ku ekyo ky’oli, ojja kuba ng’omuti ogwo. Era ekyo kijja kukuyamba okuddamu ekibuuzo kino: Nze Ani?