Yusufu bwe yali mu kkomera, Falaawo kabaka wa Misiri yaloota ebirooto naye nga tewali asobola kumubuulira makulu gaabyo. Omu ku baddu ba Falaawo yamugamba nti Yusufu yali asobola okumubuulira amakulu g’ebirooto ebyo. Amangu ago Falaawo yatumya Yusufu.

Falaawo yabuuza Yusufu nti: ‘Osobola okumbuulira amakulu g’ebirooto bye nnaloose?’ Yusufu yagamba Falaawo nti: ‘Okumala emyaka musanvu ensi ya Misiri ejja kubaamu emmere nnyingi, ate oluvannyuma wajja kubaawo enjala okumala emyaka musanvu. Londa omuntu ow’amagezi akuŋŋaanye emmere agitereke abantu baleme kufa njala.’ Falaawo yamuddamu nti: ‘Ggwe gwe nnonze, era ojja kuba wa kubiri mu buyinza mu Misiri yonna!’ Yusufu yategeera atya amakulu g’ebirooto bya Falaawo? Yakuwa ye yamuyamba okugategeera.

Mu myaka omusanvu egyaddirira, Yusufu yakuŋŋaanya emmere nnyingi n’agitereka. Oluvannyuma enjala yagwa mu nsi yonna nga Yusufu bwe yali agambye. Abantu baava mu bitundu by’ensi eby’enjawulo okujja okugula emmere ku Yusufu. Yakobo, taata wa Yusufu, bwe yakimanyaako nti mu Misiri waaliyo emmere, yatuma batabani be kkumi okugendayo okugula emmere.

Batabani ba Yakobo baagenda eri Yusufu, era Yusufu bwe yabalaba yabategeererawo. Naye bo baganda be tebaamutegeera. Baamuvunnamira ng’ebirooto bye yaloota ng’akyali muto bwe byalaga. Naye Yusufu yali ayagala okumanya obanga baganda be baali bakyalina obukyayi. Bwe kityo yabagamba nti: ‘Muli bakessi. Mwagala kumanya wa obunafu bw’ensi yaffe we buli.’ Baamuddamu nti: ‘Nedda! Tuvudde Kanani. Twali ab’oluganda 12 naye omu yafa ate asembayo  obuto asigaddeyo eka ne taata waffe.’ Yusufu yabagamba nti: ‘Mundeetere muganda wammwe asembayo obuto ndyoke nzikirize bye muŋŋamba.’ Baganda be abo baddayo eri taata waabwe.

Emmere gye baatwala bwe yaggwaawo, Yakobo yaddamu okutuma batabani be e Misiri. Ku mulundi guno baagenda ne Benyamini muganda waabwe eyali asembayo obuto. Okusobola okugezesa baganda be, Yusufu yateeka ekikopo kye ekya ffeeza mu nsawo ya Benyamini ey’emmere, n’agamba baganda be nti baali bakibbye. Abaweereza ba Yusufu bwe baasanga ekikopo ekyo mu nsawo ya Benyamini, baganda ba Yusufu baatya nnyo. Baagamba Yusufu abonerezeemu bo mu kifo kya Benyamini.

Ekyo kyalaga Yusufu nti baganda be baali bakyuse. Yusufu yali takyasobola kukweka ngeri gye yali awuliramu. Yatulika n’akaaba era n’abagamba nti: ‘Nze Yusufu muganda wammwe. Taata wange akyali mulamu?’ Baganda be beewuunya nnyo. Yusufu yabagamba nti: ‘Temunakuwala olw’ekyo kye mwankola. Katonda ye yansindika eno okusobola okuwonyaawo obulamu bwammwe. Mwanguwe mugende muleete taata wange.’

Amangu ddala baagenda ne babuulira taata waabwe amawulire ago amalungi era ne bamuleeta e Misiri. Yusufu ne taata we baddamu okulabagana oluvannyuma lw’emyaka mingi.

‘Bwe mutasonyiwa balala, ne Kitammwe ali mu ggulu tajja kubasonyiwa nsobi zammwe.’​—Matayo 6:15