Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 ESSOMO 37

Yakuwa Ayogera ne Samwiri

Yakuwa Ayogera ne Samwiri

Eli, Kabona Asinga Obukulu, yalina batabani be babiri abaali baweereza nga bakabona ku weema entukuvu. Omu yali ayitibwa Kofuni ate ng’omulala ayitibwa Fenekaasi. Batabani be abo baali tebagondera mateeka ga Yakuwa era baayisanga bubi nnyo abantu. Abayisirayiri bwe baaleetanga ebiweebwayo eri Yakuwa, Kofuni ne Fenekaasi beggirangako ennyama esinga obulungi ne bagitwala. Eli yawulira ebyo batabani be bye baali bakola naye talina kye yakolawo. Naye ddala Yakuwa yandikkirizza embeera eno okweyongera mu maaso?

Wadde nga Samwiri yali muto nnyo ku Kofuni ne Fenekaasi, teyakoppa nneeyisa yaabwe embi. Ekyo kyasanyusa nnyo Yakuwa. Lumu ekiro, Samwiri bwe yali yeebase, yawulira nga waliwo amuyita. Yasituka n’agenda eri Eli, n’amugamba nti: ‘Nzuuno!’ Naye Eli yamugamba nti: ‘Sinnakuyita. Ddayo weebake.’ Samwiri yaddayo ne yeebaka. Ekyo kyabaawo emirundi emirala ebiri. Ku mulundi ogw’okusatu, Eli yakitegeera nti Yakuwa ye yali ayita Samwiri. Eli yagamba Samwiri nti bw’addamu okuwulira eddoboozi eryo, agambe nti: ‘Yogera Yakuwa, kubanga omuweereza wo awulira.’

Samwiri yaddayo ne yeebaka. Oluvannyuma yawulira eddoboozi nga ligamba nti: ‘Samwiri! Samwiri!’ Yaddamu nti: ‘Yogera, kubanga  omuweereza wo awulira.’ Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘Gamba Eli nti ŋŋenda kumubonereza awamu n’ab’ennyumba ye. Akimanyi nti batabani be bakola ebintu ebibi ku weema yange entukuvu naye talina ky’akolawo.’ Obudde bwe bwakya, Samwiri yaggulawo enzigi za weema entukuvu nga bwe yakolanga bulijjo. Kyokka yatya okubuulira Eli ebyo Yakuwa bye yali agambye. Naye Eli yamuyita n’amubuuza nti: ‘Mwana wange, Yakuwa yakugambye ki? Tonkweka kintu kyonna.’ Bwe kityo, Samwiri yabuulira Eli buli kimu.

Samwiri yeeyongera okukula era Yakuwa yeeyongera okuba naye. Abantu mu ggwanga lya Isirayiri lyonna baali bakimanyi nti Yakuwa yali alonze Samwiri okuba nnabbi era omulamuzi.

“Jjukiranga Omutonzi wo ow’Ekitalo ng’okyali muvubuka.”​—Omubuulizi 12:1