Abayisirayiri baddamu okuva ku Yakuwa ne basinza bakatonda ab’obulimba. Abaamoni bwe baalumba Abayisirayiri, bakatonda abo ab’obulimba tebaayamba Bayisirayiri. Abayisirayiri baabonaabona okumala emyaka mingi. N’ekyavaamu, baagamba Yakuwa nti: ‘Twonoonye mu maaso go. Tukwegayiridde, tununule mu mukono gw’abalabe baffe.’ Abayisirayiri baasaanyaawo ebifaananyi bye baali basinza ne baddamu okusinza Yakuwa. Yakuwa yawulira nga takyayagala kulaba Bayisirayiri nga babonaabona.

Omusajja omulwanyi ayitibwa Yefusa ye yalondebwa okukulembera Abayisirayiri okulwanyisa Abaamoni. Yefusa yagamba Yakuwa nti: ‘Bw’onootuyamba okuwangula olutalo luno, bwe nnaddayo eka, nja kukuwa omuntu anaasooka okufuluma mu nnyumba yange  okunkulisaayo.’ Yakuwa yaddamu okusaba kwa Yefusa era yamuyamba okuwangula olutalo olwo.

Yefusa bwe yakomawo awaka, omuntu eyasooka okufuluma mu nnyumba okumukulisaayo yali muwala we, omwana omu yekka gwe yalina. Yafuluma ng’azina era ng’akuba akagoma. Kiki Yefusa kye yakola? Yajjukira ekyo kye yasuubiza Yakuwa era n’agamba nti: ‘Zinsanze muwala wange! Onnakuwazza nnyo. Nnina ekintu kye nnasuubiza Yakuwa. Okusobola okukituukiriza, nnina okukusindika ogende oweereze ku weema entukuvu mu Siiro.’ Naye muwala we yamugamba nti: ‘Taata, bw’oba nga wasuubiza Yakuwa, tuukiriza kye wasuubiza. Kyokka nkusaba ekintu kimu; ka nsooke ŋŋende mu nsozi okumala emyezi ebiri mbeereko wamu n’abawala mikwano gyange, oluvannyuma ŋŋende e Siiro.’ Muwala wa Yefusa yaweereza Yakuwa n’obwesigwa ku weema entukuvu obulamu bwe bwonna. Buli mwaka, mikwano gye gyagendanga e Siiro okumukyalira.

“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga nze, tansaanira.”​—Matayo 10:37