Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli

 ESSOMO 29

Yakuwa Yalonda Yoswa

Yakuwa Yalonda Yoswa

Musa yakulembera Abayisirayiri okumala emyaka mingi era kati yali anaatera okufa. Yakuwa yamugamba nti: ‘Si ggwe ajja okuyingiza Abayisirayiri mu Nsi Ensuubize. Naye nja kukukkiriza okulengera ensi eyo.’ Musa yasaba Yakuwa alonde omukulembeze omulala akulembere Abayisirayiri. Yakuwa yamugamba nti: ‘Genda eri Yoswa omugambe nti y’ajja okuyingiza Abayisirayiri mu Nsi Ensuubize.’

Musa yagamba abantu b’eggwanga lya Isirayiri nti mu kiseera ekitali kya wala yali agenda kufa era nti Yakuwa yali alonze Yoswa okubakulembera abatuuse mu Nsi Ensuubize. Era Musa yagamba Yoswa nti: ‘Totya. Yakuwa ajja kukuyamba.’ Oluvannyuma, Musa yagenda ku ntikko y’Olusozi Nebo, Yakuwa n’amulaga ensi gye yasuubiza Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Musa yafa nga wa myaka 120.

Yakuwa yagamba Yoswa nti: ‘Musomoke Omugga Yoludaani muyingire mu nsi ya Kanani. Nja kukuyamba nga bwe nnayamba Musa. Fuba okulaba nti osoma Amateeka gange buli lunaku. Totya. Ba muvumu. Kola ebyo bye nkulagidde okukola.’

Yoswa yatuma abakessi babiri bakette ekibuga Yeriko. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ebyo ebyaliwo  nga bagenze okuketta. Abakessi abo bwe baakomawo, baagamba nti kyali kiseera kituufu okuyingira mu nsi ya Kanani. Ku lunaku olwaddako, Yoswa yagamba Abayisirayiri beetegeke okuyingira mu Kanani. Oluvannyuma yagamba bakabona abaali basitudde ssanduuko y’endagaano bakulemberemu Abayisirayiri nga bagenda okusomoka Omugga Yoludaani. Omugga ogwo gwali gwanjadde. Amangu ddala nga bakabona balinnye mu mazzi g’omugga ogwo, amazzi gaalekera awo okukulukuta era ne gakalira! Bakabona baatambula ne batuuka wakati w’omugga ne bayimirira awo okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka omugga. Ekyamagero ekyo kiteekwa okuba nga kyabajjukiza ekyamagero Yakuwa kye yakola ku Nnyanja Emmyufu.

Kyaddaaki Abayisirayiri baatuuka mu Nsi Ensuubize. Kati baali basobola okuzimba amayumba n’okuzimba ebibuga. Baali basobola okulima emmere n’okusimba ebibala. Ensi eyo yali nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.

“Yakuwa ajja kubakulemberanga ekiseera kyonna era ajja kubakkusa ne mu nsi enkalu.”​—Isaaya 58:11