Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 ESSOMO 31

Yoswa n’Abagibiyoni

Yoswa n’Abagibiyoni

Amawulire agakwata ku kuwambibwa kwa Yeriko gaasaasaana mu mawanga amalala ag’omu nsi ya Kanani. Bakabaka b’amawanga ago baasalawo okwegatta awamu balwanyise Abayisirayiri. Naye bo Abagibiyoni tebeegatta ku bakabaka abo. Baasindika ababaka okugenda eri Yoswa nga bambadde engoye enkadde, ne bamugamba nti: ‘Tuvudde mu nsi ey’ewala ennyo. Twawulira ebikwata ku Yakuwa n’ebyo bye yabakolera mu Misiri ne mu Mowaabu. Mukole naffe endagaano muleme kutulumba, era naffe tujja kufuuka baweereza bammwe.’

Yoswa yakkiriza ebyo Abagibiyoni bye baamugamba n’abasuubiza obutabalumba. Nga wayise ennaku ssatu, Yoswa yakitegeerako nti Abagibiyoni tebaali ba mu nsi ey’ewala ennyo. Baali babeera mu nsi ya Kanani. Yoswa yabuuza Abagibiyoni nti: ‘Lwaki mwatulimbye?’ Baamuddamu nti: ‘Twatya! Tukimanyi nti Yakuwa Katonda wammwe abalwanirira. Tubeegayiridde temututta.’ Yoswa yatuukiriza kye yabasuubiza n’atabatta.

Waayita ekiseera kitono, bakabaka bataano ab’omu nsi ya Kanani n’amagye gaabwe ne basalawo okulumba Abagibiyoni.  Yoswa n’eggye lye baatambula ekiro kyonna ne bagenda okuyamba Abagibiyoni. Enkeera ku makya, olutalo lwatandika. Abakanani badduka. Kyokka yonna gye baddukira, Yakuwa yabasuulako amayinja amanene ag’omuzira. Yoswa yasaba Yakuwa enjuba esigale mu kifo kimu. Lwaki Yoswa yasaba Yakuwa enjuba esigale mu kifo kimu ate ng’ekyo kyali tekibangawoko? Yoswa yali yeesiga nnyo Yakuwa. Yakuwa yaddamu okusaba kwe era enjuba teyagwa okutuusa Abayisirayiri bwe baawangula bakabaka Abakanani n’amagye gaabwe.

“Ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda; ekisingako awo kiva eri omubi.”​—Matayo 5:37