Yusufu yali omu ku baana ba Yakobo abaali basembayo obuto. Baganda be baakiraba nti taata waabwe yali asinga kwagala Yusufu. Olowooza ekyo kyabayisa kitya? Baakwatirwa Yusufu obuggya era ne bamukyawa. Yusufu bwe yaloota ebirooto ebyali byewuunyisa, yabibuulirako baganda be. Baganda be baalowooza nti ebirooto ebyo byali bitegeeza nti ekiseera kyandituuse ne bavunnamira Yusufu. Ekyo kyabaleetera okweyongera okumukyawa!

Lumu baganda ba Yusufu bwe baali balunda endiga okumpi n’ekibuga Sekemu, Yakobo yatuma Yusufu agende alabe baganda be bwe bali. Baganda be bwe baamulengera, baagamba nti: ‘Laba ssekalootera wuuyo ajja. Ka tumutte!’ Baamukwata ne bamusuula mu kinnya ekiwanvu. Naye Yuda, omu ku baganda be, yagamba nti: ‘Tetumutta! Waakiri tumutunde mu buddu.’ Bwe kityo, Yusufu baamuguza abasuubuzi Abamidiyaani abaali bagenda e Misiri. Abasuubuzi abo baamugula ebitundu bya ffeeza 20.

Oluvannyuma baganda ba Yusufu baakwata ekyambalo kye ne bakinnyika mu musaayi gw’embuzi, ne bakiweereza taata waabwe ne bamugamba akikebere alabe obanga kye kyambalo ky’omwana we. Yakobo yalowooza nti ensolo enkambwe yali esse Yusufu. Ekyo kyamunakuwaza nnyo era tewali n’omu yali ayinza kumubudaabuda.

Bwe baatuuka e Misiri, abasuubuzi abo Yusufu baamuguza omukungu ayitibwa Potifaali, Yusufu n’afuuka omuddu we. Naye Yakuwa yali wamu ne Yusufu. Potifaali yakiraba nti Yusufu yali mukozi mulungi era nti yali yeesigika. Nga wayise ekiseera kitono, Yusufu yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebintu bya Potifaali byonna.

Mukyala wa Potifaali yakiraba nti Yusufu yali alabika bulungi nnyo  era nga wa maanyi. Buli lunaku yagambanga Yusufu okwebaka naye. Kiki Yusufu kye yakola? Yagaana okwebaka naye era n’amugamba nti: ‘Sisobola kwebaka naawe kubanga ekyo kikyamu. Mukama wange anneesiga ate ggwe oli mukazi we. Bwe nneebaka naawe nja kuba nkoze ekibi mu maaso ga Katonda!’

Lumu mukyala wa Potifaali yagezaako okukaka Yusufu okwebaka naye. Yakwata ekyambalo kye naye Yusufu n’amwesimattulako n’adduka. Potifaali bwe yakomawo awaka, mukyala we yamugamba nti Yusufu yali ayagala kumukwata. Omukyala oyo yali alimba. Potifaali yanyiiga nnyo era n’asiba Yusufu mu kkomera. Naye Yakuwa teyeerabira Yusufu.

“Mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, alyoke abagulumize ng’ekiseera kituuse.”​—1 Peetero 5:6